Ekibuuzo
Ddala okukkiriza ne sayaansi byekontana?
Okuddamu
Sayaansi kitegeeza “ okwekenenya, okulaba, okunyonyola, okugezesa, okunonyereza, era okunyonyola ensonga ng’omuntu bwaba azudde. Kwekunoonyereza okumanya okuyita mu kulaba oba okwetegereza. Ebivumbuddwa mu sayansi biraga waa omuntu wasobola okukoma mu ku kubaza kw’omuntu (Human Logic) era n’okukuba ebifaananyi. Wabula, okuteeka okukkiriza mu sayansi tekulina kuba ng’okukkiriza kwaffe mu Katonda. Omukristaayo asobola okuba n’okukkiriza mu Katonda era nawa sayansi ekitiibwa, kasita tujjukira ki ku byo ekituukiridde na kki ekitatuukiridde.
Okwesiga kwafe mu Katonda kwa kukkiriza. Tulina okukkiriza mu Mwana We okusobola okulokolebwa, okukkiriza mu Kigambo kye okusobola okumanya biki byetulina okukola, era okukkiriza mu Mwoyo Mutukuvu okutukulembera. Okukkiriza mu Katonda kwaffe mu Katonda kulina kuba nga kutuukiridde oba nga kujjudde, olw’okuba nti bwetuteka okukkiriza kwaffe mu Katonda, tuba twesize Omutonze atukkiridde, ayinza byonna, era ali buli wamu. Okukkiriza kwafe mu sayansi kulina kukoma mu magezi gaffe gokka. Tusobola okutuunulira sayansi okuba nti asobola okukola ebintu bingi, era tusobola okukola ensobi nyingi. Bwetuteeka okukkiriza kwafe mu sayansi, tuba twesize abantu abatattukiridde, aboononyi, abaliko ekkomo era abaggwaawo. Sayansi okuyita mu byafaayo agudde ebintu bingi, nga ensi bwefaanana, okukola entabula z’omubanga, edagala erigema, okugaba omusaayi n’okuzaala. Katonda tabangako mukyamu mu nsonga yonna.
Amazima tegalina kyegatiisa, n’olwekyo tewali nsonga lwaki Omukristaayo atya sayansi omutuufu. Okusoma ennyo ku ngeri Katonda gyeyatonda ensi eyamba omuntu okutegeera era nasanyukira ebyewunyisa by’okutondebwa. Okugaziya amagezi gaffe kutuyamba okulwanyisa endwadde, obutamanya, n’obutategeragana. Wabula, waliwo akabi singa bannasayansi bateeka okukkiriza kwabwe mu bibazo by’abantu okusukkuluma omutonzi waffe. Abantu bano tebalina njawulo na muntu yenna yewadeyo eri ediini; baba basazeewo okuteeka okukkiriza kwabwe mu muntu era baba bazuula obukakafu okunyweza okukkiriza kwabwe.
Era bannasayansi abakyasinze okulowooa nga tebalina kyekubiira, naabo abagana okukkiriza Katonda, bakkiriza nti balina kyebabulako mu kutegeera ensi. Basobola okukkiriza nti sayansi tasobola kuwakanya oba kukakasa okuberawo kwa Katonda oba Bayibuli, nga endowooza zabwe nyingi bwezitasobola kukakasibwa oba kuwakanyizibwa. Sayansi alina okuba nga talina kyekubiira nga anoonya mazima ssi kwongerayo ndowooza oba nteekateeka z’abantu.
Sayansi mungi awagira okubeerawo kwa Katonda era n’emirimu gye. Zabbuli 19:1 egamba, “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye.” Nga sayansi wa lero yeyongera okuzuula ebikwata ku nsi, tuzuula obukakafu bungi obukwata ku Kutondebwa.Obwekusifu n’obutategerekeka bw’endagabutonde, amateeka ga fizikisi oba eneyisa y’ebintu, n’engeri emberi ebirungo by’ebintu byonna ebiri kunsi byonna bikola okuwagira obubaka bwa Bayibuli. Omukristayo alina okuwagira sayansi anoonya amazima, wabula nga agaana “bakabona ba sayansi” abateeka amagezi g’abantu wagulu wa Katonda.
English
Ddala okukkiriza ne sayaansi byekontana?