settings icon
share icon
Ekibuuzo

Wasonyiyibwa? Nfuna ntya okusonyiyibwa okuva eri Katonda?

Okuddamu


Ekibuuzo: Wasonyiyibwa? Nfuna ntya okusonyiyibwa okuva eri Katonda?

Okuddamu:
Ebikolwa 13:38 "Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa".

Ekisonyiwo kyeki era lwaki nkyeetaaga?

Ekigambo kusonyiwa kitegeeza kusangula ekintu, okuddiramu omuntu, okusazaamu ebanja. Bwe tukola omuntu obubi, tusaba okusonyiyibwa, enkolagana esobole okuddawo. Okusonyiwa omuntu tekuweebwa muntu kubanga asaanidde okusonyiyibwa. Tewali asaana kusonyiyibwa. Okusonyiwa kkikolwa kya kwaagala na Kisa. Okusonyiwa, kitegeeza butabalira kintu kibi ku muntu newankubadde ng'akkoze bubi.

Bayibuli etugamba nti ffenna twetaaga okusonyiyibwa Katonda. Fenna tukoze ekibi. Omubuulizi 7:20 "Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona."1 Yokaana 1:8 egaamba," Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe." Buli kibi kikolwa kya buyeekera eri Katonda.( Zabbuli 51:4). Olw'ensonga eyo, twetaaga okusonyiyibwa Katonda. Ebibi byaffe bwebiba nga tebisonyiyibwa, tuja kusasulira ekibonerezo kyebibi byafe mu geyeena, emirembe gyona.

Okusonyiyibwa – Tukufuna tutya?

Twebaza Katonda, kubanga, wakisa, era alina okwagala.- mwetegefu okusonyiwa ebibi byafe! 2 Petero 3:9 etugaamba, "Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya." Katonda ayagala okutusonyiwa, yensonga lwaki yasasulira okusonyiyibwa kwaffe.

Empeera ye bibi byaffe yoka, kwe kuffa. Ekitundu ky'Abaruumi ekisooka kitugaamba nti empeera y'ekibi kufa.... "Okubeera abafu emirembe gyona, kyetufuna olw'ebibi byaffe. Katonda, okuyita mu ntekateka ye etukiridde, yafuuka omuntu – Yesu Kristu (Yokaana 1:1-14). Yesu yaffa ku Musaalaba, nasaasula ekibonerezo ekyali kitussana – ekibonerezo eky'okufa.. 2 Abakolinso 5:21 esomesa nti "Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye". Yesu yafa ku Musaalaba, nasasula ekibonerezo ekyaali ekyaffe. Okufa kwa Yesu, nga Katonda, kwaleetaawo okusonyiyibwa kw'ebibi by'ensi yonna. 1 Yokaana 2:2 egaamba; "n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna." Yesu yazuukira okuva mu baffu, ngalaangirira obuwanguzi eri ekibi no kufa. (1 Bakolinso 15: 1-28). Yebaziibwe Katonda, kubanga okuyita mu kufa n'okuzuukira kwa Yesu Kristu, ekitundu ekyokubiri eky'Abaruumi 6:23, kituufu." ......naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwawo mu Kristo Yesu Mukama waffe".

Ebibi byo byasonyiyibwa? Owulira okulumirizibwa omusango kwotayiinza kweggyako? Waliwo okusonyiyibwa okw'ebibi okukuweebwa ssinga oteeka okukiriza mu Yesu Kristu ng'Omulokozi wo. Abafeeso 1:7 egaamba, "eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli," Yesu yasasula ebanja lyaffe, tusobole okusonyiyibwa. Kyoka kyolina okukola kwekusaba Katonda okukusonyiwa okuyita mu Yesu, ng'okkiriza nti Yesu yafa okusasulira okusonyibwaakwo – agya kusonyiwa!. Yokaana 3:16-17 elimu obubaka buno obulungi. "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye".

Okusonyiyibwa – Kyangu bwekityo?

Yee! Kyangu bwekityo. Tosobola kolerera kusonyiyibwa kuva eri Katonda. Tosobola kukusasulira. Ofuna kufune, olw'okukkiriza, okuyita mu kisa n'okusasilwa Katonda.. Bwoba ng'oyagala kukkiriza Yesu Kristu ng'Omulokozi wo ofune okusonyiyibwa okuva eri Katonda, Osobola okusaba esaala eno. Jjukira, okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Kristu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyononye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa. Amiina!"

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Wasonyiyibwa? Nfuna ntya okusonyiyibwa okuva eri Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries