Ekibuuzo
Abasumba/Ababuulizi abakazi? Kki Bayibuli kyeyogera ku Bakazi abali mu buwereza?
Okuddamu
Ndowooza tewali mulamwa gukubibwako birowoozo mu Kanisa nga ogw'abakazi okuwereza nga abasumba oba ababulizi. Olw'ensonga eyo, si kirungi kutunira nsonga mu ngeri y'olwookaano wakati w’abasajja n'abakazi. Waliwo abasajja abakkiriza nti abakazi tebalina kuwereza nga basumba kubanga Bayibuli yabatekako olukugiro, era waliwo abasajja abakkiriza nti abakazi basobola okuwereza nga abasumba era nti tewali kibalemesa kuwereza. Eno si nsonga ya kusajjalaata oba kubalemesa. Nsonga ekwatagana ku nzivunula ya Bayibuli.
Ekigambo kya Katonda kigamba, "Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu"(1 Timoseewo 2:11-12).Mu kanisa, Katonda agaba obuvunanyizibwa obwejawulo eri abasajja na bakazi. Eno nsonga eva ku ngeri omuntu gyeyatondebwa n'engeri ekibi gy'ekyayingira mu nsi (1 Timoseewo 2:13-14) Katonda okuyita mu Mutume Pawulo, agaana abakazi okuwereza mu bifo eby'okusomesa oba/era okuba n'obuyinza obw'omwoyo eri abasajja. Kino kikugira abakazi okusumba abasajja, era nga kitwaaliramu okubabulira oba okuyimirira okubasomesa mu lujjudde oba okubakulembera mu mwoyo.
Waliwo okugaanibwa kungi ku nsonga y'abakazi okuwereza ng'abasumba. Esinga okwatikirira y'ensonga nti mu kyaasa ekyasooka, abakazi bali tebasooma. Wabula 1 Timoseewo 2:11-14, telina weraga nsonga yabutasoma oba abasajja okuba nga bo baasoma. Singa okusoma kyali kisanyizo okusobola okuwereza, abayigirizwa ba Yesu abasinga bali tebasaana. Ensonga endala eyogerwako eri nti, Pawulo yagaana abakazi Abaefeeso boka okusomesa abasajja (1 Timoseewo kyawandiikirwa eri Timoseewo, omusumba we Kanisa ya Efeeso.) Efeeso yali emanyikiddwa olwa yekaalu za Atemisi era abakazi balina obuyinza bwamanyi mu yekaalu ezo ez’okusinza ebifaananyi—n'olwekyo endowooza yabwe egamba nti, Pawulo yali agaana abakazi okulemebera nga bwebakulemebera mu mikolo egy'okusinza ebifaananyi ebyali mu Efeeso, era nti ekanisa erina okuba eyenjawulo. Wabula ekitabo kya 1 Timoseewo tekirina wekyogerera ku Atemisi, era tewali wantu wonna Pawulo wayogerera ku nkola yabasinza Atemisi okuba nga yemu ku nsonga lwaki yagaana abakazi okuwereza nga abasumba. 1 Timoseewo 2:11-12.
Ensonga endala eyogerwako eri nti, Pawulo ayogera ku bakazi na abasajja abafumbo, si buli mukazi na musajja yenna. Mu luyonaani, ekigambo "omukazi" era "Omusajja" mu 1 Timoseewo 2 kiyiinza okutegeza Omukazi oba omusajja omufumbo; wabula, amakulu agasokerwako ag'ebigambo ebyo gasukkuluma ku Bafumbo. Era okusingawo ekigambo ky'ekimu mu luyoonani kikozesebwa mu nyiriri 8–10. Abasajja abafumbo bokka be balina okuyimusa emikono emitukuvu awatali busungu na mkapa? Abakazi abafumbo bokka bebalina okweyongera mu byambalo ebisaana, nokukola ebikolwa ebirungi, n'okusinza Katonda (9-10)? Nedda. Enyiriri 8-10 zogera eri abasajja n'abakazi bonna, si Bafumbo bokka. Tewali mu kyawandiikibwa kino kitegeza bafumbo mu nyiriri 11-14.
