settings icon
share icon
Ekibuuzo

Omwoyo omutukuvu yaani?

Okuddamu


Waliwo ebirowoozo ebitali bituufu abantu byebalina ku mwoyo omutukuvu. Abamu bamanyi omwoyo mutukuvu nga amanyi agatategerekeka. Abala bategeera omwoyo mutukuvu nga amanyi ga Katonda agatali ga buntu Katonda gaawa abagoberezi ba Kristu. Bayibuli eyogera kki ku nfanana y'omwoyo omutukuvu? Mu byangu, Bayibuli etugamba nti omwoyo mutukuvu Katonda. Bayibuli era etugamba nti Omwoyo mutukuvu muntu ayina endowooza, ekisaasaazi (emotions), n'okwagala(Will).

Omwoyo omtukuvu okuba Katonda kilagibwa bulungi mu byawandiikibwa bingi okuli Ebikolwa 5:3-4. Mulunyiriri luno Petero anenya Ananiya lwaki yalimbye omwoyo mutukirivu namugamba nti."teyalimbye bantu wabula Katonda." Kilagibwa bulungi nti okulimba omwoyo mutukirivu oba olimbye Katonda. Tusobola okumanya omwoyo omutukuvu okuba Katonda kubanga alina embala ya Katonda Okugeza. Tumulaba mu Zabbuli 139:7-8 nga ali buli wamu. "Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go? Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli." Era mu 1 Bakolinso 2:10-11, tulaba embala eyokumanya byona mu Mwoyo mutukirivu."Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku by'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo"

Tusobola okumanyira ddala nti omwoyo mutukuvu ali omu ku Busatu obwa Katonda kubanga alina endowooza, okwagala, ne ekisaasaazi(emotions). Omwoyo mutukuvu alowooza era amanyi (1 Abakolinso 2:10). Omwoyo mutukuvu anakuwazibwa(Abaefeeso 4:30). Omwoyo Mutukuvu yegayilira ku lwaffe(Abaruumi 8:26-27). Asalawo okusinzila ku kwagala kwe(1 Abakolinso 12: 7-11). Omwoyo mutukuvu Katonda, ow’okusatu mu busatu. Era nga Katonda, Omwoyo mutukuvu asobola okukola ng'omubeezi, era omuwabuzi Yesu gwe yasuubiza okuba (Yokaana 14:16, 26, 15:26).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Omwoyo omutukuvu yaani?
© Copyright Got Questions Ministries