settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ntereera ntya ne Katonda?

Okuddamu


Okusobola okutereera ne Katonda, tulina okusooka okutegeera ki ekitateredde. Okuddamu ekibuuzo ekyo; Kibi. "Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu; Siwali akola obulungi, newakubadde n'omu." Tuyekedde ebilgiro bya Katonda;" (Zabbuli 14:3), "Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna."(Isaaya 53:6).

Amawulire amabi gali nti empeera ye kibi kufa " Laba, emmeeme zonna zange; ng'emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana bw'etyo yange: emmeeme ekola ekibi ye erifa."(Ezekyeri 18:4). Amawulire amalungi gali nti Katonda atunonyeza okusobola okutusembeza eri obulokozi. Yesu yalangirira ensonga lwaki yajja "Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.(Luka 19:10), era nalangirira nti ensonga eyo yali Agimaliriza bweyafa ku musalaba, mu bigambo bye nti, : "Kiwedde", (Yokaana 19:30).

Okufuna enkolagana ennungi ne Katonda kutandika na kukkiriza kibi kyo. Ekiddako, kwatula kibi kyo mu bwetowaze eri Katonda,( Isaaya 57:15), n'okumalirira okuleka ekibi." kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka."( Abaruumi 10:10).

Okwenenya kuno kuteekwa okugobererwa okukkiriza – okukkiriza nti okwewaayo kwa Yesu nga Ssaddaaka n'ekyamagero ky'okuzuukira kwe kimusobozesa okubera omulokozi wo." kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:" (Abaruumi 10:9). Ebyawandiikibwa ebirara bingi nga Yokaana 20:27; Ebikolwa 16:13; Abagalatiya 2:16; 3:11, 26, n'Abaefeso 2:8, byogera ku mugaso gw'okukkiriza.

Okutereera ne Katonda kitukawo bwotegera era nokiriza ekyo Katonda kyeyakola ku lulwo.. Yasindika omulokozi. Yawayo Ssadaka okujjawo ekibi kyo (Yokaana 1:29), era akuwa ekisuubizo" Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka", (Ebikolwa 2:21).

Ekifanaanyi ekirungi ekiraga okwenenya, n'okusonyiyibwa, lwe lugero lw’omwana eyazaawa (Lukka 15:11-32). Omutabani omuto yayoonoona ekirabo kya Taata we mu buswavu obwekibi( Olunyiriri 13). Bweyategeera nakkiriza ensobi ye, yasalawo okudda ewa kitaawe(olunyiriri 18), Taata yayagala omwana eyali abuze nga bweyamwagala okusooka.(Olunyiri 20).Okusobya kwe kwonna kwasonyiyibwa era newaberawo n'okujjaguza.(Olunyiriri 24). Katonda mulungi era akuuma ebisuubizo bye, nga kwekuli n'ekisuubizo ekyokusonyiwa. " Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde."(Zabbuli 34:18).

Bwoba ng'oyagala kukkiriza Yesu Kristu ng'Omulokozi wo ofune okusonyiyibwa okuva eri Katonda, Osobola okusaba esaala eno. Jjukira , okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Krsitu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." "Katonda, nkimanyi nga nyononye gwe, era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, n'okusonyiyibwa – ekirabo eky'obulamu obuttaggwawo Amiina!"

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ntereera ntya ne Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries