settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kitegeeza kki Bayibuli okuba nga yaluŋŋamizibwa?

Okuddamu


Abantu bwebogera ku Bayibuli okuba nga yaluŋŋamizibwa, bategeeza mu mazima agali nti Katonda yaluŋŋamya abawandiisi okuba nti byebawandiika kyali Kigambo kya Katonda kyenyini. Mu luufu lw’ebyawandiikibwa, ekigambo “okuluŋŋamizibwa” kitegeeza ekigambo okuba nga “kyava mu Kamwa ka Katonda.” Okuluŋŋamizibwa kitegeeza nti Bayibuli kigambo kya Katonda era kireteera Bayibuli okuba ekitabo ekyenjawulo ku bitabo ebilala.

Newankubadde nga waliwo endowooza ezenjawulo ku kigera Bayibuli kyeyaluŋŋamizibwa, tewasobola kubaawo kubusabusa nti Bayibuli yenyini egamba nti buli kigambo mu buli kitundu ekya Bayibuli kiva wa Katonda. (1 Abakkolinso 2:12-13; 2 Timoseewo 3:16-17). Engeri y’okutunuulira ebyawandiikibwa eno e laga nti okuluŋŋamizibwa kulagibwa ebigambo byenyini ebiri mu Bayibuli—si ndowooza bulowooza—era nti okuluŋŋamizibwa kuno kulabibwa mu bitundu byonna eby’ebyawandiikibwa. Abantu abamu bakkiriza nti ebitundi ebimu ebya Bayibuli byebyaluŋŋamizibwa oba ebilowoozo ebikwata ku diini byebyaluŋŋamizibwa, naye endowooza zino ezokuluŋŋamizibwa zibulamu okuwagirwa Bayibuli yenyini. Bayibuli okuba nga eraga okuluŋŋamizibwa kwayo mbala ya Kigambo kya Katonda yennyini.

Ekigera eky’okuluŋŋamizibwa kisobola okulabibwa mu 2 Timoseewo 3:16, “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;” Olunyinyiri luno lutugamba nti Katonda yaluŋŋamya ebyawandiikibwa byonna era nti ebyawandiikibwa byamugaso gyetuli. Ssi kitundu kya Bayibuli kyoka ekyogera ku nsomesa y’ediini, kyekyaluŋŋamizibwa, wabula buli Kigambo okuva Oluberyeberye okutuusa mu Kubikkulirwa. Kubanga byaluŋŋamizibwa Katonda, ebyawandiikibwa n’olwekyo bilina obuyinza bwebituuka ku somesa era bimala okusomesa omuntu ku ngeri y’okuba n’enkolagana ne Katonda. Bayibuli tegamba nti yaluluŋŋamizibwa Katonda, wabula elina amanyi agatali ga bulijjo okutukyusa netufuula “abalamba” Tuyinza kwetaaga kki ekisinga?”

Olunyiriri olulala olwogera ku kuluŋŋamizibwa kw’ebyawandiikibwa lwa 2 Peteero 1:21. Olunyiriri luno lutuyamba okutegeera nti newankubadde Katonda takozesa abasajja abalina embeera n’empandiika ezenjawulo, Katonda yaluŋŋamya buli kigambo kyebawandiika. Yesu yenyini yakkiriza okuluŋŋamizibwa kwa Bayibuli okuli mu byawandiikibwa bweyagamba nti, “temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza. Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira…” (Matayo 5:17-18). Mu nyiriri zino, Yesu akkatiriza obutuufu bwebyawandiikibwa nti buli kitundu ku kyawandiikibwa okuva ku kigambo okutuusa ku katonyeze kigambo kya Katonda.

Kubanga ebyawandiikibwa Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, tusobola okuwunzika nti tebilina nsobi era bilina obuyinza. Entunuulira entuufu eya Katonda eja etuleeta okutunuulira ekigambo kya Katonda mu ngeri entuufu. Kubanga Katonda wamanyi, amanyi byonna, era atukkiride, ekigambo mu mbala zonna kilina embala zezimu. Ebyawandiikibwa byebimu ebisimba okuluŋŋamizibwa kw’ebyawandiikibwa, era byebisimba ebyawandiikibwa obutaba na nsobi era okuba n’obuyinza. Ewatali kubusabusa, Bayibuli eli ekyo kyeyeyita okuba — ekigambo kya Katonda eri omwana w’omuntu, ekitaganika, era ekilina obuyinza.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kitegeeza kki Bayibuli okuba nga yaluŋŋamizibwa?
© Copyright Got Questions Ministries