Ekibuuzo
Obukristaayo bulowooza ki ku kwetta? Bayibuli eyogera ki ku kwetta?
Okuddamu
Bayibuli eyogera abantu mukaaga abenjawulo abetta. Abimereki (Ekyabalamuzi 9:54), Sawulo (1Samwiri 31:4), Eyakwaata eby'okulwanyisa bya Sawulo (1 Samwiri 31:4-6), Akisoferi (2 Samwiri 17:23), Zimuri (1 Bassekabaka 16:18), ne Yuda (Matayo 27:5). Abataano baali babi, aboonoonyi (ebyogerwa ku yakwaatanga eby'okulwayisa bya Sawulo si bingi nnyo kutusobozesa kumanya mbala yye.) Abamu batwaala okufa kwa Samusooni okuba okwetta (Ekyabalamuzi 16:26-31), wabula ekigendererwa kya Samusooni kyali kya kutta Bafirisuuti, si yye kwetta. Bayibuli etunuulira okwetta okuba nga kwenkanankana n'okutemula omuntu, era ekyo bwekiri—okwetemula. Katonda yekka yalina okusalawo omuntu lwalina okuffa era anaafa atya.
Okusinziira ku Bayibuli okwetta ssi kwekusalawo oba omuntu ayingira mu Ggulu. Omuntu atali mulokole bwe yetta, aba ayanguyizaako olugendo lwe olugenda mu Geyeena. Wabula omuntu eyesse agenda mu Geyeena lwakuba yagana obulokozi obuva mu kukkiriza Kristu si lwakuba yesse. Bayibuli eyogera kki ku Mukristaayo eyesse? Bayibuli eyogera nti okuva kku lunaku lwe tukkiriza Kristu, tuweebwa obulamu obutaggwaawo (Yokaana 3:16). Okusinziira ku Bayibuli, Abakristaayo balina okumanya awatali kubuusabuusa nti balina obulamu obutaggwaawo (1 Yokaana 5;13) Tewali kiyinza kwawula Mukristaayo ku kwagala kwa Katonda (Abaruumi 8:38-39). Bwewaba nga tewali "kintu kitonde" kiyinza kwawula Omukristaayo ku kwagala kwa Katonda, n'Omukristaayo "kintu kitonde", kitegeeza nti n'okwetta tekusobola kwawula Mukristaayo ku kwagala kwa Katonda. Yesu yaffirira ebibi byaffe byonna, era Omukristaayo bwaba nga ali mu lutalo olw'omwoyo n'obunafu; bweyetta, ekyo kiba kimu ku bibi ebyabikkiibwa omusaayi gwa Yesu.
Okwetta kukyaali kibi ekinene eri Katonda. Okusinzira ku Bayibuli, Okwetta kutemula; era kubi. Okubuusabuusa kulina okubaawo eri obutuufu bw'okukkiriza kw'omuntu agamba nti Mukristaayo wabula ate neyetta. Tewali mbeera yonna ekiriza muntu yenna okusingira ddala Omusristaayo okwetta. Abakristaayo bayiitbwa okutambulira mu bulamu ku lwa Katonda, era okusalawo ddi omuntu lwayina okuffa kulina kuba kwa Katonda era kwa Katonda yekka. Newankubadde nga 1 Abakilinso 3:15 tenyonyola ku kwetta, wabula enyonyola bulungi kki ekituuka kwoyo eyetta: "naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro."
English
Obukristaayo bulowooza ki ku kwetta? Bayibuli eyogera ki ku kwetta?