settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ntegeera ntya ekirabo kyange eky’Omwoyo?

Okuddamu


Tewali kakodyo konna oba kukeberera kwonna okusobola okutubuulira ebirabo byaffe bwebiri. Omwoyo mutukuvu agaba ebirabo nga bwayagala( 1 Abakkolinso 12:7-11). Ekikemo eri omukristaayo kiri mu kulowooza ennyo ku birabo netwagala okuweereza Katonda mw’ebyo byetulowooza nti by’ebirabo byaffe. Ebirabo by’Omwoyo si bwebityo bwebikola. Katonda atugamba okumuweereza mu bwetowaze mu ngeri zonna. Ajakutuwa buli kirabo oba buli birabo byetwetaaga okukola omulimu gwatuyitidde okukola.

Tusobola okutegeera ebirabo by’Omwoyo tusobola okukutuukako mu ngeri nyingi. Okukebeera ebirabo by’Omwoyo newankubadde tetulina kubyesiga, osanga bisobola okutuyamba okutegeera biki ebirabo byaffe bwebiri. Bantu abalala nabo basobola okutubuulira ebirabo byafe bwebiri. Abatulaba nga tuwereeza Katonda basobola okutubuulira ebirabo byaffe ebiri mu kukola nga ffe tetubifaako oba nga tetunabizuula. Okusaba nakwo kukulu. Omuntu asinga okumanya ebirabo byaffe y’oyo abigaba mwenyini—Omwoyo mutukuvu. Tusobola okusaba Katonda okutulaga ebirabo byaffe tusobole okubikozesa okumuweesa ekitiibwa.

Yye! Katonda ayita abamu okubeera abasomesa era nabawa ekirabo ky’okusomesa Katonda ayita abalala okubeera abaweereza era nabawa ekirabo eky’okuyamba. Wabula, okumanya ebirabo byaffe tekitulemesa kuwereeza Katonda wabweru w’ebirabo. Kirungi okumanya ekirabo oba ebirabo bye Katonda byatuwadde? Yye. Kikyamu okuteeka ennyo okuteeka essira ku birabo netulemererwa okukozesa emikisa Katonda gyatuwadde okumuweereza? Yye! Bwetwewaayo okukozesebwa Katonda, Katonda atuwa buli kyetwetaaga okusobola okumuweereza obulungi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ntegeera ntya ekirabo kyange eky’Omwoyo?
© Copyright Got Questions Ministries