Ekibuuzo
Ddiini ki entuufu gyenina okulondawo?
Okuddamu
Woteeri ezitunda emmere zitusindikiriza okugula emere kubanga zituleka okulonda ebika by'emmere ey'enjawulo nga bwe tujaagala. Nendala ezitunda Kaawa, nazo zewaana olwebika ebinji ebya Kaawa bye zitunda. Nebwetuba tugula emmotoka oba ennyumba, tugezaako nnyo okugula eyo elina byonna byetwagala. Okulondawo kati kwekufuga. Osobola okufuna ekintu kyona kyoyagala okusinziira nga bwokyagala oba ebyetaago byo bwebiri.
Kati ate eddiini entuufu gwe gyoyagala? Eddiini etakuletera kusalirwa musango gwona, etalina byesaba, etakuttika migugu egimenya egyebintu byoyina okukola oba obutakola. Nayo gyeri, nga bwenjinyonyodde. Naye ne eddiini nayo tulina okujilonda nga abalonda ebika bya Ayisi Kuliimu(Soma Ice cream)?
Waliwo amaloboozi manji agaagala tugawulirize. Lwaki omuntu yenna ateeka Yesu wagulu, katugeze wagulu wa Muhammadi, oba Bbudda, oba Konfikasi( Soma Conficus), oba Joseph Smith. Nekirara, okutwaliza awamu amakkubo gonna tegatwala mu Ggulu? Amaddiini gonna si ge gamu? Amazima gali nti, amaddini gonna tegatwala mu Ggulu, nga amakubo gonna bwe gatakutwala Kampala.
Yesu yekka yayogera n'obuyinza bwa Katonda kubanga Yesu Yekka yeyawangula okufa. Muhammadi, konfikasi, nabalala bavundira mu ntaana wetwogerera. Naye Yesu, mu manyige , yatambula okuva mu ntaana ngawayise annaku satu ngamaze kufa ku musalaba. Omuntu yenna alina amanyi awangula okufa agwana okuwulirizibwa.
Obukakafu obuwagira okuzuukira kwa Yesu bwewunyisa olw'obunji bwabwo.. Okusooka waliwo abajulirwa abasukka mu bitaano abalaba Yesu ng'azuukidde. Amaloboozi ebikumi bitano tegasobola kulekebwawo bulesi. Waliyo nensonga yentaana enkalu. Abalabe ba Yesu bandisilisiza buli ayogera singa baleeta omulambo gwa Yesu ngaguvunda. Naye tewaali mulambo gwonna kubanga entaana yali njerere. Oba abayigirizwa bagubba? Nedda. Okusobola okubalemesa, entaana yali ekuumibwa bulungi n'abasilikale abalina ebyokulwanyisa. N'okusinzira nti abagoberezi be abaamuli okumpi baali badduse olw'okutya nga bamusibye n'okumukomerera. Tekisoboka kibiina kya bantu abatali batendeke, abavubi obuvubi okulumba abajaasi abatendeke. Era bali tebasobola kuwaayo bulamu bwabwe kuttibwa ng'abamu bwebakola. Amazima gali nti okuzuukira kwa Yesu tekusobola kujjibwawo nabigambo.
Neera, omuntu alina amanyi agawangula okufa asaana okuwulirizibwa. Yesu yalaga amanyi eri okufa. Nolwekyo tulina okuwulira ki kyalina okwogera. Yesu yeyogerako nge kkubo lyokka ely'obulokozi.(Yokaana 14:6). Ssi limu ku kkubo, naye Yesu lye kkubo lyoka.
Yesu yoomu agamba nti, "Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza."(Matayo 11:28). Eno ensi nkambwe era n'obulamu bukaluba. Abasinga kuffe tujjude omusaayi, ebinuubule, era tujjude okutya olw'entalo enyinji ze tuyiseemu. Kituufu? Ku lw'ensongeyo, kiki kyewetaaga? Kuddizibwa bujja oba ddiini buddiini?, Omulokozi eyazuukira oba omu ku banabbi abaafa? Enkolagana elina amakulu oba emikolo egitaliimu kanyusi kona? Yesu, si omu ku byetulina okulondako, Ye gwetulina okulonda yekka.
Yesu ye "ddiini" entuufu bwoba ononya okusonyiyibwa( Bikolwa 10:43). Yesu y'eddiini entuufu bwoba ononya enkolagana elina amakulu, enkolagana ne Katonda (Yokaana 10:10). Yesu ye ddiini entuufu bwoba ononya eggulu, ewaka gyetunabeera emirembe gyona.( Yokaana 3:16). Teeka okukkiriza kwo mu Yesu Kristu okubeera omulokozi wo. Tojja kwejjusa. Mukkirize olw’okusonyiyibwa kw'ebibi byo. Tojja kwejjusa.
Bwoba oyagala okuba n'enkolagana entuufu ne Katonda, Yiino esaala eyokulabirako. Jjukira, okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza kwo mu Kristu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi yengeri yakwoleesa okukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." "Katonda, nkimanyi nga nyonoonye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, n’okusonyiyibwa – ekirabo eky’obulamu obutaggwawo. Amiina"!
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Ddiini ki entuufu gyenina okulondawo?