Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kutondebwa n’okweyubula kw’ebiramu?
Okuddamu
Ekigendeerwa ky’okuddamu kuno ssi kulaga biki sayansi byeraga ku kutondebwa ngakwolekanye n’okweyubula kw’ebiramu. Ekigendererwa ky’emboozi eno kwekunyonyola lwaki, okusinziira ku Bayibuli, waliwo okuwakanya oba okubaganya ebirowoozo ku kutondebwa ngakwolekanye n’okweyubula kw’ebiramu. Abaruumi 1:25 egamba. “kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.”
Ensonga enkulu mu kuwakanya kw’okutondebwa vs okweyubula kwebiramueri nti banasayansi abakkiriza mu kweyubula kwebiramu tebakkiriza oba bawakanyi ku nsonga z’obwakatonda. Waliwo abamu abalina akakwate ku kweyubula kwebiramu okulina okakwate ku Katonda. Abalala balowooza Katonda gyali wabula talina wabula talina ngeri yonna gyeyetaba mu nsonga z’ensi era buli kintu kitambula awatali kutataganyizibwa, nga bwebyatondebwa okuba. Bangi batunuulira ebyali bizuuliddwa nebamaliriza nti okweyubula kw’ebiramu kwekusobola okunyonyola ebyali bizuuliddwa okusinga okutondebwa. Wabula, ensonga esinga okwogerwako mu kuwakana kwonna eri nti okweyubula tekukwatagana na Bayibuli n’okukkiriza mu Katonda.
Kikulu okutegeera nti banasayansi abamu bakkiriza mu kweyubula kwebiramu era ne mu Katonda era ne mu Bayibuli nga tebasanze kwekontana kwonna mu byo. Wabula banasayansi abasinga abakkiriza mu kweyubula bakkiriza nti obulamu bweyubula awatali kwenyigiramu kwa muntu yenna aw’amanyi. Ebyogerwa ku kweyubula kw’ebiramu okw’ennaku zino ebitekebwa ebikirizibwa ebisinga bujude sayansi yekka.
Waliwo ebintu eby’omwoyo ebivuga ensonga zino zonna. Eri abo abatakkiriza mu Katonda, walina okubaawo okunyonyola okulala okutalimu Mutonzi okulaga engeri endala ensi n’obulamu gyebwajja okubaawo. Newankubadde okukkiriza mu kweyubula kw’ebiramu kwava mabega nga Charles Darwin (Soma Kalooli Dawini) tanabaawo, yeyasooka okulaga endowooza, eraga okweyubula wekwava era alaga nti kwava mu mbera z’ebiramu ez’obutonde. Dawini olumu yeyitanga Omukristaayo, wabula olw’ebizibu ebyatuukawo mu bulamu bwe, yegaana Obukristaayo era neyegaana okubaawo kwa Katonda.
Ekigendererwa kya Dawini tekyali kulaga nto Katonda taliiyo era teyalaba ndowooza ye nti eraga Katonda okuba nti taliyo. Wabula, eby’embi, y’engeri ebirowoozo bye gyebitwalibwamu abo abagala okulaga nti Katonda taliyo oba abatakkiriza mu Katonda. Ensonga emu lwaki Abakkiriza leero bagaana ekirowoozo ky’okweyubula kw’ebiramu ekyenaku zino eri nti kija kisibidwako endowooza ezigaana okubaawo kwa Katonda. Banasayansi abakkiriza mu kweyubula kw’ebitonde nabo tebasobola kukkiriza nti ekigendererwa kyabwe kwekuwa enyinyonyole endala eraga obuvo bw’obulamu okusobola okusima omusingi ogulaga nti Katonda taliiyo. Kyokka, okusinziira ku Bayiuli, eyo y’ensonga lwaki endowooza y’okweyubula kwebiramu egobererwa mu ngeri gyetujiraba egobererwa leero.
Bayibuli etugamba, “Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda.”(Zabbuli 14:1; 53:1). Bayibuli era egamba nti abantu tebalina kwekwasa kwonna obutakkiriza mu Katonda. “Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.”(Abaruumi 1:20). Okusinziira ku Bayibuli, omuntu yenna agaana okubeerawo kwa Katonda musiru. Obusiru tebutegeeza nti butegeeza nti omuntu oyo talowooza. Olw’okusoma kwabwe, banasayansi abakkriza mu Kweyubula kw’ensi bagezi era balowooza. Obusiri bulaga okulemererwa okuteeka mu nkola okumanya. Engero 1:7 egamba “Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.”
Abattakkiriza mu kubeerawo kwa Katonda era nga bawagira okuweyubula kw’ebiramu ebiseera ebisinga banyooma okutonda kw’ensi era n’engeri ey’obukugu obutasobola muntu yenna Katonda bweyakozesa okutonda ensi okuba nti tebusaana kukolebwako kunonyereza kwa sayansi kubanga tekugwa mu lubu lwa sayansi. Ekintu kyona okutwalibwa okuba ekyasayansi, bagamba kirina okuba nga kiri nakyo (Natural) oba nga kisoboka okukwatiibwako okulabibwako n’okusomebwako. Okutonda kw’ensi kuli wabweru w’amateeka g’ensi eri nakyo. Olw’okuba nti Katonda tasobola kukeberebwa, n’olw’ekyo, okwoza kwabanasayanzi kuli nti, okutondebwa kwensi tekusobola kutwalibwa mu kiti kya sayansi oba tekusobola okutwalibwa nga sayansi.
Okweyubula kw’ebiramu tekusobola kulabibwa oba kukeberebwa era ky’ekimu n’amagezi agali mu ngeri ebintu gyebyatondebwa wabula ekyo tekirabika ng’ensonga eri abakkiriza mu kweyubula wabula nga tebakkiriza mu Katonda. Olw’ensonga, buli kizuulwa oba kyali kizuuliddwa kisengejezebwa okuyita mu ndowooza eyasengekebwa era nekirizibwa edda, ey’ebintu okuba nti byetandikawo era n’ebyebezaawo nga bakola kino nga tebakkiriza nyonyonyola ndala yonna ku nsonga eyo.
Obuvo bw’ensi wamu n’obuvo bw’obulamu tebisobola kukeberebwa oba kulabibwa. Byombi okutondebwa kw’ensi n’okweyubula kw’ebiramu byetaaga okukiriza okwenjawulo okusobola okukkirizibwa. Tetusobola kuddayo mu budde ensi weyatandikira kulaba ntandikwa yaayo oba obuvo bw’obulamu mu nsi. Abo abagaana okutondebwa kw’ensi bakikola nga basinziira ku nsonga zezimu ezilina okubakaka okugaana endowooza y’okweyubula kw’ebiramu.
Okutondebwa kw’ensi bwekuba nga kutuufu, kitegeeza nti waliwo Omutonzi atulinako obwananyini. Okweyubula kwebiramu kuwa abatakkiriza Katonda omsingi okunyonyola engeri obulamu gyebwatandika awatali Katonda. Olw’ensonga eyo, endowooza empya ez’okweyubula kw’ebiramu zikola mu kifo “ky’olugero lw’okutondebwa kw’ensi” okunyonyola kw’obuvo bwensi eri abo abatakkiriza mu Katonda era abagaana okubeerawo kwa Katonda.
Bayibuli eyogera bulungi: Katonda ye Mutonzi. Enzivuunul endala yonna eya sayansi egezaako okujawo Katonda okwenyigira mu ntandikwa tekwatagana na byawandiikibwa.
English
Bayibuli eyogera kki ku kutondebwa n’okweyubula kw’ebiramu?