settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ensi erina emyaka emeka? Ensi nkadde kwenkana wa?

Okuddamu


Ensonga ezimu bayibuli ezogerako butereevu nnyo.Okugeza, empisa Katonda zatwetagisa n’engeri y’okulokolebwamu bwogerwako mu biwanvu. Wabula ku nsonga ezimu, Bayibuli teyogera bingi. Bwosoma ebyawandiikibwa, okitegeera nti ensonga gyekoma okuba enkulu, Bayibuli gyekoma okugyogerako. Kwegamba, “ebintu ebikulu by’ebintu ebimanyiddwa.” Ekimu ku bintu ebitogerwako mu biwanvu mu Bayibuli kye ekye’myaka gy’ensi.

Waliwo engeri nyingi ez’okugezaako okutegera emyaka gy’ensi. Buli ngeri yesigambye ku kutebereza okumu okuyinza okuba nga tekutuukiridde. Enkola zonna zigwa wakati w’okuvunula Bayibuli n’amakulu ag’okungulu wamu ne sayansi.

Engeri emu ey’okumanya emyaka gy’ensi etebeereza nti ennaku omukaaga oz’okutonda Ensi eziri mu Oluberyeberye zaalina esaawa 24 era nti tewali banga lyonna mu kubala okuzaalibwa oba emirembe egiri mu Oluberyeberye. Emyaka ejogerwako mu kuzaalibwa kw’abantu mu Oluberyerye awo nno negyiryoka gyigattibwa okufuna ekigerageranyo kyemaka okuva ku kutondebwa kwensi okutuuka ku kaseera akamu mu Ndagaano enkadde. Bwetukozesa enkola eno, tutuuka ku kigerageranyo ky’emyaka 6,000. Kikulu okutegera nti tewali wantu wonna Bayibuli yetubuulira myaka gyansi—guno omuwendo gubalibwa bubalibwa.

Engeri endala ey’okumanya emyaka gy’ensi kwekukozesa enkola emanya ebukadde bw’ebintu katugeze enjazi, emyaka olwazi olumu gyelufuuka olulala n’ebirala. Nga banasaayansi bagerageranya enkola ez’enjawulo okulaba oba zikwatgana, banasaayansi bagezako okumanya emyaka gy’ensi. Eno y’enkola ekozesebwa okutuuka ku myaka Obuwumbi 4 ku 5 egy’ensi. . Kikulu okutegera nti tewali nkola yonna eyinza okutegeeza obutereevu emyaka gy’ensi.—guno omuwendo gubalibwa bubalibwa.

Enkola zino zombi ezikozesebwa okumanya emyaka gy’ensi zonna zirina ebuzibu. Waliwo abasomi ba Bayibuli abatakkiriza nti ennaku z’okutondebwamu kw’ensi zetaagisa okuba n’esaawa 24. Era waliwo esonga okukkiriza nti okubala emirembe oba okuzaalibwa mu Oluberyeberye kwalina amabanga, kubanga kwogera ku basajja bokka mu lunyiriri. Okubala emyaka gy’ensi nga tewekubidde ludda lwonna tekuwagira kiriwoozo nti ensi nto nnyo era erina emyaka 6,000, era okugaana obukakafu obwo kitegeeza nti Katonda yalina okufula buli kintu okuba ekikkade olw’ensonga. Newankubadde nga waliwo abagaana ekirowoozo kino, abantu abagamba nti ensi nkadde, abakristaayo bangi abakkiriza nti ensi nkadde (eri mu buwumbi bw’emyaka) bakkriiza nti Bayibuli terina nsombi era eruŋŋamizibwa Katonda, wabula bawukana mu nzivunuula entuufu ey’enyiriri ezimu.

Ku ludda olulala, obukadde bw’enjazi butuufu okutuusa ku banga eggere, eritenkanankana na kigera ky’emyaka kikozesebwa kumanya myaka gy’ensi.Ekigera eky’ebiseera by’ensi, obukadde bw’ebintu ebyaffa edda, n’ebirala byesigamye ku nsobi mu kuteebeereza nyigi. Kyekimu n’okwekenenya kw’ensi mu bunene bwayo; akatundu ketulaba akeebyo ebiriwo katono nnyo era ebyo byetumanyi biri mu birowoozo. Mu bimpimpi, waliwo ensonga nyingi okukkiriza nti entebeereza ezitali za Bayibuli nazo si ntuufu ezikwata ku myala gy’ensi. Okwesigama ku Sayaansi okuddamu ekibuuzo tekirina kizibu, wabula sayaansi terina kutwalibwa ng’etalina nsobi.

Ku nkomerero, emyaka gy’ensi tegisobola kukakasibwa. Eky’embi kiri nti waliwo amaloboozi ku njui zombi agalowooza nti enzivuunula yabwe y’entuufu—oba yesimbye ku Bayibuli oba ku Sayaansi. Mu mazima, tewali kuwakanya Bayibuli kwelina na nsi enkadde( ey’emyaka obuwumbu). Era tewali kuwakanya sayaansi kwerina na kirowoozo nti ensi nto (ey’emyaka 6,000). Abo abakkiriza abawanya bagala kuteekawo kwawula okutetaagisa. Ekirowozo kyona omuntu kyalina, ekikulu kiri ku kuba nti omuntu akkiriza Ekigambo kya Katonda obutaba na nsobi era okuba n’obuyinza.

Obuwereza bwa Got Question buwagira ekirowoozo ky’ensi ento. Tukkiriza nti Oluberyeberye 1-2 lulina kuvuunulwa nga bweluli mu bigambo era nti enyiriri ezo zitegeeza kutondebwa kwa ns ento okusinziira ku suula ezo. Mu kaseera kekamu, tetukkiriza nti ekiroowo ky’ensi okuba enkadde kikyamu. Tetulina kuwakanya baganda baffe abawukana naffe mu ndowooza ku nsonga ezikwata ku bukadde bw’ensi. Tukkiriza nti omuntu asobola okwekwata ku ndowooza y’ensi okuba nti nkadde nasigala nga agoberera ensomesa enkulu ez’Obukristaayo.

Ensonga nga obukadde bw’ensi y’ensonga lwaki Pawulo yakubiriza Abakkiriza obutatekawo luyogaano ku nsonga Bayibuli zetayogerako biwanvu (Abaruumi 14:1-10). Obukadde bw’ensi tebwogerwako mu biwanvu mu Byawandiikibwa. Ssi nsonga “nkulu” ekitegeeza nti endowooza y’omuntu ku bukadde bw’ensi telina kyekola ku ndowooza ye eri ekibi, obulokozi, engeri y’okweyisaamu, egulu, oba geyeena. Tusobola okumanya bingi ku ani yatonda, lwaki yatonda, era tusobola tutya okukolagana naye, wabula Bayibuli tetubuulira butereevu ddi lweyatonda.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ensi erina emyaka emeka? Ensi nkadde kwenkana wa?
© Copyright Got Questions Ministries