settings icon
share icon
Ekibuuzo

Entebe y’emisango eya Kristu yekki?

Okuddamu


Abaruum 14:10-12 egamba, “…kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda…. Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.” 2 Abakkolinso 5:10 etugamba, “Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.” Mu buufu bwe kyawandiikibwa kino, kiraga bulungi nti kyogera mu Bakkiriza nabatali Bakkiriza. Entebe y’omusango eya Kristu, n’olwekyo aliko abakkiriza nga bawa embalirira y’obulamu bwabwe eri Kristu. Entebe y’omusango eya Kristu tesalawo bulokozi; obwasalibwawo sadaaka ya Kristu ku lwaffe (1 Yokaana 2:2) n’okukkiriza kwaffe mu yye (Yokaana 3:16). Tetulina kutunuulira ntebe ya Kristu nga ekifo Katonda wagenda okutusalira omusango olw’ebibi byaffe, wabula Katonda okuwa empeera olw’obulamu bwaffe.Yye era nga Baibuli bwegamba tulina okuwa embalirira y’obulamu bwaffe. Ekimu ku byo ku byo kirimu okuwa embalirira olw’ebibi byetwaakola. Wabula ekyo tekigenda kuba ssira erisooka oly’entebe ya Kristu.

Ku Ntebe ya Kristu ey’omusango, abakkiriza baweebwa empeera okusinziira ku ngeri gye bawereza Kristu mu bwesigwa. (1 Abakkolinso 9:4; 2 Timoseewo 2:5). Ebimu ku bintu byetunasalirwako omusango kuliko engeri gye tubuuliddemu enjiri n’okufuula amawanga abayigirizibwa. (Matayo 28:18-20), ngeri gyetwawangulamu ekibi (Abaruumi 6:1-4) era n’engeri gyetwakozamu olulimi (Yakobo 3:1-9). Bayibuli oyogera ku Bakkiriza okufuna engule olw’ebintu eby’enjawulo nga bisinziira ku ngeri gyebawerezaamu Kristu. (1 Abakkolinso 9:4-27; 2 Timoseewo 2:5). Engule enz’enjawulo zogwerwaako mu 2 Timoseewo 2:5, 2 Timoseewo 4:8, Yakobo 1:12, 1 Petero 5:4 n’okubikkulirwa 2;10. Yakobo 1:12 ewumbawumba bulungi engeri gyetulina okutunuulira entebe Ya Kristu ey’omusango. “Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Entebe y’emisango eya Kristu yekki?
© Copyright Got Questions Ministries