settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku bisiyaga? Okulya ebisiyaga kibi?

Okuddamu


Mu birowwozo by'abantu abamu, okulya ebisiyaga tekilondebwa muntu ng’omuntu bwatalonda kala ya lususu lwe oba obuwanvu bwe. Wabula Bayibuli eyogera lunywe buli kiseera nti okulya ebisiyaga kibi (Oluberyeberye 19:1-13, Abaleevi 18:22, 20:13; Abaruumi 1:26-27; 1 Abakolinso 6:9). Obutakwatagana mu birowoozo buno buleta okusika omuguwa n'okuwakana era n'abantu okuba abakaawu eri banabwe.

Bwetukebera bayibuli kyegamba ku kulya ebisiyaga, kirungi okwawula omuze ogw'okulya ebisiyaga n’okuba n'okwagala eri basajja banno oba bakazi banno. Yenjawulo wakati w'ekibi ekikolebwa mu buliwo, n'okukemebwa. Okulya ebisiyaga kibi. Naye Bayibuli tegamba nti okukemebwa kibi. Kwekugamba nti okukemebwa kusobola okutwala mu kwonoona naye okutawanyizibwa n'okukemebwa si kibi.

Abaruumi 1:26-27 esomesa nti okulya ebisiyaga kuva mu kwegaana n'okujeemera Katonda. Abantu bwe beyongera okwonoona n'obutakkiriza, Katonda abawayo eri okwonoona n'obubi obusinga okusobola okubalaga obubi n'obutaliimu obuli mu kwawukana ne Katonda. Ekimu ku bibala eby'okugaana Katonda kwekulya ebisiyaga. Abakolinso 6:9 egamba nti abo abenyigila mu kulya ebisiyaga, boonoona nga bakyusa engeri Katonda gyetekateka ebintu okubeera era tabasikira bwakabaka bwa Katonda.

Omuntu asobola okuzalibwa nga ye kimwanguyira okwegomba abantu ab'ekikula ekimu naye, ng'omuntu bwasobola okuzalibwa nga ayanguyirwa okukola akibi ku bantu banne oba ebibi ebirala. Naye ekyo omuntu talina kukyekwaasa bwalondawo okwonoona ng'akiriza ekwegomba kwe okw'ekibi okumuwangula. Omuntu okuba nga yazaalibwa nga kimwanguyira okububuuka n'obusungu tekimuwa lukusa kukkiriza kuwangulwa busungu era okubwatuka mu busungu eri buli amusunguwaziza era kyekimu n’oyo ayanguyirwa okwegomba bassaja bane oba bakazi bane.

Tetusobola kwongera kwetwaala nga tuli kimu n'ebibi ebyakomerera Yesu ku Musaalaba—ate netulowooza nti tutukiridde eri Katonda. Pawulo awadiika olukalala olw'ebibi bingi Abakolinso bye bali bakola. (Ebisiyaga nabyo kwebiri). Naye mu 1 Bakolinso 6:11 Pawulo abajjukiza nti "Era abamu ku mwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. Kwe kugamba, Abakolinso abamu nga tebanaba kulokolebwa, bali balya ebisiyaga; naye teri kibi kinene nnyo nti tekisobola kunazibwa Yesu. Bwomala okunazibwa, oba tokyassa kimu na kibi.

Ekizibu ku kulya ebisiyaga kiri mu kwegoomba ekyo Katonda kyeyagaana, era ekintu kyona okwegoomba kwona kw'ekintu kyona ekibi kulina emirandira mu kibi. Okukyama kw'ekibi kutuletera okukozesa endowooza eyakyama olw'ekibi okulaba ensi nebikolwa byaffe mungeri eyakyama. Ebilowoozo, okwagala, n'okulaba kwaffe kwona kwayonoonebwa. N'olweekyo, okwegomba abantu abekikula ekimu ebiseera ebisinga tekivaamu kusalawo kwonoona—omuntu asobola okwonoona nga takirowoozezako mu ye kusalawo kwonoona—naye nga kiva mu mbeera eyekibi ey’obuntu (Sinful nature). Okuba n'okwagala eri abantu abekikula ekimu nawe nakwo kiri ku daala eritandikirwako, kwolesa okugwa kw'omuntu olw'ekibi.

Nga abantu abonoonyi abali mu nsi ey'ekibi ( Abaruumi 3:23), twadizibwa emabega mu bunafu, okukemebwa, era okwagala ekibi. Ensi gyetulimu erimu ebyo ebitusikiriza, era ebitutega, nga mwemuli okwagala okulya ebisiyaga.

Okukemebwa okwenyigira mu kulya ebisiyaga kutuse ku bantu bangi. Abo abalwanagana n'embeera ey'okwegoomba abantu ab'ekikula ekimu nabo ebiseera bingi bagamba nti bayita mu kubonaboona okumala emyaka mingi nga balowooza nti singa ebintu byali byanjawulo. Abantu bayinza obutasobola kufuga ngeri gyebawulira oba kki kyebawulira naye basobola okufuga kki kyebasalawo okukolera ekyo kyebawulira (filingi )(1 Peter1:5-8). Ffena tulina obuvunayizibwa okugaana okukemebwa(Abaefeso 6:13). Tulina okukyusibwanga olw'okufuula amagezi gaffe amaggya (Aabruumi 12:2).Tulina ffena okutambuliranga mu mwoyo tuleme okutuukiriza okwegomba kw'omubiri. (Abagalatiya 5:16).

Ekisembayo, Bayibuli teyogera ku bisiyaga ng'ekibi ekisinga ebibi ebirala byona. Ebibi byona binyiza Katonda. Awatali Kristu, ffena tubulira mu kibi kyona ekiba kitusibye. Okusinzira ku Bayibuli, okusonyiyibwa kwa Katonda kuli eri omuli webisiyaga nga bwekuli eri omwenzi, asinza ebifaananyi, omutemu, oba omubbi. Katonda atusuubiza amanyi okuwangula ebibi okuli ebisiyaga, eri abo bona abanakkiririza mu Yesu Kristu olw'okulokolebwa kwabwe.( 1 Abakolinso 6:11; 2 Abakolinso 5:17; Abafirippi 4:13).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku bisiyaga? Okulya ebisiyaga kibi?
© Copyright Got Questions Ministries