Ensonga endala eyekwasa ku kuvunula eri ku Bakazi abalina ebifo by'obuyinza mu Bayibuli okusingira ddala Miriya, Debora, Kuluda mu ndagaano enkadde. Kituufu nti abakyala balondebwa katonda okumuwereza mu ngeri eyenjawulo era bali kyakulabirako eky'okukkiriza, amanyi, era eky'obukulembeze. Wabula, obuyinza bwabakyala mu ndagaano enkadde tebukwatagana na nsonga ya bakyala kubeera basumba mu Kanisa. Endagaano empya eyanjula enkola empya ey'abantu ba Katonda—ey'ekanisa., omubiri gwa Kristu—era enkola eno erimu obuyinza nga bulina kukola mu bwakanisa, so si nsi ya Yisirayiri. Enjogera yemu eyogerwa ku Pulisikira ne Foyibe mu ndagaano empya. Erinnya Pulisikira lisooka ely'omwami we Akula okwogerwako kubanga alabika yali amayikiddwa mu buwereza okusinga Bbawe. Ddala Pulisikira ne Akula basomesa Apolo enjiri ya Yesu? Yye, "bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda "(Ebikolwa 18:26). Ddala Bayibuli egamba Pulisikira yasumba ekanisa oba yasomesa mu lujjude oba yafuuka omukulemebze w'omwoyo w'ekanisa y'abakkiriza? Nedda. Okusinzira nga bwetumanyi Pulisikira teyetaba mu kuwereza mu ngeri ekontana ne 1 Timoseewo 2:11-14.
Mu Abaruumi 6:1, Foyibe ayitibwa omudinkoni (Oba omuwereza ) mu Kanisa era Pawulo amwogerako ebirungi bingi . Wabula Foyibe talina wayogerwako Pawulo okuba Omusumba oba omusomesa mu Kanisa erimu abasajja. "Alina kuba ng'asobola okusomesa" kisanyizo kya bakadde wabula si Badinkoni (1 Timoseewo 3:1-13; Tito 1:6-9).
Empandiika ya 1 Timoseewo 2:11-14 eraga bulungi esonga lwaki abakazi tebalina kuba basumba. Olunyiriri olwe 13 lutandika lugamba, "kubanga" okuwa ensonga lwaki abakyala tebalina kuba na buyinza eri basajja mu 11-12. Lwaki abakyala tebalina kubeera na buyinza eri basajja? "Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona:"(13-14) Katonda yasoka kutonda Adamu nalyoka Atonda Kaawa okubera omuyambi wa Adamu. Ensengeka y'okutonda erina kyetegeza eri enkola y'ebintu mu Famile ne mu Kanisa.
Okuba nti Kaawa ye yalimbibwa, nayo ewebwa mu 1 Timoseewo 2:14 nga ensonga lwaki Abakyala tebalina kuwerezanga Basumba era lwaki tebalina kuba na buyinza bwa mwoyo eri basajja. Kino tekitegeza nti abakazi banguwa okulimbibwa okusinga abasajja. Singa abakazi bona banguwa okulimbibwa lwaki bakkirizibwa okusomesa abaana (abangu okulimbibwa) na bakazi abalala (era nga nabo bangu okulimbibwa)? Ekyawandiikibwa kigamba nti Abakazi tebakkirizibwa kusomesa Basajja oba kuba na buyinza eri basajja. Kubanga Kaawa yeyalimbibwa. Katonda alonze okuwa abasajja obuvunanyizibwa obusoka obw'okusomesa mu Kanisa.
Abakazi bangi basukuluma mu birabo eby'okwaniiriza abagenyi, okusomesa, okubulira enjiri. Obuwereza bungi mu Kanisa bwesigamye ku bakazi. Abakyala mu Kanisa tebaganiibwa kukulembera kusaba oba okubuulira (1 Abakolinso 11:5), wabula okuba n’obuyinza obw’omwoyo obusomesa abasajja. Bayibuli terina wegaana kukozesa ebirabo by'omwoyo omutukuvu (1 Abakolinso 12). Abakazi wamu n'abasajja bayitibwa okuwereza eri abalala era okwolesa ebibala by'omwoyo mutukuvu.( Abagalatiya 5:22-23), era n'okubulira enjiri eri abaabula( Matayo 28: 18-20; Ebikolwa 1:8; 1 Petero 3;15).
Katonda yateketeka nti abasajja bokka bebalina okuwereza mu bifo eby'okusomesa mu buyinza obwoyo mu Kanisa. Kino tekiri bwekityo kubanga abasajja basomesa balungi okusinga abakazi oba nti abakazi bali wansi era amagezi gabwe matono (era nga tekyiri bwekityo). Yengeri Katonda gyeyetekatekamu ekanisaye okutambuzibwamu era okukola. Abasajja balina okubeera eky’okulabirako mu bukulembeze—okuyita mu bulamu bwabwe era n'ebigambo byabwe. Abakazi batwala obuvunanyizibwa obutali bwa buyinza. Abakazi bawebwa eky'okusomesa bakazi banabwe (Tito 2:3-5). Bayibuli tegaana Bakazi kusomesa baana. Omulimu gwoka gwebatalina kukola gwe gw'okusomesa oba okuba n'obuyinza obw'omwoyo eri abasajja. Kino tekitegza nti abakazi tebalina nnyo mugaso, wabula kibawa okuteeka essira kubyo Katonda byeyatekateka bakole era mweyabaweera ebirabo eby'omwoyo.
English
Abasumba/Ababuulizi abakazi? Kki Bayibuli kyeyogera ku Bakazi abali mu buwereza?