settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki tulina okusoma oba okwekeneenya Bayibuli?

Okuddamu


Tulina okusoma Bayibuli kubanga ky’ekigambo kya Katonda gyetuli. Bayibuli “kigambo ekyava mu kamwa ka Katonda” (2 Timoseewo 3:16). Kigambo kya Katonda mweni gyetuli. Waliwo ebibuuzo bingi abasomi bye bebitabo byebabuuza Katonda byaddamu mu Bayibuli. Ekigendererwa ky’obulamu kyeki? Nava wa? Waliwo obulamu nganfudde? Ŋŋenda ntya mu gulu? Lwaki ensi ejjudde obubi? Lwaki ntawaana nnyo okukola obulungi? Ku “bibuuzo bino ebinene”, Bayibuli agatako okutuwabula; Kki kyentunulira bwemba nonya omubeezi? Nfuna ntya obufumbo obulungi? Mbeera ntya omukwano omulungi? Nfuuka ntya omuzadde omulungi? Okukulakulana kyeki era nkufuna ntya? Nkyuka ntya? Kkiki ekikulu mu bulamu? Mbeera ntya nga bwentunula emabega sejjusa? Kwasaganya ntya mu ngeri y’obuwanguzi ebintu ebitali mu bwenkanya era n’ebintu ebibi ebintukaako mu bulamu?

Tulina okusoma era okwekeneenya Bayibuli kubanga yesigika era telina nsobi yonna. Bayibuli yanjawwulo ku bitabo byonna ebilala ebiyitibwa ebitukuvu kubanga tewa buwi nsomesa ku mpisa ezikkirizibwa neegamba “nesiga”.Wabula, tulina obusobozi okugikebera nga tukozesa enkumi n’enkumi z’obunnabi bwelina, nga tukebera ebyafaayo byelina, era n’ensonga z’ekinasayaansi zeyogerako. Abagamba nti Bayibuli elina ensobi amatu gabwe gaggaddwa obutawulira mazima. Yesu lumu yabuuza kiki ekyangu okukwogera, “ebibi byo bisonyiyiddwa” oba “ Situla ekitanda kyo otambule” era nabakakansa nti alina obuyinza okusonyiwa ebibi (Ekintu kyetutasobola kulaba na maaso gaffe) nga awonya eyasanyalala(ekintu kyetusobola okulaba n’amaaso gaffe). Okufaananako, tukakasibwa nti ekigambo kya Katonda kituufu bwe kyogera ku bintu by’omwoyo byetutasobola kulaba n’amaaso gaffe nga kyelaga okuba ekituufu wetusobola okukikebera, nga obutuufu bwebyafaayo, eby’ekinansi, n’obunabbi.

Tulina okusona Bayibuli kubanga Katonda takyuka era kubanga embeera z’abantu nazo tezikyuka. Ekigambo kikyali kya mugaso nga bwekyali nga kyakawandiikibwa. Newankubadde tekinologiya akyuka, embeera z’abantu n’okwagala tebikyuka. Bwetuba tusoma ebyafaayo mu Bayibuli, tulaba nga enkolagana z’abantu ssekinnoomu oba ebintundu tebikyuka. “Tewali kipya wansi we ggulu” (Omubuulizi 1:9). Newankubadde nga obuntu bunonya okwagala n’okukusibwa mu bifo ebikyamu, Katonda—Katonda waffe omulungi era omutonzi owekisa—atubulira ebyo ebinatuwa esanyu eliberera. Ekigambo kye kyatubikkulidde, ekya Bayibuli, kikuli nnyo Yesu okutuuka okugamba nti, “Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4). Kwegamba, bwetuba twagala okuba n’obulamu obujudde, nga Katonda bweyateekateeka, tulina okuwulira era okugondera ekigambo kye.

