settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Abakristaayo balina okulaba abasawo?

Okuddamu


Waliwo Abakristaayo abakkiriza nti okugenda eri omusawo kiraga okubulwa okukkiriza mu Katonda. Mu kisinde ” eky’ekigambo ky’okukkiriza”, okulaba omusawo kirabibwa ng’okubulwa okukkiriza era nga kino kiletera Katonda obutakuwonya. Mu biwayi nga ebya Saayansi ow’ekristaayo, okunonya omusawo kirabibwa nga omuziziko ogulemesa amanyi Katonda gakuwadde okwewonya. Endowooza zino amazima gali nti gabulamu. Emotoka yo bweyononeka, olinda Katonda okukola ekyamagero okuwonya emotoka yo, oba ogitwaala eri makanika. Payipo z’amazzi mu nju yo bweyabika, olinda Katonda okutereeza awaabise oba oyita omukozi w’amazzi? Katonda asobola okukanika emotoka yo oba okuteteereza payipo z’amazzi ezaabise nga bwasobola okuwonya emibiri gyaffe. Eky’okuba nga Katonda asobola okukola ebyamagero okutuwonya tekitegeeza nti buli kiseera tulina ekyamagero ky’okuwonyezebwa mu kifo ky’okunonya obuyambi okuva ku bantu abalina obumanyirivu n’obusobozi okutuyamba.

Abasawo bogerwako emirundi egiwera nga kumi n’ebiri mu Bayibuli. Olunyiriri olusobola okuvuunulwa obubi okutegeeza nti omuntu talina kugenda eri musawo lusobola okuba 1 Eby’omumirembe 16:12. ”Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.”Ensonga teyali nti Asa yagenda eri omusawo, wabula nti ”bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo” Nebewetugenda eri abasawo, okukkiriza kwaffe kulina kuba mu Katonda, ssi mu musawo.

Waliwo ebyawandiikibwa bingi ebyogerwa ku ”kukozesa eddagala okuwonya” nga okusiba amabwa (Isaaya 1:6), amafuta n’omwenge (Lukka 10:34), ebikola (Ezekyeeri 47:12), wayini (1 Timosewo 5:22), n’ebizigo. Era Lukka omuwandiisi w’Ebikolw n’enjir ya Lukka ayogerwako Pawulo nga omusawo omwagalwa (Abakkolosaayi 4:14).

Makko 5:25-30 eraga olugero lw’omukyala eyalina ekizibu ky’ekikulukuto era nga ky’ekizibu abasawo kyebatasobola kuwonya newankubadde nga yagenda eri abasawo bangi era nga yakozesa sente zeyalina zonna. Weyajira eri Yesum, yaliwooza nti bwanakwata ku munagiro gw’ekyambalo kya Yesu, anawoona; era yamala nakwata ku kyambalo kya Yesu nawonyezebwa. Yesu mu kuddamu Abafalisaayo, lwaki amala obudde naboononyi yabaddamu ” Naye bwe yawulira, n'agamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.’ (Matayo 9:12). Mu nyiriri ezo, omuntu asobola okujamu enkola zino wamanga:

1) Abasawo sii Katonda era tebalina kulabibwa mu nga Katonda. Basobola okuyamba ebiseera ebimu wabula waliwo ebiseera ebimu nga byokka byebasobola okukola kwekutwala obutwali sente.

2) Okunonya abasawo n’okukozesa enkola ”ez’ensi”okujanjaba tekugaanibwa byawandiikibwa. Amazima gali nti okukozesa eddagala okuwonya kirabibwa okuba ekintu ekirungi.

3) Katonda okwenyigira mu bizibu byonna kulina okunonyezebwa (Yakobo 4:2; 5:12). Teyasuubizibwa nti agenda kuddamu ebizibu mu ngeri gyetagala (Isaaya 55:8-9), wabula tulina okukkiriza nti buli kyakola akikola kulwaffe (Zabbuli 145:8-9).

Nolw’ekyo, Abakristaayo ddala bakkirizibwa okugenda eri abasawo? Katonda yatutonda nga ebintu ebiramu ebirina amagezi era natuwa amagezi era natuwa obusobozi okukola amadagala era n'okuyiga engeri y’okujanjaba emibiri gyaffe. Tewali kikyamu mu kukozesa magezi n’obusobozi okusobola okwejanjaba. Abasawo balabibwa ng’ekirabo kya Katonda gyetuli, Katonda bakozesa okuleeta okuwonyezebwa. Mu kaseera k’ekamu, okukkiriza kwaffe okusembayo n’okwesiga kulina kuba eri Katonda, ssi mu Basawo oba mu ddagala. Ngabwekiri eri okusalawo okuzibu kwonna , tulina okunonya Katonda, oyo asuubiza okutuwa amagezi bwetuagasaba (Yakobo 1:5).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Abakristaayo balina okulaba abasawo?
© Copyright Got Questions Ministries