Ekibuuzo
Waliyo obulamu oluvanyuma lw'okufa?
Okuddamu
Okubeerawo kw'obulamu oluvanyuma lwokufa kibuuzo kibuziibwa mu ensi yonna. Yobu atwogerera ffena bwagamba, "Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike. Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera...Omuntu bw'afa aliba mulamu nate?..."(Yobu 14:1-2, 14). Nga Yobu, ffena tusoomoozebwa ekibuuzo kino. Ki ddala ekitukawo bwetufa? Tulekerawo bulesi okubaawo? Obulamu bulinga olujji olwegula nga bwelweggala okusobozesa omuntu okuva n’okudda ku nsi asobole okuba owekitalo? Ffena tugenda mu kifo kyekimu oba ebifo byanjawulo? Ddala waliyo eggulu ne geyeena?
Bayibuli etugamba nti tewali bulamu bwoka oluvanyuma lw'okufa, naye obulamu obutaggwaawo obujudde ekitiibwa "...Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.(1 Abakolinso 2:9). Yesu Kristu, Katonda ayambadde omubiri, yajja ku nsi okutuwa ekirabo eky'obulamu obuttaggwaawo." "Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu".(Isaaya 53:5). Yesu yettika ekibonerezo ffena kyetwali tugwana nasaddaka obulamu bwe okusasula omutango ogw'ebibi byaffe. Oluvanyuma lw'ennaku satu, yalaga obuwanguzi bwe eri okufa bwe yazuukira okuva mu ntaana. Yasigala kunsi okumala ennaku ana era enkumi n'enkumi z'abantu zaamulaba nga ayambuka okugenda mu Ggulu. Abaruumi 4:25 egamba: "eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.”
Ebyatukawo ku kuzuukira kwa Yesu byawandiikibwa bulungi. Omutume Pawulo asoomooza abantu okubuuza abo abaliwo era abamulaba okusobola okukakasa, era tewali yasobola kuwakanya mazima. Okuzuukira kwa Yesu, ly'ejjinja ly'omunsonda okuzimbibwa okukkiriza kw'ekyikristaayo. Olwokuba Yesu yazuukira mu bafu, tusobola okuba n'okikkiriza nti naffe tujja kuzuukizibwa. Okuzuukira kwa Yesu bwe bukakafu obw'enkomeredde obw'obulamu obuttaggwaawo. Kristu yeyasooka mu makungula amanene, agaabo abanazuukizibwa natte. Okufa kwajja okuva mu muntu omu, Adam, owoluganda lwaffe ffena. Naye abo bonna abayingizibwa okufuuka abaana mu nyumba ya Katonda okuyita mu Kristu, bajja kuweebwa obulamu obujja.(1 Bakolinso 6:14).
Olwokuba ffena tujja kuzuukizibwa, Ssi buli omuntu nti ajja kugenda mu Ggulu. Okulondawo kulina okukolebwa buli muntu kululwe, era buli kyalondaawo kijja kutegeeza wa gyagenda okumala obulamu obuttaggwaawo. Bayibuli etugamba nti omuntu ategekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo kusala musango;(Abaebbulaniya 9:27). Abo abafuulibwa abatukuvu olw'okukkiriza Kristu bajja kugenda mu bulamu obutaggwaawo mu Ggulu, naye abo abagaana Kristu okubeera omulokozi wabwe, bajja kusindikibwa mu geyeena (Matayo 25:46). Geyeena ng'Eggulu kifo ekyaddala. Kiffo abatali batukirivu gyebagenda okulaba obusungu bwa Katonda obutakoma. Geyeena eyogerwaako ng'obunnya obutakoma (Lukka 8:31; Okubbikulirwa 9:1) era enyanja ey'omuliro nekibiriti, abanabeerayo gye banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe gyona (Okubikkulirwa 20:10). Mu geyeena, mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji, ekiraga ennaku, n'obusungu obw'amanyi (Matayo 13:42).
Katonda, tasanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu.(Ezekyeri 33:11). Naye tajja kutuwaliriza kumugondera. Bwetugaana okumukkiriza, akkiriza okusalawo kwaffe kwetusazeewo okuba ewala naye emirembe gyonna. Obulamu kunsi kigezo, ekitutekeratekera obulamu obugya. Eri abakkiriza, obulamu ngabafudde, baja kubumala mu Ggulu emirembe gyona ne Katonda. Abatakkiriza, obulamu nga bafudde baja kubumala mu nyanja ey'omuliro. Bwetufa, tuyinza tutya okufuna obulamu obuttaggwaawo mu Ggulu netwewala enyanja ey'omuliro? Waliwo ekkubo limu lyoka-okuyita mu 'kukkiriza Yesu Kristu. "Yesu n'amugamba nti, 'Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe." (Yokaana 11:25-26). Ekyo Okikkiriza?'
Ekirabo eky'obulamu obuttaggwaawo wekiri eri buli muntu yena. "Akkiriza Omwana alina obulamu obuttaggwaawo; naye atakkiriza mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye."(Yokaana 3:36). Tetuja kuweebwa mukisa okukkiriza kirabo eky'obulokozi nga tumaze okufa. Tusalawo gyetunalaga okubeera emirembe gyona nga tukkiriza oba nga tuganye Yesu Kristu. "kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi" (2 Abakolinso 6:2). Bwetukkiriza okufa kwa Yesu Kristu nga kwasasula omutango ogw'ebibi byaffe bye twayonoona eri Katonda, Tetuweebwabuweebwa bulamu bwokka obujudde kunsi, naye n'obulamu obuttaggwaawo oluvanyuma lw'okufa, bwetunamala mu kubeerawo kwa Kristu okujjude ekitiibwa.
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Waliyo obulamu oluvanyuma lw'okufa?