settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ebibi byonna byenka eri Katonda?

Okuddamu


Mu Matayo 5:21-28, Yesu yenkanyankanya obwenzi n’okwegomba mu mutima gwo era okutta n’okuba n’obukyaayi mu mutima gwo. Wabula, kino tekitegeeza nto ebibi byenkanankana. Yesu kyeyali agezaako okugamba Abafalisaayo kiri nti ekibi kisigala kibi ne bwoba ng’oyagala bwagazi kukikola wabula nga tokikoze. Abakulu bamadiini mu biseera bya Yesu basomesa nti kyali si kibi okulowooza ku kinti, kasita tokikola. Yesu abakkaka okutegeera nti Katonda asalira omusango ebirowoozo by’omuntu wamu n’ebikolwa. Yesu yagamba nti ebikolwa byaffe biva mu ebyo ebiri mu mitima gyaffe (Matayo 12:34).

N’olw’ekyo newankubadde Nga Yesu yagamba nti obwenzi n’okwegomba byombi bibi, tekitegeeza nti byonna byenkana. Kibi nnyo okutta omuntu okusinga okumukyaawa newankubadde nga byonna bibi mu maaso ga Katonda. Ekibi kirina emitendera egy’enjawulo. Ebibi ebimu bibi nnyo okusinga ebirala. Mu ngeri yemu, bwobitunuulira okusinziira ku bibonerezo eby’olubeerera wamu nobulokozi, ebibi byonna byebimu. Buli kibi kitwala eri omusango ogw’olubeerera (Abaruumi 6:23). Ekibi kyonna ne bwekiba kitono kitya, kivve eri Katonda ataggwaawo era ebeerera emirembe n’emirembe., era kigwaanira ekibonerezo ekitaggwaawo era eky’emirembe n’emirembe. Waula tewali kibi kinnene nnyo nti Katonda tasobola kukisonyiwa. Yesu yafa okusasula emutango gw’ekibi (1 Yokaana 2:2). Yesu yafa olw’ebibi byonna (2 Abakkolinso 5:21). Ebibi byonna byenkana eri Katonda? Yye era nedda. Mu bunnene oba obutono? Nedda. Mu kibonerezo? Yye. Mu kusonyiyibwa Yye.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ebibi byonna byenka eri Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries