Ekibuuzo
Bayibuli eyogeraki ku bafumbo okwawukana, n’okuddamu okufumbirwa oba okuwasa?
Okuddamu
Okusokera ddala, ssi nsonga ndowooza kki omuntu gyalina ku kwawukana, kikulu okujukira Malaki 2:16,"Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga." Okusinzira ku Bayibuli, obufumbo bwa bulamu bwona."obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu "(Matayo 19:6). Katonda akimanyi nti olwokuba obufumbo bulimu abafumbo babiri bombi nga bonoonyi, okwawukana kugya kubaawo. Mu ndagaano enkadde, Katonda yatekawo amateeka okusobola okukuma eddembe ly'abo abalekeddwawo, okusingila ddala kulwa abakazi (Okyamateeka 24:1-4). Yesu yagamba nti amateeka gano gaawebwa olw'obukakanyavu bwemitima gyabwe, si lwakuba nti kwe kwali okwagala kwa Katonda (Matayo 19:8).
Akanyoolagano ob’okwawukana, n'okuddamu okuwasa oba okufumbirwa kukkirizibwa okusinziira ku Bayibuli ketoloola ku Bigambo bya Yesu mu Matayo 5:32 ne 19:9, Ekigambo "wabula okumulanga ogw'obwenzi" kyekiragiro kya Katonda mu Bayibuli kyokka ekiwa olukusa okwawukana oba okuddamu okwasa oba okufumbirwa. Abavunuzi bangi bategeera ekitundu mu lunyiriri luno okutegeeza "okwenda" mu kiseera eky’okwogerezebwa. Mu buwangwa bwa bayudaaya, omussajja n'omukazi batwalibwa okuba nga bafumbo n'ewebaali nga bakyayogereganya. Okusinzira ku ndowooza eno, okwenda mu kiseera eky'okwogerezeganyamu yandibadde y'ensonga esobozesa abantu okwawukana.
Wabula, mu luyonaani, Obwenzi mu bufumbo busobola okuba mu ngeri yonna ey'okwenyigira mu byobukaba. Busobola okutegeeza okwenda nga tanafumbirwa oba nga tonawasa, obwamalaaya, abafumbo okwenda, n'engeri endala yonna eringa eyo. Yesu yali agamba nti okwawukana kusoboka singa omu ku bafumbo aba eyenze oba yenyigidde mu nsonga z'obukaba wabweru w'obufumbo. Okwegatta nsonga nkulu mu bigatta obufumbo. "nabo banaabanga omubiri gumu"( Oluberyeberye 2:24; Matayo 19:5; Abaefeeso 5:31). N'olw'ekyo, okumenya omukago n'obwenzi mu kikolwa ky’okwegatta ngaate okwegatta kyekifuula abafumbo okuba omubiri ogumu kisobola okuba ensonga eyinza okukirizisa okwawukana. Bwekiba bwekityo, Yesu naye ategeeza okufuna obufumbo obupya mu kyawandiikibwa kinno. Ekigambo "n'awasa omulala"(Matayo 19:9) kilaga nti okwawukana kukkirizibwa wamu n'okuddamu okufumbiriwa oba okuwasa. Kikulu nnyo okukitegeera nti oyo atalina musango akkirizibwa okuwasa oba okuddamu okufumbirwa. Newankubadde nga kino teky’ogerebwako mu kyawandiikibwa kino, okukkiriza okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ng'abafumbo bawukanye, kisa kya Katonda eri oyo gwebayonoona, si oyo eyayenda. Ayenze asobola okuba nga akkirizibwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ewantu ewamu, naye tewali mu kyawandiikibwa kino.
Abamu bategeera 1 Abakolinso 7:15 okuba "akawayiiro" akalala akakkiriza omu ku bafumbo okuddamu okuwasa oba okuddamu okufumbirwa singa atakkiriza ayawukana naye. Wabula Pawulo yali tayogera ku kuddamu kufumbirwa, wabula yagamba anti oyo owuluganda akkiriza tali mu buddu n'oyo atakkiriza singa atakkiriza asalawo okwawukana. Ensonga endala etunulira ensonga singa omu ku bafumbo oba omwana aba ali mu bulabe, okuba ensonga ekkirizibwa abafumbo okwawukana newankubadde nga teli mu Bayibuli. Newankubadde ng'ensonga eno esobola okubaamu eggumba, si kirungi kulowooleza oba kwogerera kigambo kya Katonda.
Ebiseera ebimalibwa mu kukubaganya ebirowoowozo, y'ensonga lwaki kyonna "obwenzi" kyebutegeeza, kiwa abafumbo eddembe okusalawo okwawukana, si eteeka okwawukana. Obwenzi ne bwebuberawo, abafumbo basobola, okuyita mu kisa, okuyiga okusonyiwa era nebaddamu okuzimba obufumbo bwabwe. Katonda atusonyiye binji okusingawo. Amazima gali nti, tusobola okugoberera eky’okulabirako kye netusonyiwa ekibi ky'obwenzi(Abaefeeso 4:32). Wabula, ebiseera ebisinga, oyo eyenze takkiriza kibi kye na kwenenya, era yeyongera okwenda. Awo Matayo 19:9 esobola okukozesebwa. Abantu bangyi era banguwa okuddamu okuwasa oba okufumbiwa nga bakamala okwawukana kyoka nga Katonda ayinza okuba abagala okusigala nga ssi bafumbo. Katonda ebiseera ebimu ayita abantu okuba bokka(single) ebigendererwa byabwe bisobole okuba nga tebyawuddwayawuddwaamu.(1Abakolinso 7:32-35). Okuddamu okuwasa oba okufumbirwa kusobola okubawo olwensonga ezimu, wabula tekitegeeza nti ly'ekubo lyoka.
Kimalamu amanyi okuba nga omuwendo gw'abakkiriza abawukana mungi okwenkana n'ogwaabo abatakkiriza. Bayibuli ekyogera lunywe nti Katonda akyaawa abafumbo okwawukana (Malachi 2:16) era nti okusonyiwagana n'okuzaawo enkolagana bilina kuba mpagi mu bulamu bw'omukkiriza..(Lukka 11:4, Abaefeeso 4:32). Wabula, Katonda akimanyi nti okwawukana okugya kubawo, ne mu baana be. Omukkiriza eyayawukana era/oba eyaddamu okuwasa oba okufumbirwa talina kuwulira nti Katonda tamwagala nga abalala, newankubadde nga okwawukana oba okuddamu okufumbirwa oba okuwasa tekuli mu kawayiro ka Matayo 19:9. Katonda akozesa n'ekibi ky’obujeemu okutuukiriza ebigendererwa bye ebirungi.
English
Bayibuli eyogeraki ku bafumbo okwawukana, n’okuddamu okufumbirwa oba okuwasa?