Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kuwonyezebwa? Mu muwendo Yesu gweyasula?
Okuddamu
Isaaya 53:5 era eyogwako mu 1 Petero 2:24 ky’ekywandiikibwa ekikulu ku kuwonyezebwa, wabula ebiseera ebisinga kivuunulwa era nekikozebwa bubi. “Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.”Ekigambo “gituwonya” kisobola okutegeeza okuwonyezebwa mu mwoyo oba mu mubiri. Wabula, amakulu agawamu agesuula eya Isaaya 53 ne 1 Petero 2 galabika bulungi nti yali ayogera ku kuwonyezebwa kwa Mwoyo. “eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.” (1 Petero 2:24). Ekyawandikibwa kino kyogera ku kibi n’obutuukirivu, ssi kuwonyezebwa mubiri.
Bayibuli terina weraga ngeri okuwonyezebwa kw’omwoyo wekukwatagana na kuwonyezebwa okw'omubiri. Ebiseera ebimu bawonyezebwa mu mubiri bweteeka okukkiriza kwabe mu Kristu, wabula eno si yeba ensonga buli kiseera. Ebiseera ebimu, kuba kwagala kwa Katonda, olumu tekuba. Omutume Yokaana atuwa endowooza entuufu: “Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:
era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.” (1 Yokaana 5:14-15). Katonda akyakola ebyamagero. Katonda akyawonya abantu. Endwadde, okulumwa n’okufa byaddala mu nsi. Okujjako nga Mukama akomyewo, buli muntu omulamu agenda kufa, era abasinga obunji (Abakristaayo nga nabo mwebali) bagenda kufa olw’endwadde, oba okukosebwa. Ssi kwagala kwa Katonda okutuwonya endwadde.
Okuwonyezebwa kwaffe eri endwadde zonna okusinga kutulinze mu gulu. Mu gulu, tewagenda kuba bulumi, ndwadde, okuboonaboona oba okufa (Okubikkulirwa 21). Tulina okujja ebirowooza byaffe ku kuwonyezebwa okw’emibiri mu nsi eno n’etuteeka essira ku mbeera yaffe ey’omwoyo. (Abaruumi 12:1-2). Awo tusobola okuteeka emitima gyaffe ku gulu kubanga eyo tetugenda kusangayo bizibu. Okubikkulirwa 21:4 eyogera ku kuwonyezebwa kwetulina okukwegomba: “naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.”
English
Bayibuli eyogera kki ku kuwonyezebwa? Mu muwendo Yesu gweyasula?