settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ngeri kki entuufu ey’okusoma Bayibuli?

Okuddamu


Okumanya amakulu g’ebyawandiikibwa gwegumu ku mulimu ogukyasinze okuba omukulu omukkiriza gwalina. Katonda tatugamba nti tulina kusoma busomi Bayibuli. Tulina okugyekeneenya era netukwata ebyawandiikibwa mu ngeri eyobwegendeereza (2Timoseewo 2:15). Okwekenenya ebyawandiikibwa mulimu mukalubo. Okuyitamu obuyisi mu byawandiikibwa ebiseera ebimu kisobola okuletera omuntu okufuna amakulu agatali matuufu. N’olwekyo, kikulu kyansonga nnyo okumanya enkola entuufu ez’okumanya amakulu matuufu ag’ebyawandiikibya.

Okusooka, Omuyizi wa Bayibuli alina okusaba Omwoyo Mutukuvu okumuwa okutegeera, kubanga ogwo gwe mulimu gwe. “Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. (Yokaana 16:13). Ng’Omwoyo Mutukuvu bweyaluŋŋamya abatume mukuwandiika endagaano empya, yaluŋŋamya mu kutegeera ebyawandiikibwa. Jukira, Bayibuli Kitabo kya Katonda, era tulina okumusaba okusobola okutegeera kki kyekitegeeza. Bwoba oli Mukristaayo, omuwandiisi w’ebyawandiikibwa—Omwoyo Mutukuvu— ali mugwe, era ayagala otegeere biki byeyawandiika.

Eky’okubiri, tetulina kuja kyawandiikibwa wabweru wenyiriri ezikyetolode netugezaako okumanya amakulu agali mu lunyiriri. Tulina okusoma enyiriri ezetolode ne suula okumanya amakulu agetoloodde olunyiriri. Newankubadde ebyawandiikibwa byonna biva eri Katonda, (2 Timoseewo 3:16; 2 Peteero 1:21), Katonda akozesa abantu okubiwandiika. Abasajja bano balina ebilowoozo, n’ebigendererwa eby’okuwandiika, era balina ensonga gyebali bogerako. Tulina okusoma wabweeru w’ekitabo kya Bayibuli okusobola okumanya ani yawandiika ekitabo, yali awandiiira ani, yakiwandiika ddi, era lwaki yakiwandiika. Era tulina okufaayo okukkiriz ekyawandiikibwa okweyogerea. Ebiseera ebimu abantu bawa ebyawandiikibwa amakulu gabwe eri ebigambo ebiri mu byawandiikibwa okusobola okufuna okuvuunula kwebagala.

Eky’okusatu,tetulina kwemalirira nga nga twekeneenya ebyawandiikibwa. Gaba malala okulowooza nti tetusobola kufuna kutegeera okuyita mu mulimu abalala abasooka okusoma ebyanwadiikibwa. Abantu abamu, okuyita mu nsobi, bekeenenya ebyandiikibwa nga balowooza nt bagenda kwesigama ku Omwoyo Mutukuvu yekka era nti bajakusobola okutegeera amazima agekwese mu byawandiikibwa. Kristu, mu kuwa Omwoyo Mutuvu, awadde abantu ebirabo by’Omwoyo eri ekanisa. Ekimu ku birabo by’Omwoyo, kyekirabo ky’okusomesa (Abaefeeso 4:11-12; 1 Abakkolinso 12:28). Abasomesa bano batuweebwa Kristu okusobola okutuyamba okutegeera ebyawandiikibwa obulungi n’okubigondera. Kyamagezi okusoma ebyawandiikibwa wamu nabakkiriza abalala, okuyambagana okutegeera n’okuteeka mu nkola amazima g’ekigambo kya Katonda.

N’olw’ekyo, mu kuwumbawumba, ngeri ki entuufu ey’okwekeneenya Bayibuli? Okusooka, okuyita mu kusaba n’okwetowaza, tulina okwesigama ku Mwoyo Mutukuvu okutuwa okutegeera. Ekyokubiri, tulina okusoma ebyawandiikibwa wamu n’ebyo ebibyetolodde, nga tukkiriza nti Bayibuli yenyonyola. Ekyokusatu, tulina okuwa ekitiibwa emilimu gyabo abasooka, nabaliwo kakano, abekeneenyeza obulungi ebyawandiikibwa. Jukira, Katonda yemuwandiisi wa Bayibuli, era ayagala tugitegeere.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ngeri kki entuufu ey’okusoma Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries