settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku kubeera omuzadee omulungi?

Okuddamu


Okukuza abana kusobola okuba ekintu ekizibu era okisomooza, wabula mu kiseera kyekimu, kilina empeera era ky’ekimu ku bintu byetukola ebitusanyusa. Bayibuli erina ebintu bingi byeyogera ku ngeri gyetusobola okukuzaamu abaana baffe okubeera abasajja n’abakazi ba Katonda. Okisookera ddala kyetulina okukola kwekubasomesa Ekigambo kya Katonda.

Ng’ogaseeko okwagala Katonda, n’okubeera eky’okulabirako ekirungi nga tugondera ebiragiro bye, tulina okugondera eteeka eriri mu Ekyamateeka 6:7-9 ekikwata ku kusomesa abaana baffe okukola ebintu byebimu. Ekyawandiikibwa kikkatiiriza nti tulina kukikola buli lunaku. Kirina kukolebwa kukolebwa buli kaseera—ewaka, mu kubo, ekiro, ku makya. Amazima ga Bayibuli galina okuba omusingi gw’enyumba zaffe. Nga tugoberera ebiragiro, tuba tusomesa abaana nti okusinza Katonda tekulina kukoma, tekulina kukoma ku Sande kumakya oba mu kusaba ekiro.

Newankubadde abaana abaffe bayiga ebintu bingi okuyita mu kusomesebwa obusomesebwa, basoma nnyo nga batulaba tukola, Yeeno ensonga lwaki tulina okuba abegendereza mu buli kimu kyetukola. Tulina okuteeka mu nkola obuvunayizibwa obwatuwebwa Katonda okusookera ddala. Abaami n’Abakyala balina okwesaamu ekitiibwa era balina okwekakanira (Abaefeeso 5:21). Mu ngeri yemu, Katonda ataddewo engeri obuyinza gyebuyina okutambulamu okusobola okujawo akavuyo. “Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”(1 Abakkolinso 11:3). Tumanyi nti Kristu tali wansi wa Kristu, nga Omukyala bwatali wansi w’omusajja. Wabula Katonda akkiriza nti, ewatali kukakanira eri buyinza, waberawo akavuyo. Obuvunanyizibwa bw’omusajja ng’omutwe gw’enjuye kwekagala mukyala we nga bweyagala omubiri gwe, mu ngeri y’okwesadaaka Kristu kweyayagala Ekanisa (Abaefesso 5:25-29).

Mu ngeri y’okudamu eri obukulembeze buno, tekiba kizibu mukyala kukakanira oba kuwulira oba kugondera buyinza bwa mwami we (Abaefeeso 5:24; Abakkolosaayi 3:18). Omulimu gwe ng’omukyala kwe kwagala n’okusaamu ekitiibwa omwami we, okutambulira mu magezi era mu butuukirivu, n’okulabirira amaka (Tito 2:4-5). Abakyala mu butonde bwabwe bakuza okusinga abasajja era bateekebwateekebwa okulabirira abaana babwe.

Okugunjula n’okuwa ebiragiro bintu bikulu mu kukuza abaana. Engero 13:24 egamba, “Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.” Abaana bakulira mu maka webatafuna kugunjulwa abawulira nga tebagalwa era tebalina mugaso. Babeera babambaavu era baba tebasobola kwekuuma era gyebakoma okukula, bafuka bakiwagi era baba tebateeka kitiibwa mu bukulembeze bwonna, nga kwogase n’obwa Katonda. “Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.” Mu kiseera ky’ekimu, okukangavvula kulina okukolebwa mu kwagala oba abaana basobola okukula nga tebawa bantu kitiibwa, bakiwagi oba nga ssi bavumu.(Abakkolosaayi 3:21). Katonda akkiriza nti okugunjula omwana kulimu obulumi nga kutuukawo (Abaebbulaniya 12:11), wabula singa kugobererwa ebiragiro ebirimu okwagala, kuba kwamugaso eri omwana. “Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeeso 6:4).

Kikulu okuyamba abaana okwenyigira mu kuweereza era okuba ekitundu ku kanisa nga bakyali bato. Okugenda mu kanisa asomesa Bayibuli (Abaebbulaniya 10:25), bakkirize okukulaba nga osoma ekigambo kya Katonda era kisome wamu nabo. Yogera nabo ku nsonga oba ebintu ebibeetolodde mu ngeri gyebabirabamu, era obasomese ku kitiibwa kya Katonda buli lunaku obulamu bwabwe bwonna. “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” (Engero 22:6). Okuba omuzadde omulungi kwekukuza abaana abagenda okugoberera obulamu bwo ng’ekyokulabirako mu kugonda n’okusinza Mukama.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku kubeera omuzadee omulungi?
© Copyright Got Questions Ministries