settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala abalokole balina okugondera amateeka g'endagaano enkadde?

Okuddamu


Ekisumuluzo okuddamu ensoga kwe kumanya nti amateeka g'endagaano enkadde gaweebwa ensi ya Yisirayeri ssi Bakrisitaayo. Amateeka agamu gali ga kulaga Bayisirayeri engeri y'okugondera Katonda n'okumusanyusa(Eky'okulabirako, amateeka ekumi). Amateeka agamu gaali ga kulaga bana ba Yisirayeri engeri y'okusinza Katonda n'okuwa omutango gw'ebibi (Enkola eya Saddaka). Amateeka agamu gali ga kufuula Yisirayeri yanjawulo ku mawanga amalala (amateeka g'emmere n'okwambala). Tewali Teeka lya ndagaano nkadde likwata ku Mulokole leero. Yesu yafa ku musaalaba , Yateeka ekkomo ku mateeka g'endagaano enkadde.(Abaruumi 10:4; Bagalatiya 3:23-25; Baefeeso 2:12).

Mu kifo ky'amateeka g'endagaano enkadde, tuli wansi weteeka lya Kristu (Abagalatiya 6:2), eliri nti, "Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye."(Matayo 22:37-39). Bwetugondera amateeka ago abiri, tuja kutukiriza buli kimu Kristu kyatwagaza."Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi."(Matayo 22:40).

Kati kino tekitegeza nti amateeka g'endagaano enkadde tegakyalina mugaso lero. Amateeka mangi ag'endagaano enkadde gagwa mu mitendera egyo "Kwagala Katonda, no "Okwagala mulilanwa wo". Amateeka g'endagaano enkadde gasobola okubeera endagiriro enungi etulaga engeri y'okwagala Katonda, n'ebiri mu Kwagala mulirwana wo. Era okugamba nti amateeka g'endagaano enkadde gwakwata ku Mukristaayo Lero kiba kikyamu. Amateeka g'endagaano enkadde gali kitole kimu. Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna (Yakobo 2:10). Gona galina okutekebwa munkola erimu okukola. Bwaba nga Kristu yatukirizako agamu katugeze ng'okuwaayo saddaka, yagatukiriza gonna.

"Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa."(1 Yokaana 5:3). Amateeka gonna ag'endagaano enkadde gafunzibwa mu mateeka ekumi. Amateeka omwenda gaddibwamu mu Ndagano empya (Gonna okujako oly'okutukkuza Sabbiti). Bwetuba twagala Katonda, tetusobola kusinza bakatonda babulimba, oba okuvunamira ebifanannyi. Bwetuba twagala balirwana baffe, tetusobola kubatta, okubalimba, okubendako, oba okwegomba ebintu byabwe. Omugaso gw'eteeka ly'endagano enkadde kwe kulumiriza abantu nti tebalina busobozi kutuukiriza mateeka era ne gatusongera ku bwetaavu bwaffe obwa Yesu Kristu ng'omulokozi (Abaruumu 7:7-9; Abagalatiya 3:24). Katonda tatekatekangako tteka ly'endagano nkadde okuba eteeka elifuga ensi yonna, abantu bonna enaku zonna. Tulina kwagala Katonda nebalirwana baffe. Bwetugondera amateeka gano abiri mu bwesigwa, tujakuba nga tukoze byona Katonda byatwetaza.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala abalokole balina okugondera amateeka g'endagaano enkadde?
© Copyright Got Questions Ministries