settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nayawukana n’eyali omwagalwa wange. Nsobola okuddamu okufuumbirwa oba okuwasa okusinziira ku Bayibuli?

Okuddamu


Nayawukana n’eyali omwagalwa wange. Nsobola okuddamu okufuumbirwa oba okuwasa okusinziira ku Bayibuli?

Okuddamu:

Tufuna ebibuuzo ebifanagana nga “Nayawukana n’eyali omwagalwa wange elw’esonga eno oba endala. Nsobola okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.” “Nakayawukana mu bufumbo emirundi ebiri—omulundi ogwasooka, eyali omwagalwa wange yayenda, omulundi ogw’okubiri, twali tetukwatagana. Ndeetinga omusajja ayawukana mu bufumbo emirundi esatu—omulundi ogwasooka teyakwatagana n’eyali mukyala we, ogw’okubiri, yayenda, ogw’okusatu, omukyala yeyayenda.” Tusobola okufumbiriganwa? Ebibuuzo nga bino wagulu bizibu okuddamu kubanga Bayibuli tegenda mu biwanvu ku nsonga ezenjawulo ezituukawo ezikwata ku kuddamu okuwasa oba okufumbirwa olumanyuma lw’okwawukana.

Kyetumanyi kiri okwagala kwa Katonda eri abafumbo kwekusigaa nga bafumbo kasita baba nga bonna bakyali balamu.(Oluberyeberye 2:24; Matayo 19:6). Okujako nga omu ku bafumbo ayenze tebawukana, tewali nsonga ndala yonna ekkirizibwa okuletera omuntu okuddamu kuwasa oba okufumbirwa. (Matayo 19:9), kyoka nekino kikyakubirwako ebirowoozo abakrisitaayo. Ensonga endala kwekulekebwaawo—omu ku bafumbo attakkiriza oba atali mulokole bwalekawo omulokole oba oyo akkiriza (1 Abakkolinso 7:12-15). Ekyawandiikibwa kino, wabula, tekiyogera ku kudamu kuwasa oba kufumbirwa, wabula okusigala mu bufumbo. Ebintu nga okutuusibwako obulabe byandibadde bimala okuletera omuntu okwawukana ne munne, wabula Bayibuli teyogera ku bibi bino nga ensonga ezilina okwawula abafumbo oba okuletera omuntu okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.

Wabula tumanyi ebintu bibiri okuba ebituufu. Katonda akyaawa okwawukana (Malaki 2:16), era Katonda wakisa era asonyiwa. Buli kwawukana kwonna okwali kutuseewo kwava ku kibi, ku ludda olumu oba eri abafumbo bombi. Ddala Katonda asonyiwa abantu abawukanye mu bufumbo? Mazima! Okwawukana kusonyiyibwa ng’ebibi ebirala byonna. Okusonyiyibwa kw’ebibi byonna wekuli mu Kristu okuyita mu kukkiriza Yesu Kristu. (Matayo 26:28; Abaefeeso 1:7). Ddala Katonda bwaba asonyiwa ekibi ky’okwawukana mu bufumbo, ddala ekyo kikuwa ebbeetu okudamu okuwasa oba okufumbirwa omuntu omulala? Nedda! Katonda ebiseera ebimu ayita abantu okusigala nga bali bokka (1 Abakkolinso 7:7-8). Okusigala nga oli wekka tekulina kulabibwa ng’ekikolimo oba ekibonerezo, wabula ng’omukisa okuwereza Katonda n’omutima gwo gwonna (1 Abakkolinso 7:32-36), Ekigambo kya Katonda wabula kirungi okuwasa oba okufumbirwa okusinga okwaka (1 Abakkolinso 7:9). Osanga kino kitegeza kuddamu kuwasa oba kufumbirwa ng’omaze okwawukana mu bufumbo.

N’olwekyo, ddala osobola okuddamu okuwasa oba okufumbirwa? Tetusobola kuddamu kibuuzo ekyo. Wabula eky’enkomerero, ekyo kiri wakati wo n’omwagalwa wo wabula okusingira ddala ne Katonda. Kyetusobola okukuwabula kwekusaba Katonda akuwe amagezi osobole okutegeera ekyo kyayagala okole (Yakobo 1:5). Saba n’omutima ogguggudwaawo era mu bwesimbu namazima Katonda ateeke okwagala kwe mu gwo (Zabuli 37:4). Saba okwagala kwa Katonda (Engero 3:5-6) era ogoberere okukulemberwa kwe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nayawukana n’eyali omwagalwa wange. Nsobola okuddamu okufuumbirwa oba okuwasa okusinziira ku Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries