settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku Bakristaayo okuyingira amagye?

Okuddamu


Bayibuli erina byeyogera bingi ku kuyingira mu magye. Newankubadde nga ebintu bingi Bayibuli byeyogera ku Magye ngero bugero, enyiriri eziwera zogera buteerevu ku bikwata ku kibuuzo kino. Bayibuli teyogera buteerevu oba omuntu asobola okuyingira amagye oba nedda Mu kiseera ky’ekimu, Abakristaayo balina okumanya nti okuba omuserikale kintu kya kitiibwa mu byawandiikibwa era nti okuweereza okulinga okwo kufaanana n’endowooza ya Bayibuli.

Eky’okulabirako ekisooka ekiraga okuweera mu magye kisangibwa mu ndagaano enkadde (Oluberyeberye 14), kizibwe bwa Yibulayimu Lotti bweyawambiwa KedolawomeerI Kabaka w’Eramu n’abomukago gwe. Yibulayimu yakuŋŋanya abasajja 318 abali abatendeke ob’omunju era balumba nebawangula ab’Eramu. Wano tulaba abasajja abalwanyi nga benyigira mu ddimu ely’obuvunanyizibwa okununula era okukuuma abo abatalina musango.

Edda mu byafaayo, ensi ya Isirayeri yazimba egye eriyimiridde. Olw’okuba nti Katonda yeyali Omulwanyi era nga yakuuma abantu be nga tatunuulidde manyi gabwe yandiba ensonga lwaki Yisirayeri yalwawo okuzimba egye. Okuzimba egye mu Yisirayeri kwagya luvanyuma nga obufuzi obwawakati bukoleddwa Sawulo, Dawudi, ne Sulemani. Sawulo yeyasooka okukola egye eriyimiridde (1 Samwiri 13:2; 24:2; 26:2).

Ekyo Sawulo kyeyatandika, Dawudi yakyongerayo. Yayongera ku magye, nareta ebibinja ebipangisibwa okuva mu itundu ebirala abali bakkiririza mu yye yekka (2 Samwiri 15:19-22) era nawa Yowabu okuba omuduumizi omukulu. Wansi wa Dawudi, Yisirayeru yafuuka y’amannyi mu kulumba kwayo, era yeddiza ensi ezaali zijiriranye nga Amoni (2 Samwiri 11:1; 1 Ebyomumirembe 20:1-3). Dawudi yateekawo enkola nga ebibinja kumi na bibiri nga birimu abalwanyi 2400 nga buli kimu kikola omwezi gumu mu mwaka (1 Ebyomumirembe 27). Newankubadde obufuzi bwa Sulemaani bwali bwa mirembe, naye yayongera ku magye nagattako amagali nabebagala emabalasi (1 Bassekabaka 10:26). Egye eriyimiridde lyeyongera (newankubadde nga lyayawulwamu wamu n’obwakabaka nga Sulemaani amaze okufa) okutuusa 586 B.C., (nga Yesu tanazaalibwa) Yisirayeri(Yudda) bweyagibwako obufuzi.

Mu Ndagaano empya, Yesu yewunya omwami w'ekitongole Omuruumi (omwami oavunanyizibwa ku bajaasi kikumi) bweyaja gyali. Omwami ow’ekitongole byedamu eri Yesu byalaga nti ategeera obuyinza, era n’okukkiriza kwe mu Yesu (Matayo 8:5-13). Yesu yetagaana mulimu gwe. Abaami bangi ab’ebitongole abogerwako mu Ndagaano empya batenderezebwa nga Abakristaayo, abatya Katonda, era abalina embala ennungi (Matayo 8:5; 27:54; Makko 15:39-45; Lukka 7:2; 23:47; Ebikolwa 10:1; 21:32; 28:16).

Ebifo n’ebitiibwa bisoboka okuba nga byakyuka, wabula amagye gaffe galina okuba ag’omugaso ng’Abaami ab’ebitongole mu Bayibuli. Ekifo ky’omuserikale oba omulwanyi kyali kiwebwa ekitiibwa. Okugeza, Pawulo eyogera ku Epafuloddito omu ku Bakristaayo bannafe okuba "mulwanyi munaffe" (Abaffirippi 2:25). Bayibuli era ekozesa ebigambo eby’amagye okwogera ku kubeera ow’amannyi mu Mukama nga twambala eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda (Abaefeeso 6:10-20), nga kwekuli ebikozesebwa byabalwanyi—enkufiira ey'okumutwe, engabo, n’ekitala.

Yye, Bayibuli eyogera ku kuwereza mu magye buterevu era mu ngeri etali nsibalaala. Abasajja n’abakazi Abakristaayo abaweereza mu magye eri egwanga lyabwe mu mannyi, era mu kitiibwa basobola okuwumula ebirowoozo kubanga emirimu gyebakola gikirizibwa era giweebwa ekitiibwa Katonda ow’obuyinza. Abo abaweereza mu magye bagwaana ekitiibwa n’okusimibwa kwaffe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku Bakristaayo okuyingira amagye?
© Copyright Got Questions Ministries