Ekibuuzo
Ddala Yesu lye Kkubo lyokka elitwala mu Ggulu?
Okuddamu
Ye, Yesu ly'ekkubo lyokka elitwala mu Ggulu. Ebigambo ebyo nga tebigattiddwako bigambo birala byona, bisobola okubuzaabuza, okwewunyisa, oba okunyiza abantu, naye bituufu nga byo. Bayibuli esomesa nti , tewali kkubo ddala ely'ebulokozi okujako okuyita mu Yesu Kristu. Yesu mwenyini asomesa mu Yokaaana 14:6 nti "....Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze." Yesu si kkubo, erimu mu manji, Ye kkubo. Ekkubo limu ate lyoka. Tewali muntu newankubadde ng'alina ebitiibwa ebyenkana wa, nga akoze ebintu ebikulu ebyenkana wa, nga alina amagezi agenjawulo, oba ng'atukkiridde mumaso g'abantu, asobola okutuuka eri Katonda, okujako ng'ayise mu Yesu.
Yesu ly'ekkubo lyoka elitwala mu Ggulu olw'ensonga eziwera ko.
Yesu "yalondebwa Katonda" okubeera omulokozi (1Petero 2:4).
Yesu Yeyeka eyakka okuva mu Ggulu naddayo(Yokaana 3:13).
Ye Muntu yeka eyatambulira mu bulamu obutukiridde.( Bebbulaniya 4:15).
Ye Ssadaaka yokka ey'ekibi kyaffe( 1 Yokaana 2:2) Bebbulaniya 10:26).
Ye yeka eyatuukiriza amateeka ne ba Nabbi (Matayo 5:17)
Ye muntu yekka eyawangula ekufa emirembe gyonna(Bebbulaniya 2:14-15).
Ye yekka , yemuwolereza wakati wa Katonda n'omuntu.(1 Timoseewo 2:5).
Ye muntu Yeka eyaweebwa ekitiibwa ekisinga ebitiibwa byonna(Bafiripi 2:9).
Yesu yeyogerako nti Ye kkubo lyokka elitwala mu Ggulu ewalala wangi ngogyeko Yokaana 14:6.
Yeyogerako mu Matayo nti Ye gwe tulina okukkiriza.
Yagamba mu Yokaana 6:63 nti ebigambo bye bwe bulamu.
Yasuubiza obulamu obuttaggwaawo eri abo abamukkiriza(Yokaana 3:14-15).
Ye mulyango gw'endigga(Yokaana 10:7);
Omugaati gw'obulamu( Yokaana 6:35);
Ye kwe kuzuukira.(Yokaana 11:25).
Tewali muntu mulala asobola okweyita ebitiibwa ebyo.
Okubuulira kw'abatume, kwesigamanga ku kufa n'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. Petero ngayogera eri ekibiina ky'abakulu, abakadde, n'abawandiisi, Yayogera kaati nti Yesu lye kkubo lyokka elitwala mu Ggulu." So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.( Ebikolwa 4:12). Pawulo ng'ayogera mu Antiyokiya mu kkanisa, yayogera ku Yesu ng'Omulokozi. "Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa; byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako."(Ebikolwa 13:38-39). Yokaana, ng'awandiikira ekanisa yonna, akaattiriza erinya lya Yesu okuba nga lyelituletera okusonyibwa. "Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye". (1 Yokaana 2:12). Teri muntu yenna asonyiwa bibi okujjako Yesu.
Obulamu obutaggwaawo mu Ggulu busoboka okuyita mu Kristu yekka. Yesu yasaba, "Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo." (Yokaana 17:3). Okufuna ekirabo kya Katonda kyagabira obwerere - ekirabo eky'obulokozi, tulina kutunulira Kristu Yekka. Tulina okukkiriza okufa kwa Yesu ku musalaba ng'omutango ogwasasulwa olw'ebibi byaffe, no kuzuukira kwe. "bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo;"(Abaruumi 3:22).
Olumu, mu buwereza bwa Yesu, abantu banji bamuviira nebagenda nga basuubira okufuna omulokozi omulala. Yesu nabuuza ekumi nabariri nti "era namwe mwagala okugenda?" (Yokaana 6:67). Petero addamu bulungi," ...Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda."(Yokaana 6:68-69). Ffena tugabane ku kukkiriza kwa Petero nti obulamu obuttaggwaawo buli mu Yesu Kristu yekka.
Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.
English
Ddala Yesu lye Kkubo lyokka elitwala mu Ggulu?