Ekibuuzo
Nyinza ntya okutegeera eddoboozi lya Katonda?
Okuddamu
Ekibuuzo kino kize nga kibuuzibwa abantu bangi okumala okuyita mu byasa bingi. Samuel yawulira eddobozi lya Katonda, wabula teyalitegeera okutuusa Eri bweyamubuulira eky’okukola (1 Samwiri 3:1-10). Gidiyooni yalina okubikkulirwa okuva eri Katonda okukwatibwako okuva eri Katonda, wabula yabuusabuusa ebyo bye byeyawulira okutuuka okusaba akabonero omulundi ssi gumu wabula emirundi esatu (Abalamuzi 6:17-22, 36-40). Bwetuba nga tuwuliriza eddobozi lya Katonda, tumanya tutya nti Katonda yayogera? Okusookera ddala, tulina ekintu Samwiri ne Gidiyooni kyebataalina. Tulina Bayibuli, ekigambo kya Katonda okukisoma, okukyekeneenya, n’okukirowoozako. “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;” (2 Timoseewo 3:16-17). Bwetuba nga tulina ekibuuzo eri ensonga emu oba okusalawo kwonna kwetulina okukola eri obulamu bwaffe, tulina tulina okusooka okulaba kki Bayibuli kyeyogera ku nsonga eyo. Katonda tasobola kutukulembera mu ngeri ekontana n’ekyo Kyasomesa mu kigambo kye. ( Tito 1:2).
Okusobola okuwulira eddobozi lya Katonda, tulina okuba abantu ba Katonda. “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;” (Yokaana 10:27). Aba bokka ababe abalokolebwa olw’ekisa okuyita mu kukkiriza Mukama waffe Yesu Kristu – bebasobola okuwulira eddobozi lya Katonda. Zino z’endiga eziwulira eddobozi lye era eziritegeera, kubanga zimumanyi okuba omusuumba wazo. Bwetuba bakuwulira era bakutegeera ddobozi lya Katonda, tulina okuba ababe.
Tuwuulira eddobozi lya Katonda bwetumala akaseera mu kigambo kya Katonda era bwe tutwala akaseera okulowooza ku Kigambo kye. Gyetukoma okumala ebiseera ne Katonda ne mu kigambo kye, gyetukoma okwanguyirwa okutegeera eddoboozi lye n’okukulemeberwa kwe mu bulamu bwaffe. Abakozi ba Banka batendekebwa ku sente entuufu okusobola okumanya ebicupuli. Naffe tulina okutegeera ekigambo kya Katonda tusobole okutegeera obulimba kirabika mangu nti Katonda si yayogedde.
Newankubadde nga Katonda asobola okwogera mu ddoboozi eriwulirwa abantu leero, ayogera okusingira ddala okuyita mu kigambo kye. Ebiseera ebisinga okukulemberwa kwa Katonda kusobola okuja okuyita mu Mwoyo mutukuvu, okuyita mu ndowooza, embeera ezituukawo, era okuyita mu bigambo ebyamagezi eby’abantu abalala. Nga tugerageranya ebyo byetuwulira ku mazima ga Bayibuli, tusobola okutegeera eddobozi lya Katonda.
English
Nyinza ntya okutegeera eddoboozi lya Katonda?