settings icon
share icon
Ekibuuzo

Amateeka ekkumi ge galiwa?

Okuddamu


Amateeka ekkumi by’ebiragiro ekkumi mu Bayibuli Katonda byeyawa eggwanga lya Isirayeri oluvanyuma lw’okuva Emisiri. Amateeka ekkumi gagatta awamu amateeka 613 agali mu ndagaano enkadde. Amateeka ana agasooka gakwata ku nkolagana yaffe ne Katonda. Amateeka omukaaga agasembayo gakwatagana ku nkolagana yaffe ne banaffe. Amateeka ekkumi gawandikibw mu bayibuli mu Kuva 2:1-17 n’Ekyamateeka olwokubiri 5:6-21 era ge gano:

1) “Tobanga na bakatonda balala we ndi.” Lino eteekaliwakanya n’okusinsa nga Katonda yenna okuleka omuttufu. Bakatonda abalala bonna baabulimba

2) “Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka; tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga; kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajjaabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, era abakwata amateeka gange.” Lino eteeka liwakanya okukola ebibumbe, ekintu ekirabisibwa okukiikirira Katonda. Tewali kifananyi kyetuyinza okukola ekisobola okukiikirira Katonda. Okukola ekibumbe okukiikirira Katonda kwe kusinza bukatonda obutono.

3) “Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo; kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.”Lino eteeka liwakanya okulayiriranga mu linnya lya Mukama. Tulina okutwala erinnya lya Mukama ng’ekintu ekikulu. Tulina okulaga ekitiibwa eri Katonda nga tumwogerako mu ngeri ey’ekitiibwa

4) “Jjukira olunaku olwa Ssabbiiti, okulutukuzanga. Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo; olunaku olwo tolukolerangako mirimu gyonna gyonna; ggwe kennyini, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omudduwo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo; kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu; Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti, n'alutukuza.” Lino eteeka lyawula olunaku lwa Sabiiti (Olwomukaaga, olunakku olusembayo mu wiiki) ng’olunakku olw’okuwumula olwaweebwaayo Katonda.

5) “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa; ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.” Lino eteeka litulagira okuwa abazadde ekitiibwa.

6) “Tottanga.” Lino ly’eteeka eliwakana n’okutta omuntu n’ekigendererwa.

7) “Toyendanga.” Lina etteeka ligaana okwenyigira mu kikolwa eky’omukwano n’omuntu yenna okujjako mukazi wo oba omwami wo

8) “Tobbanga.” Lino ly’eteeka eliwakana n’okutwaala ekintu kyonna ekitali kikyo, nga tofunye lukisa lwa nannyini kyo.

9) “Towaayirizanga muntu munno.” Lino eteeka liwakanya okuwayiriza omuntu omulala. Lino eteeka liganira ddala okulimba.

10) “Teweegombanga nnyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.” Lino eteeka ligaana okwegomba ekintu kyona ekitali kikyo. Okwegomba kusobola okuleetera omuntu okumenya erimu ku teeka wagulu: katugeze, okutta, okukola obwenzi, n’obubbi. Bwekiba nga kibi okukola ekintu kyona kibi okukyegomba okukikola.

Abantu bangi bakola ensobi nebatunuulira amateeka ekumi okuba ebiragiro, nto singa omuntu abigoberera, abasobola okukkirizibwa okuyingira mu Gulu bwamala okufa. Wabula, omugaso gw’amateeka ekumi kwekukaka abantu okutegeera nti tebasobola kugondera Mateeka (Abaruumi 7:7-11). Era nti betaaga ekisa kya Katonda n’okusaasirwa. Newankubadde omulenzi omufuzi mu Matayo 19:16 yagamba nti atuukiriza amateeka gonna ekumi, tewali muntu asobola kutuukiriza Mateeka gonna ekumi. (Omubuulizi 7:20). Amateeka Ekumi galaga nti fenna twayonoona (Abaruumi 3:23) era nti twetaaga ekisa kya Katonda, kyetusobola okufuna okuyita mu kukkiriza Yesu Kristu kwoka.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Amateeka ekkumi ge galiwa?
© Copyright Got Questions Ministries