Ekibuuzo
Ekkubo ly’Abaruumi ely'bulokozi lyeliluwa?
Okuddamu
Ekkubo ly’Abaruumi ely'obulokozi. yengeri yokunyonyola amawulire amalungi ag'obulokozi ng'okozesa enyiriri okuva mu Kitabo ky'Abaruumi. Mungeri elabika ng’eyabulijo naye ate nga yamanyi okunyonyola lwaki twetaaga obulokozi, engeri Katonda gyeyatuwaamu obulokozi, engeri gyetusobola okufuna obulokozi, neebivaa mu bulokozi.
Olunyiriri olusooka mu kkubo ly’Abaruumi elyo'obulokozi luva mu Baruumi 3:23, "kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;". Ffena twayonoona. Ffena tukoze ebintu binji ebitasanyusa Katonda. Tewali atalina musango. Abaruumi 3:10-18, etuwa ekifanaanyi ekituufu eky'engeri ekibi gyekirabika mu bulamu bwaffe. Ekyawandiikibwa eky’okubiri ku luguudo lw'Abaruumi olw'obulokozi, Abaruumi 6:23 kitusomesa ebitutuukako olwekibi." Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe" Ekibonerezo kyetwafuna olw'ebibi byaffe kwe kufa. Ssi kufa kwa mubiri gwoka, naye okufa emirembe gyonna.
Ekyawandiikibwa eky'okusatu ku kkubo ly’Abaruumi ely'obulokozi kitandikira wetwakomye mu Abaruumi 6:23,"...naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe." Abaruumi 5:8 agamba "Naye Katonda Ayolesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira." Yesu yafa kulwaffe. Okufa kwa Yesu kwasasula omutango gw'ebibi byaffe. Okuzuukira kwa Yesu kulaga nti Katonda yakkiriza omutango Yesu gweyasasula ogw'ebibi bwaffe.
Awalala ewokunna woyimirira ku kkubo ly’Abaruumi ely'obulokozi wali mu Abaruumi 10:9, "kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:" Olw'okufa kwa Yesu kulwaffe, kyoka kyetulina okukola kwe kukkiriza mu Yesu., nga tukkiririza mu Kufa kwe ng'omutango gw'ebibi byaffe – era tujja kulokolebwa! Abaruumi 10:13 egamba nti, "kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka." Yesu yafa okusasula omutango gw'ebibi byaffe era atununule okuva mu kufa okw'emirembe gyonna. Obulokozi, okusonyiyibwa kw'ebibi wekuli eri buli omu akkiriza Yesu Kristu okuba Mukama era omulokozi we.
Ensonga esembayo ku kkubo ly’Abaruumi ely'obulokozi, kye kiva mu Bulokozi. Abaruumi 5:1 erina obubaka obulungi. "Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo." Okuyita mu Yesu Kristu, tusobola okuba n'emirembe ne Katonda. Abaruumi 8:1 esomesa, "Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu." Olw'okufa kwa Yesu ku lwaffe, tetujja kubako musango olw'ebibi byaffe.
Tumaliriza n'ekisuubizo okuva mu Baruumi 8:38-39, "Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Wandiyagadde okugoberera ekkubo ly'Abaruumi ely'obulokozi? Bwoba okkiriza, yiino esaala enyangu gyoyinza okusaba okuva eri Katonda. Okusaba esaala eno yengeri y’okulaga Katonda nti wesigamye ku Yesu ku lw'obulokozi. Ebigambo, nga byo tebisobola kulokola. Okukkiriza kwo kwokka mu Yesu Kristu kwekusobola okuweesa obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyononye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukkiriza mu yye. Wamu n’obuyambi bwo, nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, n’okusonyiyibwa-ekirabo ky'obulamu obutaggwaawo! Amiina!"
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Ekkubo ly’Abaruumi ely'bulokozi lyeliluwa?