Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku Bakristaayo okukozesa kizaala ggumba?
Okuddamu
Katonda yalagira omuntu nti “Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi,”(Oluberyeberye 1:28). Obufumbo bwatandikibwa Katonda okuba ewantu ewalungi okuzaalira era n’okukuza abaana. Ekyenaku, abaana leero batwalibwa okuba omugugu oba ekizibu. Bayimirira mu kubo lw’abantu okukola emirimu n’ebiruubirirwa byabwe eby’okukola sente era bonoona ngeri obulamu gyebulina okubaamu. Ebiseera ebisinga, abantu okwelowoozako bokka kwekuletera obantu okwagala okukozesa kizaala ggumba.
Okwawukana ku bantu okuba nti abantu abakozesa ekizaala ggumba berowoozako bokka, Bayibuli eyogera ku baana okuba ekirabo okuva eri Katonda. (Oluberyeberye 4:1; Oluberyeberye 33:5). Abaana busika okuva eri Mukama (Zabbuli 127:3-5). Abaana mukisa okuva eri Katonda (Lukka 1:42). Abaana ngule eri abo abakaddiye (Engero 17:6). Katonda awa abagumba n’abaana (Zabbuli 113:9; Oluberyeberye 21:1-3; 25:21-22; 30:1-2; 1 Samwiri 1:16-8; Lukka 1:7, 24:25). Katonda atonda abaana mu lubuto (Zabbuli 139:13-16). Katonda amanyi abaana nga tebanaba kuzaalibwa (Yeremiya 1:5; Abaggalatiya 1:15).
Bayibuli werabika nga egaana ekizaala ggumba wali mu Oluberyeberye 38, ngeyogera ku batabani ba Yuda Eri ne Onani. Eri yawasa omukyala ayitibwa Tama, wabula yali mubi era Katonda namutta, naleka Tama nga talina mwami oba abaana. Tama yawebwaayo mu bufumbo eri muganda wa Eri, Onani, okusinziirira ku mateeka agaali gafuga abafumbo mu Kyamateeka 25:5-6. Onani yali tayagala kugabana busika bwe na mwana gweyandizadde ku lwa muganda we, nolwekyo nakozesa enkola enkadde eya kizaala ggumba ey’okuyiwa amazzi agazaala ebweru. Oluberyeberye 38:10 egamba, “N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta.” Onani yali yelowoozako yekka era yakozesa Tama okwesanyusa wabula yagaana okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe mu mateeka obw’okuzaala omusika wa Muganda we eyafa. Kino ekyawandiikibwa kikozesebwa ebiseera ebisinga nga obukakafu nto Katonda takkiriza kwegema kuzaala oba kizaala ggumba. Tekwali kugaana kuzaala okwaletera Katonda okutta Onani, wabula ebigendererwa bye oby’obwanakyemalira ebyali emabega w’ebikolwa bye.
Kikulu nnyo okulaba abaana nga Katonda bwabalaba, ssi nga ensi bwebalaba. Mu kwogera ekyo, Bayibuli tegaana kizaala ggumba. Kizaala ggumba kwekugaana okuzaala. Ekikolwa ky’ekizaala ggumba mu kyo ssi kyekiraga oba kikyamu oba kituufu. Nga bwetulabye okuva ku lugero lwa Onani nti ekigendererwa ekiri mabega w’okugaana okuzaala kyekiraga oba okugaana okuzaala kukyamu oba kutuufu.. Abafumbo bwebaba nga bagaana okuzaala mu ngeri y’okwelowoozako nga bbo oba okusobola okuba n’ebintu ebingi, awo kiba kikyamu. Bwebaba nga abafumbo bakozesa ekizaala ggumba okusobola okukula era okusobola okweteekateeka mu by’ensibi n’emu mwoyo, awo, osanga kikirizibwa okukozesa ekizaala ggumba okumala akaseera. Nkiddamu, buli kimu kikomawo ku kigendererwa.
Bayibuli ebiseera byonna etulaga nga okuzaala abaana kintu kirungi. “Baibuli esuubira” omwani n’omukyala bagenda kuzaala abaana. Okulemwa oba okulemererwa okuzaala kilagibwa mu Bayibuli okuba ekintu ekitali kirungi. Tewali muntu mu Bayibuli ayalaga obutayagala kuzaala baana. Wabula tetusobola kukozesa Bayibuli kuwakanya kukozesa kizaala ggumba okumala kaseera akagere. Abafumbo bonna balina okunoonya okwagala kwa Katonda ku ddi lwebalina okugezaako okuzaala abaana oba abaana bameka bebelina okuzaala.
English
Bayibuli eyogera kki ku Bakristaayo okukozesa kizaala ggumba?