Tulina okusoma Bayibuli kubanga waliwo ensomesa eyobulimba nyinji. Bayibuli etuwa ekipimo ekituyamba okwawula amazima ku bulimba. Etubulira Katonda kki kyali. Okuba n’ekifaananyi kya Katonda ekikyamu, kuba kusinza kifanaanyi oba ba katonda abakyamu. Tuba tusinza katonda atali mutuufu. Bayibuli etubuulira engeri omuntu gyagenda mu gulu, era tetugamba nti oyita mu kuba muntu mulungi oba mu kubatizibwa, oba ekintu kyona kyetukola(Yokaana 14:6; Abaefeeso 2:1-10; Isaaya 53:6; Abaruumi 3:10-18, 5:8, 6:23, 10:9-13). Mu buufu bwebumu, Ekigambo kya Katonda kitulaga engeri Katonda gyatwagala (Abaruumi 5:6-8; Yokaana 3:16). Okuyita mu kutegeera kino kituyamba okusembezebwa okumwagala (1 Yokaana 4:19).

Bayibuli etuwa byetwetaaga okuwereza Katonda (2 Timoseewo 3:17; Abaefeeso 6:17; Abaebbulaniya 4:12). Etuyamba okumanya engeri gyetusobola okulokolebwa okuva mu bibi byaffe n’emitawaana egyiva mu byo ku nkomerero.(2 Timoseewo 3:15). Okufumintiriza ku Kigambo kya Katonda n’okigondera kituletera okuwangula mu bulamu (Yoswa 1:8; Yakobo 1:25). Ekigambo kya Katonda kituyamba okulaba ekibimu bulamu bwaffe era n’okuwangula.(Zabbuli 119:99). Kitukulembera mu bulamu, n’ekitufuula abagezi okusinga abatusomesa (Zabbuli 32:8, 119:99; Proverbs 1:6). Bayibuli etuyamba obutayonoona myaka gya bulamu bwaffe mu ebyo ebitayamba era ebitabeerera (Matayo 7:24-27).

Okusoma era okwekeneenya Bayibuli kutuyamba okulaba okusukkuluma ebyo ebisikiriza, ebirabika obulungi era ebikema, okusobola okuyiga okuva ku nsobi z’abantu abalala. Ebintu byetuyitamu bituyigiriza okusinga ekintu ekirala kyona, wabula bwekituuka ku kibi, byetuyitamu bituyisa bubi nnyo.

Kisingako okuyigira ku nsobi z’abantu abalala. Waliwo abantu bangi mu Bayibuli betusobola okuyigirako, abamu nga basobola okukola ng’ebyokulabirako ebirungi abalala ebibi okusinzira ku biseera ebyenjawulo mu bulamu bwaffe. Okugeza, Dawudi, okuwangula Goliyasi, kitusomesa nti Katonda munene okusinga ekintu kyonna kyakkiriza tusisinkane.( 1 Samwiri 17), kyoka obwenzi ne Basheba butulaga ebituukawo nga twonoonye bwe biba ebibi era bwemala ebanga eddene.

Bayibuli si kitabo kyakusoma busomi. Kitabo kyakwekeneenya okusobola okukiteeka mu nkola. Awatali ekyo, obanga agayiza emmere ate n’ojiwanda—oba tolina kiliisa kyofunyemu. Bayibuli kigambo kya Katonda. N’olw’ensonga eyo, kitukwatako era kitusiba nga amateeka g’obutonde. Tusobola okukyewala, wabula tukikola nga tweletera akatyabaga nga bwekyandibadde singa tugaana amateeka g’obutonde. Tetusobola kukikkatiriza kimala nga Bayibuli bweri enkulu mu bulamu bwaffe. Okugyekeneenya kifanaana kukusima zaabu. Bwetuagayaala netukebera bukebezi mu myala, tusanga mpeke buweke eza zaabu, wabula bwetusima, tusasulwa kinene olwamanyi getuba tutaddemu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki tulina okusoma oba okwekeneenya Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries