settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Yesu Katonda? Yesu Yagambako nti Katonda?

Okuddamu


Abo abagaana nti Yesu ssi Katonda bagamba nti teyeyogerako nti Katonda. Kituufu Bayibuli telina weyogera nga Yesu ayogera ebigambo nti ' Ndi Katonda" Wabula tekitegeeza nti Yesu teyeyogerako nti Katonda.

Yesu Katonda? - Yesu yeyogerako Okuba Katonda.

Twala ekyokulabirako eky'ebigambo bya Yesu mu Yokaana 10:30, "Nze ne Kitaange tuli Omu" Twetaaga kutunula ku ngeri abayudaaya gye batwalamu ebigambo ebyo tusobole okutegeera nti yali yeyogerako nga Katonda. Bagezaako okumukuba amayinja olw'ensonga eno." Gwe omuntu obuntu, weyita Katonda?" (Yokaana 10:33, okukkaatiriza kwange). Abayudaaya baali bategeera bulungi ki kyeyali yeeyita – Katonda. Yesu bweyagaamba nti " nze ne Kitange tuli Omu,"Yali agamba nti Ye ne Kitaawe balina enkula n'ekigendererwa kimu.

Yokaana 8:58, kyakulabirako kirara. Yesu agaamba. "Nga Ibulayimu tannazaalibwa, Nali." Kino kituzaayo nekitwongera emabega ku Kuva 3:14, Katonda weyebikkulira eri abantu nga " NINGA BWE NDI" .Abayudaaya abawulira ebigambo ebyo nebaloonda amayiinja akumutta olwokuvoola, nga amateeka ga Mussa bwegaalagira.(Abaleevi 24:16)

Dala Yesu Katonda – Abagoberezi be bamulangiria nga Katonda

Yokaana naye addamu ensonga y'obwa Katonda bwa Yesu. "Kigambo (Yesu) naaba Katonda." era " Kigaambo nafuuka omubiri. (Ebikolwa 20:28). "Mwekuumenga mwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini" Ani yagula ekanisa no musaayi gwe? Yesu Kristu. Olunyiriri lwogera nti, Katonda yagula ekanisa yye n'omusaayi gwe. Nolweekyo, Yesu Katonda.

Tomasi omuyigirizibwa naye ayogera ku Yesu, "Ggwe Mukama wange, era Katonda wange" (Yokaana 20:28). Yesu tamutereeza. Tito 2:13 naye atuzaamu amaanyi okulindirira okomawo kwa Katonda era Mukama waffe Yesu Kristu.( Laba 2Petero 1:1), Mu Bebbulaniya 1:8, Taata ayogera ku Yesu, "naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo". Taata ayita Yesu Katonda, ekitegeeza nti Yesu Katonda.

Mu Kubikkulirwa, Malayika alagira omutume Yokaana okusinza Katonda yeka. (Okubikkulirwa 19:10). Emirundi mingyi mu byawaandiikibwa, Yesu asinzibwa (Matayo 2:11; 14:33; 28:9, 17:Lukka 24:52; Yokaana 9:38), tavunaana abo abamusiinza. Ssinga teyali Katonda, yandigaambye abantu obutamusiinza, nga Malayika mu Kubikkulirwa bweyakola. Okusukkuluma ku binno ebyawaandiikibwa, waliwo n'ebirara biinji ebilaga nnga Yesu Katonda.

Ddala Yesu Katonda – Ensoonga lwaki alina okuba nga Katonda

Ensonga esinga okuba enkulu lwaki Yesu alina okuba Katonda eri nti, Bwaba Ssi Katonda, Okufa kwe tekwandimaze kusasulira omutango ogw'ebibi by'ensi yonna.(Yokaana 2:2) Omuntu omutonde, Yesu bweyandibadde, singa teyali Katonda, teyandisobodde kusasulira mutango ogutakoma ogw'ebibi ebyakolebwa abantu eri Katonda atakoma. Katonda Yekka yasobola okwetikka ebibi by'ensi yonna.( 2 Abakolinso 2:21), nnafa, era nazuukira, okulaga obuwaanguzi eri ekibi n'okufa.

Yesu Katonda? Yye. Yesu yeyogerako nga Katonda. Abagoberezi be bamukkiriza nga Katonda. Okuweesa obulokozi kusoboka singa Yesu Katonda. Yesu ye Katonda eyakka, Entandikwa era Enkomerero (Okubikkulirwa 1:8; 22:13), era Katonda Mukama wafe. (2 Petero 1:1).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Yesu Katonda? Yesu Yagambako nti Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries