Ekibuuzo
Embala za Katonda ze kki? Katonda ali atya?
Okuddamu
Amawulire amalungi, nga tugezaako okuddamu ekibuuzo gali nti, waliwo ebintu bingi ebisobola okuzuulibwa ku Katonda. Abo abagala okukebera okunyonyola kuno basobola okukufunamu omugaso singa basooka okukusoma kwona, awo nebaddayo ne bakebera ebyawandiikibwa ebilondedwa okusobola okunyonyolebwa obulungi.
Ebyawandiikibwa ebiwereddwa byamugaso nnyo, kubanga ewatali buyinza kuva mu Bayibuli, ebigambo bino byonna biba bigambo bugambo eby'omwana w'omuntu, kyoka nga ebigambo ebyo eby'omwana w'omuntu biba si bituufu nadala mu bintu ebikwata ku Katonda.(Yobu 42:7). Okugamba nti kikulu ffe okutegeerera ddala kki Katonda kyali kiba kigambo kitono ddala! Okulemelerwa kituletera okusituka, okugoba era okusiinza ba katonda abatali batuufu okwawukana n'okwagala kwe (Okuva 20: 3-5).
Ekyo kyoka Katonda kyasazeewo okutubikulira ku yye, kyetusobola okumanya kyoka. Emu ku mbala ya Katonda, "Musana", ekitegeza nti Katonda Yeeyebikulira mu okuyita mu bimukwatako (Isaaya 60:19, Yakobo 1:1-17). Tetuyina kulekera ensonga ey'okuba nti Katonda atubikkulidde okumanya ebimukwatako, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.(Abaebulaniya 4:1). Ebitonde, Bayibuli, n'Ekigambo ekyafuuka omuntu (Yesu Kristu), bijja kutuyamba okumanya Katonda kyali.
Katusooke okutegeera nti Katonda ye yatutonda era tuli kitundu ku bitonde bye.(Olub. 1:1, Zabbuli 24:1). Katonda agamba nti Omuntu yatondebwa mu kifaananyi kye. Omuntu oli waggulu w'ebitonde byona ebirala era yawebwa okubifuga.(Olub. 1:26-28). Ebutonde, bwayonoonebwa olw'okuggwa kw'omuntu, naye bikyalaga omilimu gya Katonda mu byo.(Olub. 3:17-18; Abaruumi 1:19-20). Bwetulowooza ku bungi bw'obutonde, okuba nga tebutegerekeka, obulungi bwabwo, n'engeri gye bwasengekebwamu, tusobola okutegeera obulungi bwa Katonda.
Okusoma ko kugamu ku manya ga Katonda kisobola okutuyamba ko mukunonyereza kwa ffe ku ki Katonda Kyali. Galambikidwa wano wansi;
Elohiim(Soma Elokiimu) – Katonda Owamannyi.(Olub 1:1)
Adonai(Soma Adonaayi) – Mukama, ekiraga enkolagana wakati w'omukozi ne Mukamaawe(Okuva 4:10,13).
El Elyon(Soma Eli Eliyoona) – Katonda Ali wagulu ennyo, asinga amanyi.( Olub.14: 20)
El Roi (Soma Eli looyi) – Katonda owamanyi alaba( Olub. 16:13).
El Shaddai (Soma Eli Sadaayi) – Katonda omuyinza wabuli kantu(Olub 17:1)
El Olam (Soma Eli Olamu) – Katonda abererera emirembe gyona (Isaaya 40:28).
Yahwe (Soma Yawe) – MUKAMA "NDI", ekitegeeza Katonda aberera emirembe n'emirembe.( Okuva 3:13:13,14).
Ka tweyongereyo nga twetegereza ebisinga ku mbala za Katonda; Katonda aberera emirembe gyonna..Talina ntandikwa, era okubeerawo kwe kwa mirembe gyonna. Tafa, era takoma (Ekyamateeka 33:27); Zabbuli 90:2; 1Timoseewo 1:17). Katonda takyuka; kitegeeza Katonda yesigika era mwesigwa.(Malaki 3:6; Okubala 23:19; Zabbuli 102: 26,27). Katonda tafananyizibwa, ekitegeza nti tewali amufaanana mu byakola, oba embeera ze. Atukiridde (2 Samwiri 7:22; Psalm 86:8; Isaaya 40:25; Matayo 5:48). Katonda teri ayinza kumutegera kumumalayo, tanonyezebwa olwekigendelerwa kyokumutegera okumumalayo. (Isaaya 40:28; Zabbuli 145:3, Abaruumi 11:33, 34).
