Ekibuuzo
Nyinza ntya okuwangula ekibi mu bulamu bwange obw'ekilokole?
Okuddamu
Bayibuli etuwa eby’okukozesa ebiwerako okutuyamba mu lutalo lwaffe olw'okuwangula ekibi. Mu bulamu buno bwetulimu, tetujja kufuna buwanguzi butukiridde eri ekibi (1 Yokaana 1:8). Naye eky’okuwangula ekibi kilina okusigala nga kye kigendererwa kyaffe. Nga katonda atuyambye, nga tugoberera ebiragiro by'ekigambo kye, tusobola okuwangula ekibi mpola mpola buli lunaku, era tusobola okutandika okufuuka nga Kristu.
Eky'okukozesa ekisooka Bayibuli kyeyogerako mu lutalo lwaffe olw'okuwangula ekibi y’Omwoyo Omutukuvu. Katonda atuwadde Omwoyo Mutukuvu tusobole okubeera abawanguzi mu bulamu obwebukristaayo. Katonda agerageranya ebikolwa eby'omubiri n'ebibala eby'Omwoyo mu Bagalatiya 5:16-25. Mu kyawandiikibwa ekyo, tuyitibwa okutambulira mu Mwoyo. Abakkiriza bonna balina Omwoyo Mutukuvu, naye ekyawandiikibwa kino kitugamba okutambulira mu Mwoyo, nga tugondera okufuga kwe. Kino kitegeeza tulina okusalawo okugoberera edoboozi lw'Omwoyo Omutukuvu, mu bulamu bwaffe okusinga okugoberera omubiri.
Enjawulo Omwoyo Mutukuvu gyasobola okukola elabisibwa mu Bulamu bwa Petero. Nga tanajjuzibwa Mwoyo mutukuvu, yegaana Yesu emirundi esatu—nga yakamala okugamba nga bwanagoberera Yesu okutuusa okufa. Bweyamala okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, yayogera ku Yesu mu lujjudde era mumanyi ku lunaku lwa Pentekooti.
Tutambulira mu Mwoyo nga tugezaako obutazikiza Mwoyo(nga bwekyogerebwa mu 1 Basessaloniika 5:19) era netunoonya okujjuzibwa Omwoyo(Abaefeso 5:18-21). Omuntu ajjuzibwa atya Omwoyo Mutukuvu? Okusookera ddala, Katonda yasalawo, era nga bwekyaali mu Ndagaano enkadde. Yalondanga abantu okukola emirimu gye- abantu beyayagala, era nabajjuza Omwoyo gwe (Oluberyeberye 41:38; Okuva 31:3; Okubala 24:2; 1 Samwiri 10:10) Waliwo obukakafu mu Baefeso 5:18-21 ne BaKkolosaayi 3:16 nti Katonda asalawo okujjuza abo abejjuza ekigambo kye. Kino kitukulembera okututwala ku Kikozebwa eky'okubiri.
Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, egamba nti Katonda atuwadde ekigambo kye ekituyaamba okuba na buli kyetwetaaga okukola emirimu emirungi. Ekigambo kitusomesa engeri y'okukkiriza na kki eky'okukkiriza, kitubikkulira amakubo amakyamu getuba tulonze, era nekituyaamba okudda mu Kkubo ettuufu, n’okulinywererakko, Abaebbulaniya 4:12 etugamba nti ekigambo kya Katonda kiramu, kyamanyi era kisobola okuyingira emitima gyaffe okusigukulayo n'okuwangula ebibi ebikyasinze okukwekebwa ewala. Omuwandiisi wa Zabbuli ayogera ku manyi g'ekigambo agakyuusa obulamu mu Zabbuli 119. Yoswa yagambibwa nti ekisumuluzo eky’okuwangula abalabe be kiri mu buterabira Kigambo kino, okukirowoozako emisana n'ekiro n'okukigondera. Kino yakikola newankubadde nga Katonda byeyamugamba byali tebikola makulu mu lutalo, era kino kye kyali esumuluzo eky'obuwanguzi mu ntalo ze ez’okutwala ensi ensubiize.
