settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nyinza ntya okufuna obukakafu obw’obulokozi bwange?

Okuddamu


Obagoberezi bangi aba Yesu Kristu banoonya obukakafu obulaga okulokolebwa kwabwe mu bifo ebikyamu. Twesanga nga tunoonya obukakafu obw’obulokozi bwaffe mu bintu katonda bakola mu bulamu bwaffe, mu ngeri gyetukula mu mwoyo, ebikolwa ebilungi byetukola, n’engeri okugondera ekigambo kya katonda gyekilabisibwa mu bulamu bwaffe obwekiristaayo. Newankubadde nga ebintu bino bijulira obulokozi bwaffe, si byetulina okutunuulira okutulaga obukakafu oba twalokoka. Wabula, tulina okuzuula obukakafu bwokulokoka kwaffe mu mazima g’ekigambo kya Katonda. Tulina okuba n’obwesige nti twalokoka okusinzira ku bisuubizo Katonda byeyasuubiza, si ku ebyo byetuyitamu, ebintu ebikyuka okuva ku muntu omu okutuuka ku mulala.

Oyinza otya okufuna obukakafu bw’obulokozi bwo? Tunuulira 1 Yokaana 5:11-13: “Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

byo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda. Ani alina omwana? Abo bonna abamutaddemu obwesige(Yokaana 1:12). Bwoba olina Yesu , olina obulamu. Si obulamu obuggwaawo, wabula obutaggwaawo.

Katonda ayagala tubeere n’obukakaku bw’okukulokoka kwaffe. Tetulina kuba mu bulamu nga twebuuza era nga twelarikirira oba twalokoka oba nedda. Yensonga lwaki Bayibuli eteekateeka obulokozi bwaffe mu ngeri osobola okutegereebwa obulungi Kkiriza Yesu Kristu(Yokaana 3:16; Ebikolwa 16;31). “kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:”(Abaruumi 10:9) Weneenya ebibi byo? Okkiriza nti Yesu yafa okusasula omutango gw’ebibi byo, era nazuukira okuva mu bafu(Abaruumi 5:8; 2 Abakkolinso 5:21)? Omukkiriza okuba nti yekka yasobola okukkulokola? Bwoba nga ansa yo oba nga okuddamu kwo kuli “yye,” walokolebwa! Obukakafu butegeeza nti tobusabuusa. Bwotegeera ekigambo kya Katonda, tosobola kuba na kubusabusa mazima gali mu kulokolebwa kwo okuberera emirembe gyonna.

Yesu mwenyini akakasa abo bonna abakkiriza mu yye, “Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuutu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.

N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima.(Yokaana 8:28-29). Obulamu obutaggwaawo bwebwo—tebuggwaawo oba bwa mirembe gyonna. Tewali muntu yenna, kobeere gwe, asobola okukuggyako ekirabo ky’obulokozi bwo.

Sanyukira mw’ekyo ekigambo kya Katonda kyekyogera gyoli: mukifo ky’okubusabusa, tusobola okuba n’obukakafu! Tusobola okuba n’obukakafu okuva mu kigambo kya Yesu mwene nti obulokozi bwaffe bunywevu. Obukakafu bwobulokozi bwaffe buzimbiddwa ku bulokozi obujjude, obutukkiride Katonda bwatuwa okuyita mu Yesu Kristu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nyinza ntya okufuna obukakafu obw’obulokozi bwange?
© Copyright Got Questions Ministries