Ekibuuzo
Abakristaayo balina kugunjula baana babwe? Bayibuli eyogera kki?
Okuddamu
Engeri entuufu y’okungunjula abaana esobola okuba okuba ekintu ekizibu okuyiga, wabula kikulu nnyo okugiyiga. Abamu bagamba nti engeri y’okunonereza abaana katugeze okubakuma kiboko ye ngeri yokka Bayibuli gyekkiriza. Balala bagamba nti “okusindika abaana babere bokka” n’ebibonerezo ebirala ebitalimu kukubibwa byebisinga okugasa era bye byetaagisa.
Totutegeera bubi—tetuwagira kuyisa baana bubi oba okuwagira okuvoola edembe ly’abaana mu ngeri yonna. Omwana talina kukangavvulwa okutuuka ku kigera eky’okumuteeka obulabe. Okusinziira ku Bayibuli okukuba abaana kiboko n’enkola eringa eyo y’enkola ekkirizibwa, ennungi era eretera omwana okukula obulungi mu ngeri entuufu.
Ebyawandiikibwa bingi amazima gali nti biwagira okukuba abaana kiboko. “Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa.Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe.” (Engero 23:13-14; era soma 13:24; 22:15; 20:30). Bayibuli eraga bulingi omugaso gw’okukangavvula omwana; era ky’ekintu ffena kyetulina okuba nakyo okusobola okuba abantu abagasa, era kyangu okuyiga nga tukyali baana bato. Abaana abakula nga tebagunjuddwa ebiseera ebisinga bakula bajeemu, nga tebateeka kitibwa mu bantu babayinako buyinza nebamaliriza nga kibazibuwadde okugondera n’okugoerera Katonda mu dembe. Katonda mwenyini akozesa okukangavvula okututereeza n’okutukulemera mu kubo etuufu era n’okusobozesa okwenenya olwebyo ebibi byetuba tukoze (Zabbuli 94:12; Engero 1:7; 6:23; 12:1; 13:1; 15:5; Isaaya 38:16: Abaebbulaniya 12:9)
Okusobola okukozesa okukangavvula omwana obulungi mu nkola eya Bayibuli, Abazadde balina okumanya ebyawandiikibwa ebyogera ku kukukangavvula. Ekitabo ky’Engero kirimu amagezi mangi ku ngeri y’okukuzaamu omwana, nga, “Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.” (Engero 29:15).Olunyiriri luno lulaga ebiva mu butagunjula mwana—abazadde bebaswaala.Okugunjula oba okukangavvula omwana kulina okubaamu ebigendererwa ebisooka nga bya mwana kukula bulungi era tekulina kukozesebwa kuvoola dembe lya mwana, n’okumubonyabonya. Tekulina kukozesebwa kukozesebwa mu busungu era mu kweralikira.
Okugunjula kukozesebwa okutereza era okutendeka omwana okutambulira mu kubo etuufu. “Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu.” (Abaebbulaniya 12:11). Okukangavula kwa Katonda kwagala. Era bwekityo bwekirina okuba wakati w’omuzadde n’omwana. Okukangavula omwana tekulina kukozesebwa okuleeta obulabe oba obulumi obw’ekiseera ekiwanvu ku mubiri gwe. Okukangavula omwana kulina okugobererwa n’okuwooyawooya oba okubudabuda omwana mu ngeri y’okumukakasa nti ayagalibwa. Ebiseera bino byebituufu okusomesa omwana nti Katonda atukangavula kubanga atwagala era nti nga abazadde, tukola ekintu kyekimu eri abaana baffe.
Ddala ebibonerezo ebirala nga “okusindika omwana okubeera yeka okumala akaseera” nabyo bisobola okukozesebwa mu kifo ky’okukuba omwana kiboko? Abazadde abamu basanga nga abaana babwe tebawulira kiboko. Abazadde abamu bazuula nti “okusindika omwana okubeera yeka okumala akaseera” oba okubaleka mu bisenge byabwe awatali kutambula oba kukozesa bintu byonna bibasanusa, ona okubajako ekintu ekimu okuba enkola ebakolera era ereteera abaana okwefuga n’okukyuuka. Bye kiba bwekityo, omuzadde alina okukozesa enkola yonna esobola okuleetera omwana okukyuka mu mpisa. Newankubadde nga Bayibuli ewagira okukangavula omwana ng’okozesa kiboko oba omuggo, Bayibuli etunuulira ekigendererwa nga kyakukuza mwana mbala yabwa Katonda okusinga enkola okozesebwa okutuuka ku kigendererwa ekyo.
Okifuula ensonga eno okuba enzibu okusingawo kwekuba nti zi gavumenti zitandise okutunuulira engeri zonna ez’okugunjula omwana ng’okozesa omuggo okuba ezibonyabonya era ezityobola edembe ly’omwana. Abazadde bangi tabakuba baana babwe kiboko ku kabina olw’okutya okubawabira eri gavumenti olwo abaana babwe batwalibwe gavumenti. Abazadde balina kukola kki singa Gavumenti efula okukuba omwana okuba omusango? Okusinziira ku Abaruumi 13:1-7,abazadde balina okugondera gavumenti. Gavumenti terina kwekontana na Kigambo kya Katonda kubanga okukangavula abaana mu ngeri y’okuba kiboko ekkirizibwa bayibuli era egendererwa okukuza abaana obulungi. Wabula, okukumira abaana mu famire mwebasobola okufuna okugunjulwa mu ngeri emu oba endala kisinga okubafirwa singa gavumenti esalawo okubatwala okubakuza.
Mu Abaefeeso 6:4, ba taata, bagambibwa obutasunguwaza baana babwe. Wabula, balina okubakuza mu ngeri ez’obwakatonda. Okukuza omwana mu “kutendekebwa era n’ebiragiro bya Mukama” mulimu okubakugira, okubatereeza, era n’okubagunjula n’omuggo.
English
Abakristaayo balina kugunjula baana babwe? Bayibuli eyogera kki?