Ekibuuzo
Endowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi y’ekki?
Okuddamu
Endowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi egamba nti ebireeta ebintu okubaawo byetagiisa okunyonyola ebintu ebizibu okutegeera mu nsoma butonde era nti ebintu bino ebireeta ebintu okubaawo bisobola okulabibwa n’ebitegerebwa. Ebintu ebimu eby’endaga butonde biwakanya endowooza ya Darwin (soma Dawini) ey’ebintu okuba nti byatukaawo mu ngeri ya butanwa, kubanga ebintu bino birabika nga byakolebwa. Olw’okuba nti ekintu okukolebwa kitegeeza nti waliwo eyakikola, engeri ekintu ekikoleddwa bwekifaanana kilabibwa nga obujulizi nti waliwo eyakikola. Waliwo ensonga sattu ezikubagganyizibwako ebirowoozo ku Ndowooza Ey’okukolebwa kw’ebintu ey’obwakalimagezi:
Endowooza esooka egamba nti, “….enkola y’ekintu ekimu (gamba sisitiim) erina obutundu obulala bungi obwagattibwa obulungi enyo awamu bwonna nga buli kamu kalina kyekagatta ku ngeri ekitundu ekyo gyekikola nga singa akatundu akamu kagibwaako kiretera ekitundu ekyo okulemererwa okukola”. Okukiteeka mu ngeri enyangu, Obulamu bulina ebitundu bingi era nga buli kitundu kyesigamye ku kinaakyo okusobola okuba n’omugaso. Okumala ga kyusamu obutonde kuyinza okunyonyola okukolebwa kw’ekitundu ekipya naye tekisobala kunyonyola kutondebwa okuberawo mukutonda ebuntundu obw’enjawulo mu kaseera keekamu busobozese enkola (sisitiimu) y’ekitundu ekimu okukola omugaso gwaakyo obulungi. Katugeze, eriiso ly’omuntu kkulu nnyo. Awatali munye, omusuwa gw’eriiso oba n’okukyusamuko katono obutonde bwaalyo oba nga teliwera bulungi nga bwe lyandibadde, awo liba terina mulimu era liremesa n’okubaawo kw’ekiramu kyonna era liba rijja kujibwawo ddala munkola ya Darwin (Soma Dawini) eya natural selection (soma nacho selekshoni) etegeeza nti ekitundu kyilina okugibwawo singa okukyusibwamu kwona okukoledwa ku kintu ekyo sikwamugaso wadde nakamu. Eriiso teriba kitundu kyamugaso ku mubiri gw’ekintu kyonna okujako nga lirina buli katundu konna akarisobozesa okukola obulungi era nga buli katundu ku ddyo kakola bulungi mu kaseera kekamu.
Endowooza ey’okubiri egamba nti waliwo entobeka etategerekeka esangibwa mu biramu erina nga walina okubaawo okuluŋŋamizibwa okwenjawulo okulaga gyebyava. Endowooza eno egamba nti entobeka eno tesobola kumala gatuukawo mu ngeri yabutanwa. Katugeze, mukisenge (jiyite ruumu) ekijudde enkima 100 nga zilina kompyuta (ebyuma kalimagezi) 100 zisobola kwesanga nga ziwandiise yo ko ebigambo oba n’okuba olukala ku kompyuta ezo wabula tezisobola kuwandiika muzanyo ogwa ogwandiikibwa shakespear (Soma Seekisipiya). Awo newebuuza nti, obulamu tebusingawo kazanyo ka Seekisipiya mu kuba obuzibu okutegerekeka?
Endowooza ey’okusatu egemba nti ensi n’obwengula byakolebwa bulungi okukkirizisa obulamu (abantu, ebisolo, eby’omumazzi n’ebimera) okusobola akubawo ku nsi (Anthropic Principle). Singa ekigera ky’ebirungo ebiri mu mpewo y’ensi eno kikyusiibwamu katono, ebilamu bingi biba bigenda kusaanawo. Singa ensi eri wala oba kumpi mile ntono nnyo n’omusana okusinga bweri, ebiramu bingi biba bisaanawo. Okubaawo n’okukulakulana kw’obulamu ku nsi byetaaga ebintu bingi okuba nga bigereddwa bulungi mu miwendo emituufu ekiteegeza nti tekisoboka bintu byonna kubaawo lwa butanwa, oba olw’embeera ezitalina azifuuga.
Newankubadde ng‘endowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi teraga wa amagezi agakola ebintu byonna jegava (oba gaava eri Katonda oba zi aliyeni oba ekintu ekirala kyonna), abasinga abalina endowooza eyo bakkiriza Katonda. Balaba enkola n’endabika y’ebintu ebyatondebwa okuba obujulizi bw’okubaawo kwa Katonda. Wabula waliwo abamu abatasobola kugaana bujjulizi bulaga kubaawo kwa Katonda obuli mu ngeri ebintu gyebayakolebwa, wabula nga tabagala kukkiriza Katonda okuba Omutonzi. Bavuunula ebiva mu kunoonyereza okuba obujulizi nti ensi yava mu ba aliyeni oba ebintu ebitabeera ku nsi. Amazima gali nti tebasobola kulaga ba eliyeni gyebaava, era ekyo kibakomyawo ku kubaganya ebirowoozo kubanga baba tebalina kyakuddamu kinywevu.
Endowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi ssi kw’ekutondebwa kw’ebitonde okusinziira ku Bayibuli. Waliwo enjawulo nnene ku ndowooza zino zombi. Abakkiriza mu kutondebwa kw’ebintu okusinziira ku Bayibuli batandika n’okumaliriza nti Bayibuli byeyogera ku kutondebwa byesigika era bituufu, nti obulamu ku Nsi bwakolebwa era bwateekebwateekebwa Katonda. Awo abakkiriza olwo kino kibaletera okunoonya obukakafu okuva mu butonde okunyweza ekirowoozo kino. Abakkiriza mu ndowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi batandika n’obutonde nebamaliriza nti obulamu ku nsi bwakolebwa omuntu alina oba ekintu ekilina kalimagezi.
English
Endowooza y’okukolebwa okw’obwakalimagezi y’ekki?