settings icon
share icon
Ekibuuzo

Manya ntya okwagala kwa Katonda eri obulamu bwange? Bayibuli egamba kki ku kwagala kwa Katonda?

Okuddamu


Kikulu okumanya okwagala kwa Katonda. Yesu yagamba, baganda be bebo bokka abakola okwagala kwa Kitaawe."Kubanga buli muntu yenna anaakolanga Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange."(Makko 3:35) Mu lugero lwa batabani ababiri, Yesu anenya Kabona omukulu olw'okulemelerwa okukola okwagala kwa kitaawe; okusingira ddala olwobutenenya no "butakkiriza"(Matayo 21:32). Okusokera ddala, okwagala kwa Katonda kwe kwenenya olw'ebibi byaffe n'okukkiriza Kristu. Bwetutatwala daala elyo elisooka, tuba tetukkiriza kwagala kwa Katonda.

Bwetumala okukkiriza Kristu okuyita mu kukkiriza, tufuulibwa bana ba Katonda (Yokaana 1:12), era ayagala okutukulembera mu kkubo lye( Zabbuli 143:10). Katonda tagezangako kukweka kwagala kwe gyetuli. Ayagala okukutubikulira. Amazima gali nti, atuwadde endagiliro okuyita mu Kigambo kye "mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli."(1 Abasesalonikka 5:18). Tulina okukola obulungi (1 Peter 2:15). "Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;"( 1 Abasesolonika 4:3)

Okwagala kwa Katonda kusobola okumanyika era okukeberebwa. Abaruumi 12:2 egamba, "So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu." Ekyawandiikibwa kino kituwa ensengekka entufu: Omwana wa Katonda agaana okufananyizibwanga ng'emirembe gino, nakkiriza okukyusibwanga omwoyo. Amagezi ge nga bwegafulibwa amaggya okusinzira ku bintu bya Katonda awo asobola okumanya okwagala kwa Katonda okutukkiridde.

Nga tunonya okwagala kwa Katonda, tulina okukakasa nti kyetutunuridde tekikontana na Bayibuli. Okugeza Bayibuli egaana okubba; kubanga Katonda ayogedde bulungi ku nsonga eno, tumanyi nti si kwagala kwa Katonda ffe okuba ababbi ba Banka – tetulina na kukisabira. Era Tulina okulaba nga kyetwagala kigulumiza Katonda era kiyamba abalala naffe okukula mu mwoyo.

Okumanya okwagala kwa Katonda kuba kuzubi ebiseera ebimu kubanga kwetaaga obuguminkiriza. Kya buntu okwagala okumanya okwagala kwa Katonda kwonna omulundi gumu, naye si bwatyo bwakola ebiseera ebisinga. Atubikulira okwagala kwe mpola mpola – buli kyabikula kyetaaga edaala ely'okukkiriza, era natukkiriza okusigala nga tumwesiga. Ekisinga obukulu kiri nti, nga tulinda ebiragiro ebiddako, tulina okusigala nga tukola ebyo ebirungi byetumanyi okukola.

Ebiseera ebisinga twagala Katonda atuwe buli kimu akikwata ku kwagala kwe getuli—wa gyetulina okukolera, wa gyetunabeera, ani owokuwasa, mmotoka kki ey'okugula, n'ebirala. Katonda atukiriza okusalawo, era, bwe tuba nga twewaddeyo gyali, alina engeri gyatusobozesa obutasalawo bubi.

Gyetukoma okumanya omuntu, gyetukoma okumanya okwagala oba okuyaayana kw'omuntu oyo. Okugeza, omwana asobola okutunilira omupiira ogubuuse negusala ekkubo na tagugoba, kubanga akimanyi," Taata wange tayagala nkole ntyo." Talina kwebuuza ku Kitaawe ku buli kintu kubanga amanyi kitaawe. Kyekimu ne mu nkolagana yafe ne Katonda. Nga tutambula ne Katonda, nga tugondera ekigambo kye era nga twesigamye ku mwoyo Omutukuvu, tutegeera nti tuwereddwa amagezi ga Kristu(1Abakolinso 2:16). Tumumanya era ekyo kituyamba okumanya okwagala kwe. Tufuna okulemberwa kwa Katonda. "Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira."(Engero11:5).

Bwetuba nga tutambulira wamu ne Mukama, nga twagala mu mazima okukola okwagala kwe mu bulamu bwaffe, Katonda ajja kuteeka okwagala kwe mu mitima gyaffe. Ekisumuluzo kiri mu kwagala kwa Katonda, si kwaffe. "Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba."(Zabuli 37:4).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Manya ntya okwagala kwa Katonda eri obulamu bwange? Bayibuli egamba kki ku kwagala kwa Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries