settings icon
share icon
Ekibuuzo

Esaala y'omwononyi yeluwa?

Okuddamu


Esaala y'omwononyi y'esaala omuntu gyasaba eri Katonda bwategera nti mwononyi era yetaaga omulokozi. Okusaba esaala yokka kubwayo terina kyeyinza oba kyesobola kuyamba. Esaala y'omwononyi ekola bwaba nga agisaba ategedde bulungi nti mwononyi era yetaaga omulokozi.

Ensonga esooka ku saala y'omwononyi kwe kutegera nti ffena tuli boononyi. Abaruumi 3:10 egamba nti: " nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu;" Bayibuli ekyogera bulungi nti fena twayoonoona. Ffena tuli boononyi abetaaga ekisa n'okusonyiyibwa okuva eri Katonda. (Tito 3:5-7). Olw'ekibi kyaffe, tugwanira ekibonerezo kya mirembe gyonna. (Matayo 25:46). Esaala y'omwononyi n'olwekyo kuba kwegayirira kukwatilwa kisa mukifo ky'omusango. Kwegayirira kusasiirwa mu kifo ky'obusungu bwa Katonda.

Ensonga ey'okubiri ey'esaala y'omwononyi kwekumanya kki Katonda kyakoze okutereeza embeera y’okubula no bwonoonyi bwaffe. Katonda yayambala nafuuka omuntu- Yesu Kristu (Yokaana 1:1,14) Yesu yatusomesa amazima agakwata ku Katonda era yabeera mu bulamu nga atukiridde era nga talina kibi kyonna (Yokaana 8:46; 2 Abakolinso 5:21). Yesu naafa ku musalaba, natwala ekibonerezo kyetwali tugwanira (Abaruumi 5:8) Yesu yazuukira mu bafu okulaga obuwanguzi eri ekibi, okufa, ne geyeena.(Abakolosaayi 2:51; 1 Abakolinso 15) Olw'ebyo byona, tusobla okufuna okusonyiyibwa era netufuna okisubiizo ekyokubeera mu Ggulu emirembe gyonna - singa tuteeka okukkiriza kwaffe mu Yesu Kristu. Kyoka kye tulina okukola kwe kukkiiriza nti yafa nazuukira ku lwaffe(Abaruumi 10:9-10). Tulokolebwa lwa kisa kyoka okuyita mu Kristu yekka. Abaefeso 2:8 egamba, "kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda:"

Okusaba esaala y'omwononyi, y’engeri enyangu etegeeza Katonda nti wekutte ku Yesu ng'omulokozi wo. Tewali bigambo bya bufuusa biyinza kuvaamu bulokozi. Okukkiriza mu kufa n'okuzuukira kwa Yesu kwoka kwesobola okutulokola. Bwoba ng'okimanyi nti oli mwononyi era nga wetaaga obulokozi okuyita mu Yesu, Yiino esaala y'omwononyi gyosobola okusaba eri Katonda. "Katonda, nkimanyi nti ndi mwononyi. Nkimanyi nti nsaniira ebibonerezo eby'okwonona kwange. Wabula, nzikiriza Yesu ng'Omulokozi wange. Nzikiriza nti okufa kwe n'okuzuukira kwe kwansobozesa okufuna okusonyiwa. Nzikiriza mu Yesu yeka nga Mukama era Omulokozi wange. Webale Mukama, olw'okundokola era n’okunsonyiwa! Amiina!

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Esaala y'omwononyi yeluwa?
© Copyright Got Questions Ministries