settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki Abayudaaya n’AbawaLabu/Abasiraamu tebakwatagwana?

Okuddamu


Okusooka, kikuluokutegeera nti Abawalabu bonna ssi basiramu era ssi Basiramu bonna ntI Bawarabu. Newankubadde nga abasinga obungi ku Bawalabu basiraamu, waliwo abalala bangi abatali Basiramu. Waliwo waliwo Abasiraamu abatali Bawalabu bangi mu nsi nga Indonesiya, ne Malesiya okusinga Abasiramu Abawarabu. Eky’okubiri, kikulu okutegeera nti ssi kituufu nti Abawarabu bonna tebagaala Bayudaaya era nti ssi buli Basiramu bonna nti tebagala Bayudaaya. Tuli okuba abegendereza obutasibaako bantu batu ga mbuzi. Wabula, okutwaliza ewamu, Abawalabu n’Abasiramu balina obukyayi era tebesiga Bayudaaya.

Bwewaba nga waliwo ekyawandiikibwa ekisobola okunyonyola obulungi enjawukana eno, kiddayo emabega ku Yibulayimu. Abayudaaya baava mu mwaana wa Ibulayimu Isaaka. Abawarabu baava mu mwana wa Yiburayimu Isimayeeri nga Isimaeri ye mwana w’omuzaana wa Salaayi. (Oluberyebreye 16:1-6) ne Isaaka nga ye mwana w’ekisuubizo anasikira emikisa gya Iburaamu (Oluberyeberye 21:1-3), kitegeeza nti wagenda kubaawo okulwaana wakati w’abaana bano bombi. Olwa Ismaeri okuyisaamu Isaaka amaaso.(Oluberyeberye), Sarayi yagamba Ibraamu okugoba Agali n’omwana we Ismaeri (Oluberyeberye 21:11-21). Kino kisobola okuba nga kyekyaleeta obukyaayi eri Isaaka. Malayika yalagula eri Agali ne Ismaeri nti, “omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna.” (Oluberyeberye 16:11-12).

Ediini y’Obusiraamu nga Bawalabu abasinga bagigoberera eraze enjawukana eno mu buliwo. Kuraani erina ebiragiro ebitakwatagana eri Abasiraamu ku ngeri gyebalina okukolagganamu n’Abayudaaya. Ewamu, eragira Abasiraamu okuyisa Abayudaaya nga baganda babwe ate ewalala neragira Abasiramu okulumba Abayudaaya abaganye okufuuka Abasiraamu. Ekuraani era eyanjula olutalo ku mwana kki owa Iburaimu alina okuba ow’ekisuubizo. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya biraga nti Isaaka ye mwana w’ekisuubizo. Kuraani eraga nti Isaaka ye mwana w’ekisubizo. Kuraani esomesa nti Iburaimu yabulako katono okusaddaka Ismaeri eri Mukama, ssi Isaaka (ekyawukana nekyo ekiri mu Oluberyeberye 22). Enkayaana ku ani alina okuba omwana w’ekisubizo ekola kinene ku bulumbaganyi wakati w’enjuyi zombi.

Wabula, emirandira gy’enjawukana n’obukyayi wakati wa Ismaeri ne Isaka tegyinyonyola bukyaayi wakati w’Abayudaaya n’Abawarabu leero. Mu mazima, okumala emyaka nkumi na nkumi egy’ebyafaayo by’amassekati g’ebuvanjuba, Abayudaaya n’Abawarabu baali mu mirembe. Ensonga eyaletera enjawukana biro bino. Oluvanyuma lwa Ssematalo ow’okubiri, ekitongole ky’Amawanga Amagatte kyawa ekitundu ekimu ekya Israeli Abayudaaya, akaseera ko, ekifo ekyo kyalimu Abawalabu (Abapalesitayini). Abawalabu abasinga bawakanya nnyo ekya Israeli okweddiza ekitundu ekyo. Abawalabu begatta era nebalumba Isreali okusobola okweddiza ettaka eryo wabula bawangulwa. Okuva olwo, wabaddewo okulumbagana wakati wa Israeli ne balirwana Abawalabu. Isreali nsi eri ku taka ettono enyo kokusinziira era eriraniddwa ensi z’Abawarabu nga Yolodaani, Siriya, Sawudi Alabiya,

Iraq ne Misiri. Ffe bwetutunuulira ensonga eno, , okusinziira ku Bayibuli, tukkiriza nti Israeli erina obuyinza okubeera ku taka Katonda abaana ba Yakobo, bazukulu ba Ibraimu. Mu ngeri yemu era, tukkiriza nti Israel erina okunoonya okutabagana n’okusaamu ekitiibwa balirwana bayo Abawalabu. Zabbuli 122:6 egamba, “Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Baliraba omukisa abakwagala.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki Abayudaaya n’AbawaLabu/Abasiraamu tebakwatagwana?
© Copyright Got Questions Ministries