Katonda mwenkanya, ekitegeza nti teyekubiira, (Ekyamateeka 32:4; Zabbuli 18:30). Katonda alina amanyi agakola byona. Asobola okola buli kimu ekimusanyusa. Naye ebikolwa bye bikwatagana n'embala ze endala zonna.(OKubikkulirwa 19:6, Yeremiya 32:17,27). Katonda ali buli wamu, ekitegeza nti aberawo buli kiseera. Kino tekitegeza nti Katonda ali buli kimu (Zabbuli 139:7-13; Yeremiya 23:23). Katonda amanyi buli kimu. Ekitegeza nti Katonda amanyi ebyayita, ebiriwo kati, n'ebirijja, ne byetulowoozaako mu kasera konna; olw'okuba nga amanyi buli kintu kyonna, okulamula kwe kuba mu bwenkanya ( Zabbuli 139: 1-5; Engero 5:21).
Katonda ali omu, tekitegeza butegeza nti tewali mulala, wabula era kitegeza nti ali yekka mu bwakatonda ng'asobola okutuukiriza obwetaavu bwaffe n'emitima gyaffe gyebiyayanira, era Ye yekka yasaanidde okusinzibwa n'okwewaayo kwaffe (Ekyamateeka 6:4). Katonda mutuukirivu, ekitegeza nti Katonda tasobola era taliyita ku bikolwa bikyamu. Olw'obutukirivu bwe n'obwenkanya, y'ensonga lwaki Yesu Kristo yayina okufuna ekibonerezo kya Katonda (Omwenkanya), ebibi byafe bwebyamutekebwako, ffe tusobole okusonyiyibwa.(Okuva 9:27; Matayo 27:45-46; Abaruumi 321-26).
Katonda asalawo ku lulwe. Ye mukulu asinga, ebitonde byona ng'obigase wamu nga bimanyi oba nga tebimanyi tebisobola kukyusa ntekateka ze.(Zabbuli 93:1; 95:3; Yeremiya 23:20). Katonda mwoyo; ekitegeza nti talabika (Yokaana 1:18; 4:24). Katonda ali omu mu busatu. Omu mu buntu, mu mumanyi, ne ekitiibwa. Bwewetegereza ebyawandiikibwa ebyasose, bikozesa "erinnya" newankubadde nga bitegeza abantu basatu, "Taata, Omwana, n'Omwoyo omutukuvu" (Matayo 28: 19; Makko 1;9-11). Katonda mazima, ekitegeza nti akiriziganya na buli kumi kyali, tasobola kukyusibwa wadde okulimba.( Zabbuli 117:2; 1 Samwiri 15:29).
Katonda mutukuvu, ekitegeza nti Katonda ayawukanye ku kwononeka kwempisa era akukyawa. Katonda alaba obubi bwona era bumunyiza; omuliro gwogerwako wamu n'obutukuvu mu byawandiikibwa. Katonda ayogerwako ng'omuliro ogwokya (Isaaya 6:3; Kabakuku 1:13; Okuva 3:2,4,5; Abaebulaniya 12:29). Katonda ajudde ekisa – kino kitwalilamu; obulungi bwe, ekisa, okusasira, n’okwagala – ebigambo ebyongera okutegeza obulungi bwe. Singa tekyali kisa kya Katonda, embala ze oba embera ze endala zandimutugobyeko. Twebaza Mukama kubanga eno si y'ensonga, kubanga ayagala okumanya buli omu kuffe ku lulwe nga ye (Okuva 34:6; Zabbuli 31: 19; 1 Petero 1:3; Yokaana 3:16; Yokaana 17:3).
Kuno kubadde okugezako okutonotono okudamu ekibuuzo Katonda yekka kyasobola okuddamu. Ddamu amanyi okwongera okumunonya (Yeremiya 29:13).
English
Embala za Katonda ze kki? Katonda ali atya?