settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku Ttatu?

Okuddamu


Ttatu manyifu era nyingi mu bantu era mu bitundu bingi mu nsi. Omuwendo gw'abantu abalina ttatu gweyongedde mu myaka egiyise. Ttatu si za bazzi ba misango oba abayeekera bokka. Akakwate ka ttatu ku buyeekera kagenda kwagwaako.

Endagaano empya telina kyeyogera oba omukkiriza alina okufuna ttatu oba talina. N'olwekyo, tetusobola kugamba nti okufuna ttatu kibi. Olw'okusirika kw'ebyawandiikibwa, okufuna ttatu kugwa mu kiti ky'ebintu ebitali bibi oba ebirungi era nga omukkiriza alina okugoberera endowooza ye ku nsonga eno, era nawa ekitibwa abo abalina endowooza endala.

Zino ze nkola Bayibuli zetuwa okwasaganya ensonga ya ttatu.

• Abaana balina okusa ekitiibwa mu bazadde babwe (Abaefeso 6:1-2). Omwana ataneetuuka okufuna ttatu nga abazadde be tebakyaagadde kikyaamu okusinziira ku Bayibuli. Okufuuna ttatu ng'oyise mu kujeemera bazadde bo kiba kibi.

• Okwewuunda si kwa mugaso okusinga okuzimba omuntu w'omunda era tekulina kuba ssira lya Mukristaayo.(1 Petero 3:3-4). Omuntu ayagala okufuna ttatu asobole "okulabibwa" oba "okwegombebwa" aba yetunuulidde mu ngeri etaliimu nsa era eyekibi.

• Katonda alaba mutima, era ekigendererwa kyaffe okukola ekintu kyonna kulina kubanga kuwa Katonda ekitiibwa (1 Abakolinso 10:31). Ebigendererwa okufuna ttatu bwebiba nga byakusobozesa muntu "kugya mu mikwaano gye" oba "kulabika nga asinga banne", oba ensonga yonna efananyirizaako ezo wagulu tekuwa Katonda kitiibwa. Ttatu eyinza obutaba kibi, naye ekigendererwa okugifuna kisobola okuba ekibi.

• Emibiri gyaffe era n'emeeme byanunulibwa era bya Katonda. Omubiri gw'omukkiriza yeekaalu ya Katonda ey'omwoyo omutukkirivu (1 Abakolinso 6:19-20). Okukyusakyusa mu yekaalu ya Katonda eno (omubiri) kukoma wa? Waliwo wetulina okukoma muby’okwekuba ttatu? Waliwo omuwendo gwa ttatu bwegusukka nga tegukyaali kifaananyi kirungi wabula okwelumya mu ngeri y'okwonoona. Kino kirina okuba ensonga omukristaayo gyalina okufumintirizaako enyo era n’okusaba esaala eyamazima.

• Tuli babaka ba Kristu, abatwala obubaka bwa Katonda eri nsi (2 Abakolinso 5:20). Bubaka kki ttatu bwetwaala era eneyaamba oba enekukugira okukyikirira Kristu n'okugabana amawulire amalungi?

• Buli ekikolebwa awatali kukkiriza kiba kibi (Abaruumu 14:23), n'olwekyo, omuntu afuna ttatu alina okuba nga amatidde nti okwo kwe kwagala kwa Katonda eri obulamu bwe.

Tetusobola kuleka mboozi eno eya ttatu nga tetutunuulidde tteka ly'endagaano enkadde elyagaana Ttatu."Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama."(Ebyabaleevi 19:28). Ensonga lwaki ttatu zagaanibwa mu kyawandiikibwa kino tezaweebwa, wabula kirabika nga okwekuba ttatu yali nkola yaabo abattakkiriza Katonda era ng'ekwatagana n'okusinza ebifaananyi n'okweraguza. Kirabika yali nkola yabattakkiriza Katonda okwekuba amannya ga bakatonda abobulimba ku mibiri gyabwe oba okwekuba ekifaananyi kyona eky'ekintu ekisinza bakatonda abobulimba. Newankubadde ab'endagaano empya tebali wansi w'amateeka ga Musa, tusobola okutwaala enkola okuva mu teeka lino nti, Omukristaayo bwasalawo okufuna ttatu, telina kubaamu ngeri yonna ya kweraguza oba okuwagira ndowooza yonna ey'ensi. Okufuna ttatu si kibi katugambe. Omukristaayo alina eddembe wabula ng'akulembeddwa enkola okuva mu Bayibuli era nga asimbiddwa mu kwagala eri abantu abalala.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku Ttatu?
© Copyright Got Questions Ministries