settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ekirabo eky'okwogera ennimi ky'ekiriwa?

Okuddamu


Omulundi ogusooka okwogera ennimi kwali ku lunaku lwa Pentekooti mu Bikolwa 2:1-4. Abatume bagenda nebabuulira enjiri eri ebibiina, nga bogeera nabo mu nnimi zaabwe."Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda.(Ebikolwa 2:11). Mu luyonaani ekigamba ennimi kitegeeza ennimi abantu ze boogera. N'olwekyo, ekirabo eky'ennimi kwe kwogera mu lulimi lw'otamanyi osobole okwogera eri oyo ayogera olulimi olwo. Mu Abakolinso ekisooka esuula 12-14, Pawulo eyogera ku birabo ng'agamba, "Naye kaakano, ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza?"(1 Abakolinso 14:6). Okusinziira ku Pawulo omutume, era ng'akkiriziganya n'ennimi ezogerwa mu Bikolwa by'abatume, okwogera ennimi kuba kwamugaso eri oyo awulira obubaka bwa Katonda mu lulimi lwe, wabula tekuba kwamugaso eri abo abataziwulira okugyako nga waliwo avunuula.

Omuntu alina ekirabo eky'okuvunuula ennimi. (1 Abakolinso 12:30) asobola okuteegera ekyo ayogera kyategeeza newankubadde nga tamanyi lulimi lwayogera. Oyo avunuula awo asobola okubulira obubaka eri abo bonna abatawulira lulimi lwogerwa, bonna basobole okuteegera ebyogeddwa." Kale ayogera olulimi asabenga ategeezenga" (1 Abakolinso 14:13). Oyo yenna ayogera ennimi alina okusaba wabeerengawo avunuula. Engeri Pawulo gyeyafundikira ku nnimi ezitalina azivuunula yansonga nnyo." naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi."(1 Abakolinso 14:19).

Ekirabo eky'ennimi kyanaku zinno? Abakolinso ekisooka 13:8 eyogera ku kirabo eky'ennimi nga ekigwaawo, newankubadde nga kigatta ku kujja "Kw'obutukirivu" mu 1 Abakolinso 13:10. Abamu basonga ku njawulo mu lulimi oluyonaani era bagamba nti Pawulo yali ayogera ku bunnabbi n'amagezi okukoma era nti ekirabo ekyennimi "kyakomezebwa" ng'obujjulizi obw'ennimi okukoma "ng'obutukkirivu" tebunatuuka. Newankubadde nga kino kisoboka, kino tekirambululwa era tekitegerekekka okuva mu lunyiriri luno. Abamu basonga ku byawandiikibwa nga Isaaya 28:11 ne Yoweeri 2:28-29 ng'obujulizi nti okwogera ennimi kali kabonero ka musango. Okusooka Abakolinso 14:22 enyonyola ennimi okuba akabonero kaabo "abatakkiriza". Okusinziira ku kirowoozo kino, akabonero a k'ennimi kwali kulabula eri abayudaaya nti Katonda agenda kubasalira omusango olw'okugaana Yesu ng'omununuzi wabwe. N'olwekyo, Katonda bweyasalira Yisirayeeri omusango(Abaruumi okusanyawo Yeruzalemi mu mwaka 70 AD), ekirabo ky'ennimi kyali tekikyasobola kukola mulimu gyakyo. Newankubadde ng'endowooza eno esobola okuba entuufu, ensonga okuba ng'ekigendererwa ky'ennimi kyaggwa, tetegeeza kukoma kwazo. Bayibuli telina wegamba nti okwogera ennimi kwakoma.

Mu ngeri yemu, singa ekirabo ky'ennimi kyali kikyakola mu Kanisa yaleero, kyandibadde kikolebwa okusinziira ku byawandiikibwa. Kyandibadde kirabo kya nnimi ez'abantu ezitegerebwa.(1 Abakolinso 14;10). Kyandibadde n'omugaso ogw'okubulira ekigambo kya Katonda abo abogera olulimi olugwira.(Ebikolwa 2:6-12). Kyandibadde kikwatagana n'ekiragiro kya Katonda eri omutume Pawulo, "Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga: naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda" (1 Abakolinso 14:27-28). Era kyandibadde kyikiriziganya ne 1 Abakolinso 14;33,"kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu."

Katonda asobola okuwa omuntu yenna ekirabo eky'okwogera ennimi okumusobozesa okwogera olulimi olulala. Omwoyo Mutukuvu yemalirira bwaba agaba ebirabo(1 Abakolinso 12:11). Lowoozaamu engeri omulimu gw'okubuliira enjiri gye gwandiyanguyeemu, singa abamisani bali basobola okubuliira abantu mu nnimi zabwe nga tebalina kugenda kusoma nnimi ndala. Wabula, Katonda kino ssi kyakola. Ennimi zilabika ng'ezitaliiyo leero mu ngeri yemu gyezalingamu mu ndagaano empya, newankubadde nga zisobola okuba nga zandibadde za mugaso. Abakkiriza abasinga abagamba nti bogeera ennimi tebakkiriziganya na Byawandiikibwa byetulabye wagulu. Amazima gano gatuleetera okufundikira nti, ennimi zakoma oba tezisangikasangika mu ntekateka ya Katonda ey'ekanisa leero.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ekirabo eky'okwogera ennimi ky'ekiriwa?
© Copyright Got Questions Ministries