settings icon
share icon
Ekibuuzo

Amateeka aana ag'omwoyo ge galiwa?

Okuddamu


Amateeka ana, y'engeri y'okugabanamu amawulire amalungi ag'obulokozi okuli mu kukkiriza Yesu Kristu. Y'engeri enyangu ey'okusengeka ebintu ebikulu ebiri mu Njiri, mu bitundu binna.

Eteeka erisooka ku mateeka aana ag'omwoyo; Katonda akwagala era alina entekateka ennungi eli obulamu bwo. Yokaana 3:16 egamba; "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo" Yokaana 10:10 etuwa ensonga lwaki Yesu yajja, "Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi". Kiki ekitukugira okufuna omukwano gwa Katonda? Kiki ekitulemesa okuba n'obulamu obungi?

Eteeka ely'okubiri: Omuntu yakyafuwazibwa ekibi era n'olwekyo ya yawukana ne Katonda. Y'ensonga lwaki tetusobola kumanya ntekateka ya Katonda eri Obulamu bwaffe. Abaruumi 3:23 ekikkatiiriza nti "kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;" Abaruumi 6:23 netulaga ekibonerezo kyekibi," Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa;.... Katonda yatutonda okuba wamu naye. Naye omuntu yaleeta ekibi munsi era omuntu ya yawukana ne Katonda. Twayonoona enkolagana gye twalina ne Katonda, enkolagana Katonda gye yatutondera okuba nayo. Kiki ekiyinza okuzzawo enkolagana eno?

Eteeka ely'okusatu mu Mateeka ana ag'omwoyo: Yesu Kristu ye yekka, ky'ekiwebwayo kyokka okuva eri Katonda olw'ebibi byaffe. Okuyita mu Yesu Kristu tusobola okufuna okusonyiyibwa okw'ebibi byaffe, netuzaawo enkolagana ne Katonda. Abaruumi 5:8 etugamba, "Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira." 1 Bakolinso 15:3-4 etulaga ebyo byetulina okumanya era okukkiriza tusobole okulokolebwa "....Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;" Yesu mwenyini ayogera nti, "...Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.( Yokaana 14:6). Nfuna ntya ekirabo kino eky'obulokozi?

Eteeka ely'okuna ely'omwoyo: Tulina okuteeka okukkiriza kwaffe mu Yesu Kristu ng'omulokozi waffe okusobola okufuna ekirabo eky'obulokozi, nokutegeera entekateka ennungi eya Katonda eri obulamu bwaffe. Yokaana 1:12 etunyonyolera ddala bulungi ensonga eno. "Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:" Ebikolwa 16:31 eyogera kaati," Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo." Tulokoka lwa kisa kyokka, okuyita mu kukkiriza kwokka, mu Yesu Kristu Yekka.

Bwoba oyagala kukkiriza Yesu Kristo ng'Omulokozi wo, Yiino esaala ey'okulabirako. Jjukira , okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Naye okuteeka okukkiriza mu Kristu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mu bimpimpi yengeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, n'okumwebaza olw'obulokozi. "Katonda, nkimanyi nga nyonoonye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu ye. Nteeka okukkiriza kwange mu ggwe ku lw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa – ekirabo ekyobulamu obuttaggwawo". Amiina.

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Amateeka aana ag'omwoyo ge galiwa?
© Copyright Got Questions Ministries