settings icon
share icon
Ekibuuzo

Akaseera ak’okubonaabona ke kaliwa?

Okuddamu


Akaseera ak’okubonaabona gy’emyaka omusanvu egyirija Katonda lwalimaliriza okukakangavula era lwalimaliriza okusalira omusango abo bonna abatakkiriza. Ekanisa, ngelimu abo bonna abateeka okukkirizaa mu Yesu n’omulimu gweyakola okubalokola eri okubonerezebwa tegenda kuba kunsi mu kaseera ak’obunonaabona. Ekanisa egakujibwa okuva ku nsi mu kukwakulibwa (1 Abassesalonnika 4:13-18; 1 Abakkolinso 15:51-53). Ekanisa olwo eliba olokoleddwa okuva mu busungu bwa Katonda obulija (1 Abassesalonika 5:9). Okuva mu byawandiikibwa byonna, akaseera okubonaabona kayitibwa amanya amalala nga “Olunaku lwa Mukama” ( Isaaya 2:12; 13:6-9; Yoweri 1:15: 2:1-31; 3:14; 1 Abassesalonika 5:2); emitawaana oba okubonaabona (Ekyamateeka 4:30; Zephaniya 1:1); akaseera ok’okubonaabona okungi, akategeeza akaseera ak’okubonaabona okwongeddwamu akanatukawo mu kitundu eky’okubiri ekyemyaka omusanvu (Matayo 24:21); ekiseera eky'okunakuwaliramu (Daniyeeri 12:1; Zefaniya 1:15); ekiseera Yakobo mw'alabira ennaku (Yeremiya 30:7).

Okutegeera Daniyeeri 9:24-27 kikulu okusobola okutegeera omugaso gw’akaseera k’okubonaabona.Ekyawandiikibwa kino kyogera ku sabbiiti omusanvu ezalangirirwa eri “abantu bo.” Abantu ba Daniyeeri be Bayudaaya, ensi ya Isirayeeri, Daniyeeri 9:24 eyogera ku kaseera Katonda kawadde, “okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okutabaganya olw'obutali butuukirivu, n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu.” Katonda alangirira nti “nsanvu mu musanvu” egya kutuukirizibwa mu bintu ebyo byonna.Gino giba emyaka 70 emirundi musanvu. Oba emyaka 490. (Ebyawandiikibwa ebimu byogera ku sabbiiti 70 ez’emyaka). Kino kikakasibwa ekyawandiikibwa ekirala ekiri mu Daniyeeri 9:25 na 26. Daniyeeri agambibwa nti Omununuzi alisalibwako nga wayiseewo sabbiiti musanvu: era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri ( zona awamu 69), okutandikiraddala ku kiragiro okuzimba Yerusalemi. Kwekugamba nti emyaka 69 emirundi musanvu ( emyaka 483) ng’ekiragiro ky’okuzimba yerusalemi kimaze okuyita, omulokozi alisalibwako.

Abawandiisi b’ebyafaayo aba Bayibuli bagamba nti emyaka 483 gyayita okuva ku kiragiro ky’okuzimba Yerusalemi okutuuka ku kaseera Yesu weyakomelerwa. Abasomi abakkristaayo abasinga ng’otadde ebbali ebirowoozo byabwe ku nsonga z’enkomerero oba ennaku ezirija, bakkiriziganya n’enzivunuula eno eya 70 emirundi musanvu eya Daniyeeri.

Emyaka 483 nga gyimaze okuyita okuva ku kiragiro okuddamu okuzimba yerusalemi okutuuka ku okusalibwako kw’Omulokozi, kino kirekayo emyaka musanvu okutuukirizibwa okusinzira ku Daniyeeri 9:24: “okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okutabaganya olw'obutali butuukirivu, n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu.”Emyaka musanvu gino egisembayo gyegiyitibwa akaseera ak’okubonaaboneramu—ke kaseera Katonda lwalimaliriza okusalira Isirayeeri omusango olw’ebibi bye.

Daniyeeri 9:27 eyongera okwogera ku myaka omusanvu: “ Era aliragaana endagaano ennywevu n'abangi okumala ssabbiiti emu: ne mu kitundu ekya ssabbiiti alikomya ssaddaaka n'ekitone: ne ku kiwaawaatiro eky'eby'emizizo kulijjirako oyo alizisa: n'okutuusa byonna okutuukirizibwa, okwo kwe kwalagirwa, obusungu bulifukibwa ku oyo azisa. Ebyawandiikibwa bino byogera byogera kw’oyo Yesu gwayita“ eky'omuzizo ekizikiriza” (Matayo 24:15), era ayitibwa “ensolo” mu Kubikkulirwa 13. Daniyeeri 9:27 egamba nti ensolo elikola endagaano okumala emyaka musanvu, wabula mu massekati ga sabbiiti eno(nga wayiseewo emyaka 3 n’ekitundu egy’okuboonabona), agya kumenya endagaano eno, era ateeke ekkomo ku saddaaka. Okubikkulirwa 13 kunyonyola nti ensolo eliteeka ekifanaanyi kyayo ku yekaalu era eliragira ensi okugisinza. Okubikkulirwa 13:5 egamba enti kino kija okumala emyezi 42 nga gy’emyaka 3 n’ekitundu. Olw’okuba Daniyeeri 9:27 egamba nti kino kigya kutukawo mu massekati ga sabbiiti, era nga Okubikkulirwa 13:5 egamba nti ensolo elikikola okumala emyezi 42, kyangu okulaba nti bino byonna biggya kumala emyezi 4 oba emyaka 7. Era wetegereze Daniyeeri 7:25, “ekiseera, ebiseera, n’ekitundu ky’ekiseera.”(ekiseera =omwaka gumu, ebiseera = emyaka 2, ekitundu ky’ekiseera= kitundu ky’omwaka; byonna awamu byenkaanankana n’emyaka 3 n’ekitundu) biyitibwa akaseera ak’okubonaabona. Enaku ezongerwako mu Daniyeeri 12 zisobola okuba ke kaseera akali ku nkomerero y’okusalirwa omusango okw’ensi yonna ( Matayo 25:31-46) wamu n’akaseera okuteekateka obwakabaka bwa Kristu obw’ekyasa (Obubikkulirwa 20:4-6).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Akaseera ak’okubonaabona ke kaliwa?
© Copyright Got Questions Ministries