Ekibuuzo
Ddala Bayibuli elina ensobi obutakwatagwana, oba okwekontana?
Okuddamu
Bwetusoma Bayibuli nga bwefanana mu bigambo, nga tetulina kyekubiira kyonna oba okusuubira okusanga nsobi yonna, tugisanga nga telina nsobi yonna, ng’ekwatagana era nga nyangu okutegeera. Yye! Waliwo ebyawandiikibwa ebizibu. Yye, Waliwo enyiriri ezirabika nga ezekontana. Tulina okujjukira nti Bayibuli yawandiikibwa abawandiibwa abawandiisi nga amakumi ana okumala emyaka nga lukumi mu bitano. Buli muwandiisi yawandiika mu ngeri yye, okusinziira ku ntegeera ye ey’enjwawulo ku zabalala, era buli eyawandiika yawandiikira abantu banjawulo olw’ensonga ezenjawulo. Tulina okusuubira okwawukana mu byewandiika. Wabula, empandiika ey’enjawulo tetegeeza kukontana. Eba nsobi singa tebeerawo ngeri yonna byawandiikibwa gyebisobola kukwataganyizibwa kukola makulu. Newankubadde nga eky’okuddamu tetukirina kakano, tekitegeeza nti tekiriiwo. Abamu basanze ensobi mu bayibuli ng’ekwatagana ku byafaayo oba ebifo wabula nebasanga nga Bayibuli ntuufu abavumbuzi abasima era abanonya ebintu ebyedda bwebeyongera okunonyereza.
Tufuna nnyo ebibuzo nga bigamba “ Nyonyola engeri enyiriri zino oba tezikontana” oba “Laba, waliwo ensobi eno mu Bayibuli!” Ekituufu kiri nti ebintu bino ebimu abantu byebaleeta bizibu okuddamu. Wabula, tukkiriza nti waliwo okuddamu era ansa ezisobola okutegeerebwa eri buli kibuuzo ekikwatagana ku “kukontana kwa Bayibuli.” Abantu abamu bafuna bafuna ebyokulwanyisa okulwanyisa Bayibuli mu bifo bino wabula ssi ku lwabwe nga bbo. Waliwo ebitabo era emitimbagano egigaana buli nsobi eyogerwako. Ekikwasa ennaku kiri nto abantu abasinga abalumba Bayibuli tebanonya kuddibwamu. “Abalumba Bayibuli” abasinga, bamanyi amazima ansa eri ebibuuzo bino wabula bongera okukozesa obulumabaganyi bwebumu obwekiboggwe olutakya.
Nolw’ekyo, Tulina kukola kki omuntu bwajja gyetuli n’ekirowoozo ky’ensobi ku Bayibuli?
1) Mukuyita mu kusaba, wekeeneenye ebyawandiikibwa olabe oba waliwo eky;okuddamu ekyangu.
2) Kola okunonyereeza ng’okozesa ebitabo ebinyonyola ebyawandiikibwa ebikakasiddwa, wamu n’emitibangano egikola okunonyereza ku Bayibuli.
3) Buuza abasumba oba abakulembeze b’Ekanisa okulaba oba balina ekyokuddamu.
4) Bwoba nga tonafuna kyakuddamu, tukkiriza nti ekigambo kya Katonda mazima era nti waliwo ekyokuddamu wabula nga tekinazuulibwa (2 Timoseewo 2:15, 3:16-17).
English
Ddala Bayibuli elina ensobi obutakwatagwana, oba okwekontana?