settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ebibi omusanvu ebikambwe bye biki?

Okuddamu


Okusinziira ku njigiriza y’Abakatoliki, ebibi omusanvu ebikambwe gy’emize omusanvu, egirekebwa nga tegikebeddwa negiryoka givaamu olukunkumuli lw’ebibi ebirala era olwo negimaliriza nga gisse omwoyo. Ebibi omusanvu ebikwambwe mwemuli, obuggya, omululu, okwaka, obusungu, n’obugayavu. Olukalala luno lwasooka kugattibwa Paapa Gulegole (Pope Gregory) mu kyasa ky’ekumi n’omukaaga. Tomasi Akwinasi (Thomas Aquinas) oluvanyuma nagaziya enonga eno. Mu kyasa ky’ekumi n’ennya, Dante (Soma Dente) yawandiika ekitontome kye ekyewunyisa kyeyatuuma Okubengeya (Inferno) mweyalaga ekifaananyi kya Puligaatooli ng’elina embalaza musanvu ezikwatagana n’ebibi omusanvu obikambwe.

Ebibi omusanvu ebikambwe era biyitibwa ebibi omusanvu ebikulu—nga kitegeeza ebirina okuteekebwako esiira eddene oba “ebikambwe ennyo” Ebibi omusanvu ebikambwe bitwalibwa okuba ebibi ebisokerwaako ebirya omuntu era by’ebibi ebisobola okutuza emabega. Buli kibi ku bibi bino omusanvu kivaamu ekibi ekirala,okugeza, obusungu busobola okuleetta okwogera obubi, obukambwe, oba okutta.

Kukuno okunyonyola okumpimpi ku bibi bino omusanvu.

Amalala — Okulowooza ku muwendo gwo, mu ngeri esukkuluma, etali ntuufu.

Obuggya — Okuwulira nti gwe osaana ebintu ebikwatibwaako, obuwanguzi, omuwendo, oba talanta y’omuntu omulala.

Omululu — Okwagala ennyo okulya n’okunywa okusukkulumye.

Okwaaka— Okulowooza ku kwegatta oba okwagala okwesanyusa mu nsonga z’omukwano n’omuntu atali mwagalwa wo.

Obusungu— Okwagala okusukkulumye okutali kutuufu okw’okuwoolera.

Omululu gw’ebintu — Okwagala ebintu okusingira ddala ebintu by’omuntu omulala.

Obugayaavu — Obutatekamu manyi mu mulimu ogwetagibwa, negutakolebwa (Oba okukolebwa obubi).

Ekimu ku bintu ebisinga okutegerebwa obubi ku bibi omusanvu kiri nti; Katonda tagenda kubisonyiwa. Ekeleziya Katolika tesomesa nti ebibi ebyo tebisonyibwa, mu nsomesa yabwe, ebibi omusanvu bisobola okuleeta ebibi ebirala, ebiretera omuntu okugenda mu geyeena nga yakaffa, okujako nga ebibi ebyo byenenyezeddwa ng’omuntu nataffa. Obukatoliki era busomesa nti ebibi omusanvu ebikambwe bisobola okuwangulwa n’enkola musanvu.(Obukkakamu, Okwebazanga, okuyamba, Okwewala oba okulinda okukola ekintu okutuusa akaseera kakyo nga katuuse, okubeera mu bulamu obutali bwa beeyi nnyo oba obulamu obwangu, obuguminkiriza, n’okulemerako )

Ensomesa y’ebibi omusanvu ddala ewagirwa Bayibuli? Yye era nedda. Engero 6:16-19 eraga ebintu omusanvu Katonda byakyaawa; 1) Amaaso ag'amalala, 2) olulimi olulimba, 3) engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango;

4) Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, 5) ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima;

6) Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba, 7) n'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda. Amazima gali nti olukalala luno ssi lwe lukalala abantu lwebamanyi ng’olw’ebibi omusanvu ebikambwe.

Yye, Amalala, obuggya, nebirala bibi Katonda byakyaawa, wabula, tebiyitibwa “ebibbi omusanvu ebikambwe” mu Bayibuli. Ebibi omusanvu ebikambwe bisobola okuba engeri y’okwawulamu ebibi byonna. Kumpi buli kibi kisobola okutekebwa mu kimu ku bibi omusanvu.

Ekisembayo, tewali kibi kikambwe oba kibi nnyo okusinga ekirala. Ebibi byonna bivaamu okufa (Abaruumi 6:23). Buli kibi kisalira omuntu omusango okuba omumenyi wamateeka (Yakobo 2:10). Atenderezebwe Katonda olw’okubanga Yesu Kristu yatwaala ekibonerezo ky’ebibi byaffe, nga kwekuli ebibi “omusanvu ebikambwe.” Olw’ekisa kya Katonda, okuyita mu kukkiriza Kristu, tusobola okusonyiyibwa (Matayo 26:28; Ebikolwa 10:43; Abaefeeso 1:7).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ebibi omusanvu ebikambwe bye biki?
© Copyright Got Questions Ministries