Ekibuuzo
Wafuna Obulamu obutaggwawo?
Okuddamu
Bayibuli etulaga ekubo elirambulukufu obulungi eryo bulamu obutaggwawo. Okusooka, tulina okukkiriza nti twayonoona Katonda.. "kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka mu kitiibwa kya Katonda. (Abaruumi 3:23). Ffena tukoze ebintu ebatasanyusa Katonda, ekituleetera okuba nga tusaana ekiboneerezo. Olwokuba nga ebibi byaffe, ekyenkomeredde binyiiza Katonda ataggwaawo, ekibonerezo ekitagwaawo oba ekiberera emirembe gyona kyekitusaana. (Abaruumi 6:23.) "Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe."
Wabula, Yesu Kristu, Omwana wa Katonda atalina kibi(1Petero 2:22) yafuuka omuntu (Yokaana 1:1,14), naafa, okusasula omutango. "Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira". (Abaruumi 5:8). Yesu Kristu yafa ku musaalaba( Yokaana 19:31-42), ye natwaala ekibonerezo ekyali kitugwaana (2Bakolinso 5:21).Oluvanyuma lwe nnaku Ssatu, nazuukira okuva mu bafu (1Bakolinso 15:1-4), nasobola okulaga obuwanguzi eri ekibi n'okufa. "Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu," (1 Petero 1:3).
Kulw'okukiriza, tulina okukyusa endowooza yaffe ekwatagana ku Yesu – kki kyaali, Kki kyeyakola, era lwaki yakikola – kulwobulokozi (Ebikolwa 3:19). Singa tuteeka okukiriza kwaffe muye, netukkiriza okufa kwe kumusaalaba okusasulira ebibi byafe, tugya kusonyiyibwa era tuweebwe obulamu obutaggwawo obwatusuubizibwa , mu Ggulu. "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo."(Yokaana 3:16). "kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:"(Abaruumi 10:9). Okukiriza kwoka mu mulimu Kristu gweyamaliriza ku musaalaba, lye kkubo lyoka etuufu elitutwala mu bulamu obutaggwawo."tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu." (Abefeeso 2:8-9)
Bwoba oyagala kukkiriza Yesu Kristo ng'Omulokozi wo, Yiino esaala eyokulabirako. Jjukira , okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Krsitu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyonoonye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa – ekirabo ekyobulamu obutaggwawo. Amiina.
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Wafuna Obulamu obutaggwawo?