settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kiki ekyatuuka ku bantu abakkiriza Katonda nga Yesu tanajja?. Abantu balokoka batya nga Yesu tanafa?

Okuddamu


Okuva ku kugwa kw’omuntu, engeri yokka oy’okulokolebwa eri mu kufa kwa Kristu. Tewali muntu yenna newankubadde eyaliwo nga Yesu tanakomererwa yalokolebwa okugyako okuyita mu kufa kwa Kristu. Okufa kwa kwasasula omutango gw’ebibi byaffe ebyedda ebyakolebwa mu ndagaano enkadde n’ebyakolebwa abakkiriza mu ndagaano empya.

Ekikyuseemu y’engeri y’okukkkiriza. Katonda kyeyeetaaga ekyilina okukkilizibwa kiva ku kigera ky’okubikkulibwa omuntu kwafunye. Kino kiyitibwa okukkiriza okufunibwa mu mitenderera. Adamu yakkiriza ekisuubizo Katonda kyeyawa mu luberyeberye 3:15 nti ezadde ly’omukazi liliwangula Sitani. Adamu yamukkiriza, okusinziira ku linnya lyeyawa Kaawa (3:20) era Katonda nalaga okukkiriza kwe ku nsonga eyo bweyabikako n’amaliba g’ensolo (3:21). Mu kaseera kano, Adamu ekyo kyoka kyeyali amanyi era kyeyakkiriza.

Ibulayimu yakkiriza Katonda okusinziira ku bisuubizo n’okubikkulirwa Katonda kweyamuwa mu Oluberyeberye 12 ne 15. Nga Musa tanaba, tewali byawandiikibwa byaliwo, wabula omuntu yalina obuvunanyizibwa eri ekyo Katonda kyeyali abikudde oba ayogedde. Okuyita mu ndagaano enkadde, abakkiriza bonna baggya eri obulokozi kubanga bakkiriza nti Katonda agya kubaggyako ekizibu ky’ebibi byabwe. Leero, tutunula emabega, nga tukkiriza nti Yesu yatugyako ekizibu ky’ebibi byaffe ku musalaba.(Yokaana 3:16, Abaebbulaniya 9:28).

Ate abakkiriza mu Kristu mu nakku za Yesu nga tanakomererwa era nga tanazuukira? Bakkiriza kki? Basoobola okutegeera mu bujuvu ekifanaanyi kya Yesu okufa ku Musalaba olw’ebibi byabwe? Mu biseera ebisembayo eby’obuwereeza bwa Yesu, “Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono.” (Matayo 16:21-22). Abayigirizibwa be bakola kki bwebaawulira obubaka buno? “. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono.” Petero ne banne bali tebamanyi mazima gonna , wabula balokolebwa kubanga kubanga bakkiriza nti Yesu ntI katonda agenda kukola ku nsonga y’ekizibu kyebibi byabwe. Tebamanya ngeri gyagenda kukikolamu kusinga Adamu, Ibulayimu, Musa,oba Dawudi, wabula bakkiriza.

Olwaleero, tulina okubikkulilwa kungi okusinga abantu abaliwo nga Yesu tanazuukira. Tumanyi ekifanaanyi kyonna. “Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi, mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;”(Abaebbulaniya 1:1-2). Okulokolebwa kwaffe kukyasimbiddwa ku kufa kwa Kristu, okukkiriza kwaffe kyekyetaagisibwa okuweebwa obulokozi, era Katonda gwetulina okuteekamu okukkiriza kwaffe. Lero kyetulina okukkiriza kiri nti Yesu yafa olw’ebibi byaffe, yaziikibwa, era ku lunaku Olw’okusatu nazuukira okuva my bafu (1 Abakkolinso 15:3-4).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kiki ekyatuuka ku bantu abakkiriza Katonda nga Yesu tanajja?. Abantu balokoka batya nga Yesu tanafa?
© Copyright Got Questions Ministries