Ekibuuzo
Enzikiriza ey’obulimba yekki?
Okuddamu
Abantu bwebawulira enzikiriza y’obulimba balowooza ku kiway ekisinza sitaani, ekisala ebisolo, oba ekyenyigira mu bubi n’enkola ez’ekisamize. Wabula amazima gali nti, enzikiriza ey’obulimba tekola bintu biringa ebyo. Amazima gali nti, enzikiriza ey’obulimba mu biwanvuwanvu nkola ey’ediini ekola obulombolombo n’enkola ez’enjawulo.
Ebiseera ebisinga, enzikiriza ey’obulimba etegeeza ekiwayi kyabantu abakyusa ensomesa entuufu ey'ediini. Mu nkola ez’Ekristaayo, enzikiriza ey’obulimba etegeeza ekiwayi ky’abantu ekiwakanya ensomesa emu oba eziwerako eza Bayibuli. Enzikiriza ey’obulimba ky’ekiwayi ekisomesa ensomesa nga singa ekiriziddwa, ereteera abantu okusigala nga si balokole. Ekiwayi kino kyetwaala okuba ekitundi ku diini wabula nga kiwakanya amazima amakulu og’Obukristaayo. N'olw’ekyo, enzikiriza y’Ekristaayo ey’obulimba egaana ensomesa emu oba eziwera ezamazima ga Bayibuli wabula nga esigala yeyita kitundu ku Bukristayo.
Ensomesa ezisinga okwatikirira ez’enzikiriza z’Obukristaayo ez’obulimba zisomesa nti Kristu teyali Katonda era nti obulokozi tebufunibwa kuyita mu kikkiriza kwoka. Okugaana obwakatonda bwa Kristu kivaamu endowooza nti okufa kwa Yesu kwali tekumala kusasula bibi byaffe. Okugaana okulokolebwa okuyita mu kukkiriza kwokka kiretera okulowooza nti obulokozi busobola okufunibwa okuyita mu bikolwa byaffe ebirungi. Abatume bayogera ku nzikiriza ez’obulimba mu myaka egyasooka egy’ekanisa ya Kristu. Okugeza , Yokaana ayogera ku nsomesa y’okuwakanya okubaawo kwa Katonda mu 1 Yokaana 4:1-3. Akakebera Yokaana keyakozesa okutegeera ensomesa entuufu kekokuba nti “Kristu yajja mu mubiri” (Olunyiriri olw’okubiri) )— oluwakanyiza ddala ensomesa ey’obulimba ey’abawakanyi. (laba 2 Yokaana 1:7)
Enzikiriza ezi’oulimba ezisinga okumanyika leera kwekuli ey’Abajeova n’Abamamoni. Ebiwayi byomi byeyita kitundu ku Bukristaayo, wabula bombi bawakanya obwakatonda bw Kristu. Abajeova n’Abamamoni bakkiriza ebintu bingi ebikwata ku Bayibuli era ebikkiriziganya kw’ebyo Bayibuli by’esomesa. Wabula, amazima gali nti, bawakanya obwakatonda bwa Kristu era basomesa obulokozi obufunibwa okuyita mu bikolwa ebirungi era ekyo kibateeka mu biwayi by’enzikiriza ez’obulimba. Abajeova n’Abamamoni bangi wamu ne ba memba bangi ebebiwayi eby’obulimba bantu ba mpisa era bakkiriza mu muzima nti bebalina amazima. Ng’Abakristaayo, esuubi lyaffe era okusaba kwaffe kulina kuba nti abantu abali mu nzikiriza ez’obulimba banasobola okulaba obulimba era nti banasobola okusembezebwa eri amazima ag’obulokozi okuyita mu kukkiriza Kristu Yesu yekka.
English
Enzikiriza ey’obulimba yekki?