Ekibuuzo
Ddala Abakristaayo balina okugumikiriza enzikiriza endala ez’abantu?
Okuddamu
Mu mulembe gwaffe “ogw’okumikiriza” obutaba na mpisa ngereke za mubantu kitwalibwa okuba ekintu ekikirizibwa era ekyagalibwa. “Buli ndowooza y’abantu, buli nsomesa nabuli nzikiriza yonna yenkanankana, era erina okuweebwa ekitibwa kyekimu” abakkiriza mu mpisa ezitali ngereke ez’omubantu bwebagamba. Abantu abatwaala enzikiriza emu okuba ng’esinga endala oba okua nga eri wagulu okusinga endala— era nga betwala okuba n’okumanya amazima atukkiridde batwalibwa okuba nga bawebuuka mu magezi, oba nga balina kyekubiira.
Amazima gali nti, amadiini agenjawulo galina ebintu binji ebifaanana, era omuntu akkiriza mu mpisa eziggatta abantu bonna asobola okulemererwa okumanya amadiini gano wegawukanira. Okugeza, Bayibuli egamba nti “ …'abantu…baterekerwa okufa omulundi ogumu” (Abaebbulaniya 9:27), wabula amadiini ag’ebugwanjuba manji gasomesa ku kulabisibwa okw’omulundi ogw’okubiri. Awo ekkibuuzo nekibuuzibwa nti, tuffa omulundi gumu oba emirundi mingi? Ensomesa zombi tezisobola kuba ntuufu. Abantu abakkiriza endowooza zonna okukolera awamu bakyusa amazima okusobola okuteekawo akakunizo akasobozesa endowooza ezawukana okukolera awamu.
Yesu yagamba, Nze kubo namazima n’obulamu. “Tewali ajja eri Kitange okujako nga ayise mu nze.”(Yokaana 14:6). Omukristaayo akkiriza Mazima, ssi ng’endowooza wabula ng’Omuntu. Okukkiriza amazima gano kyawula Obukristaayo ku nkola endala oba ebiwayi ebirala ebiriwo ebiteekawo amakubo amangi era ebireka omuntu okulondawo ekubo lyayagala. Omukristaayo aba akkiriza mu lujjudde nti Yesu yazuukira mu bafu (Abaruumi 10:9-10). Bwaba nga akkiriza mu kuzuukira, ate asobola atya okuba n’ebeetu okulondawo endowooza endala eyabatakkiriza nti Yesu yazuukira okuva mu bafu? Kubanga Omukristaayo okugaana ekigambo kya Katonda kuba kwegaana Katonda mwenyini.
Bwewetegereza obulungi, mu by’okulabirako byetuwadde, twogedde ku bintu ebikulu mu kukkiriza kwaffe. Ebintu nga (Okuzuukira kw’omubiri okwa Kristu) tebiteesebwako. Ebintu ebirala bisobola okukubaganyizibwako ebirowozo, ebintu nga; ani yawandiika ekitabo ky’Abaebbulaniya oba engeri eriggwa elyali mu mubiri gwa Pawulo kki kyeryali. Tulina okwewala okumala obudde mu nkayaana ez’ebintu ebitali bikulu (2 Timoseewo 2:23; Tito 3:9).
Ne bwaba nga awakana, oba nga ayogera ku nsomesa ezatiikiridde ensanji zino, Omukristaayo alina okwekomako era okuwa abantu ekitiibwa. Okuwakana n’omuntu kirala, n’okuyisaamu omuntu amaaso kiba kirala. Tulina okunyweza amazima era mungeri yemu nga tusaasira abo abagawakanya. Nga Yesu, tulina okujjula ekisa(grace) n’amazima (Yokaana 1:14). “naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe; nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya:”(1 Petero 3:15).
disparage a person. We must hold fast to the Truth while showing compassion to those who question it. Like Jesus, we must be full of both grace and truth (John 1:14). Peter strikes a good balance between having the answer and having humility: “Always be prepared to give an answer to everyone who asks you to give the reason for the hope that you have. But do this with gentleness and respect” (1 Peter 3:15).
English
Ddala Abakristaayo balina okugumikiriza enzikiriza endala ez’abantu?