Bayibuli ky'ekyokukozesa kyetunyooma ebiseera ebisinga. Tujjifunirayo kadde akatono okutuusa omukolo, twetikka Bayibuli zaffe kyoka netulemererwa okukwata ekigambo mu mitwe gyaffe, ne tutakirowooza. Tulemererwa okukiteeka mu nkola. Tulemererwa okwatula ebibi ekigambo byekitubikkulira oba okusinza Mukama olw'ebirabo ekigambo kyebitubikkulide. Mu kulya ekigambo, kubibiri kimu ekitutukako, tuyingiza ekitumala okutusobozesa okubera abalamu mu mwoyo(naye nga tekimala kutufuula Bakristaayo abakula era abawangula), oba tulya emirundi mingi naye nga ekigambo tetukifumintirizaako ekimala okusobola okufuna ekiriisa okuva mu kyo. Kikulu nti bwoba tonatandikawo nkola ey'okusoma Bayibuli mu ngeri y'okwetegereza, buli lunaku, n’okukwata ebyawandiikibwa, kyandibadde kirungi otandike. Abamu balaba nga kyamugaso okuwandiika byebayiga ne byebalowooza buli lunaku. Gufuule muze okuwandiika byoyize mu kusoma kwo okwa Bayibuli buli lunaku. Abamu berikoodinga nga basaba Katonda okubayamba mu nsonga zayogedde nabo ez'okukyusibwa okuyita mu Kigambo kyebasomye. Omwoyo Omutukuvu akozesa Bayibuli mu bulamu bwaffe(Abaefeso 6:17), era kyekyokulwanyisa ekikulu Katonda kyatuwa okulwana entalo zaffe ez’omwoyo( Abaefeso 6:12-18).
Ensonga eyokusatu enkulu mu bulamu bwaffe nga tulwanyisa ekibi kwe kusaba. Era kyekikozesebwa kyebogerako obwogezi nebatakikokozesa bulungi. Tubeera n'okusaba wamu n'aboluganda, naffe tusaba, naye tetukozesa kusaba ng'ekanisa eyasooka( Ebikolwa 3:1; 4:31;6:4;13:1-3) Pawulo akiddamu emirundi mingi nga bweyasabira abo beyawerezanga. Katonda atuwadde ebisuubizo ebirungi ebikwatagana n'okusaba( Matayo 7:7-11; Lukka 18:1-8; Yokaana 6:23-27; 1 Yokaana 5:14-15), era Pawulo atekamu esaala nga awandiika ku kwetekeratekera olutalo olw'omwoyo.
Okusaba kukulu kwenkana kki mu kuwangula ekibi mu bulamu bwaffe? Tulina ebigambo bya Kristu eri Petero mu nimiro ye Gesemeeni, nga Petero tanaba kumwegaana. Nga Yesu asaba, Petero yali yebaase. Yesu amuzukusa namugamba, "Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu." Naffe nga Petero, twagala okukola ekituufu naye twesaanga nga tetulina manyi. Tulina okusigala nga tunoonya Mukama, nga tukonkona , era nga tusaba, Mukama agya kutuwa amanyi ge twetaga (Matayo 7:7). Okusaba si nkola ya bufuusa. Okusaba kukkiriza nti tetulina kyetusobola kukola era nti Katonda alina amanyi agatasobola kumalibwawo, era tulina okuda gyali okusobola okufuna amanyi okusobola okukola ekyo kyayagala tukole ssi kyetwagala okukola(1Yokaana 5:14-15).
Eky’okulwanyisa ekyokuna mu lutalo lw'okulwanyisa ekibi ye Kanisa, Abakkiriza nga basa kkimu. Yesu bweyasindika abayigirizwa be, yabasindika babiri babiri (Matoyo 10:1). Abamisaani mu Bikolwa bya Batume tebaagendanga omu wabula bagendanga bangi. Yesu atulagira obutalekangayo kukuŋŋaana wabula okukozesa akaseera ako okwezaamu amanyi mu kwagala, nemubikolwa ebirungi (Abaebbulaniya 10:24) Atugamba akwatuliragana ensobi zaffe (Yakobo 5:16). Mu bitabo ebyamagezi mu Ndagaano enkadde, tugambibwa nti ekyuuma kiwagala kyuuma (Ngero 27:17),era nti abantu abangi babeera n'amanyi.( Omubuliizi 4:11-12).
Abalokole bangi bakizuula nti okufuna omuntu gwowa embalirira y'obulamu bwo kyamugaso nnyo mu kuwangula ekibi. Okufuna omuntu omulala asobola okwogera naawe, okusaba nawe, nakuzaamu amanyi, era nakunenya kilina omugaso gw’amanyi. Ffena tuyita mu kukemembwa(1 Abakolinso 10:13). Okuba n'omuntu gwowa embalirira oba ekibina ky’obulira byoyitamu kisobola okuttuzaamu manyi era ne kitusindiikiriza okuwangula n'ebibi ebikyasinze okuba ebizibu.
Ebiseera ebimu obuwanguzi eri ekibi buggya mangu, ebiseera ebirala buggya mpola mpola. Katonda asuubiza nti, nga tukozesa ebikozesebwa byeyatuwa, Agya kuleeta enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Tusobola okulemerako mu kulwana kwaffe kubanga tumanyi nti mwesigwa okutukiriza ebisuubizo bye.
English
Nyinza ntya okuwangula ekibi mu bulamu bwange obw'ekilokole?