Ekibuuzo
Kitegeeza ki okubeera omulokole?
Okuddamu
Enyiriri mu Bayibuli eziddamu ekibuuzo ekyo ziri mu Yokaana 3:1-21. Mukama waffe Yesu yali ayogera n'omufalisaayo Nikoodemo eyali amanyikiddwa era nga memba w'ekitongole ekifuzi eky'abayudaaya.
Nga Yesu ayogera ne Nikoodemo, Yagamba, "...ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa? Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri."
Ekigambo "Okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri" kitegeeza "okuzaalibwa okuva wagulu" Nikoodemo yalina ekyetaago ekyaddala. Yali yetaaga okukyusibwa omutima – okukyusibwa okw'omwoyo. Okuzaalibwa okugya, nga kwe kuzaalibwa omulundi ogwokubiri, era kikolwa kya Katonda. Obulamu obuttaggwaawo butekebwa kwoyo akkiriza (2Abakolinso 5:17: Tito 3:5; 1Petero 1:3; 1Yokaana 2:29;3:9; 4:7; 5:1-4, 18).Yokaana 1:12,13 etulaga nti, okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri era kirimu ensonga "ey'okufuuka abaana ba Katonda." okuyita mu kuteeka obwesige mu linnya lya Yesu Kristu.
Ekibuuzo awo nekibuziibwa nti , "Lwaki omuntu alina okuzalibwa omulundi ogw'okubiri?" Omutume Paulo mu Kitabo ky'Abaefeeso 2:1 agamba, "Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,". Eri Abaruumi yawandiika, "kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;" Abaruumi 3:23. Aboononyi baba "bafu" mu mwoyo. Bwebafuna obulamu okuyita mu kukkiriza Kristu, Bayibuli ekifaananya ng'okuzaalibwa obugya. Abo bokka abazaaliddwa omulundi ogw'okubiri be basonyiyiddwa ebibi byabwe era bebalina enkolagana ne Katonda.
Ekyo kijja kitya? Abaefeeso 2:8-9 egamba, "kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga". Omuntu bwalokolebwa, aba azaaliddwa omulundi ogw'okubiri, aba azziddwa bugya mu mwoyo, era ng'afuuse mwana wa Katonda okuyita mu kuzaalibwa okugya kwafunye. Okukkiriza Yesu , oyo eyasasula omutango gw'ebibi bweyafa ku musalaba, yengeri yokka omuntu gyayitamu okulokoka. "kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga." (2Abakolinso 5;17).
Bwobanga totekanga bwesige bwo mu Yesu ng'omulokozi wo, onokkiriza okwenya kw'omwoyo ng'ayogera eri omutima gwo. Wetaaga okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. Onokkiriza okusaba esaala ey'okwenenya osobole okufuuka ekitonde ekigya mu Kristu olwaleero? "Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda." (Yokaana 1:12-13).
Bwoba oyagala kukkiriza Yesu Kristo ng'Omulokozi wo, Yiino esaala eyokulabirako. Jjukira , okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Krsitu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyonoonye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa – ekirabo eky'obulamu obuttaggwaawo. Amiina.
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Kitegeeza ki okubeera omulokole? Nyinza ntya okubeera omulokole?