Ekibuuzo
Dala enzikiriza y’Abamamomi yabulimba? Abamamoni bakkiriza kki?
Okuddamu
Ediini y’Abamamoni, yatandikirwawo emyaka nga bibiri omusajja ayitibwa Yosefu Simisi (Soma Joseph Smith). Agamba yafuna okukyalibwa okuva eri Katonda ne Yesu Kristu eyamugamba ekanisa zonna n’enjatula zaazo zamuzizo. Yosefu Simisi awo natandiika wo ediini empya eyeyita okuba “ekanisa yokka entuufu kunsi” Ekizibu ekiri ku nzikiriza y’Abamamoni kiri nti ekontana, ekyusa, era eyongerako ku Bayibuli. Abakristaayo tebalina nsonga kukkiriza nti Bayibuli ssi ntuufu era temala. Okukkiriza Katonda era okumwesiga kitegeeza okukkiriza ekigambo kye era nti ebyawandiikibwa byalungamizibwa Katonda, ekitegeeza nti byava eri Katonda (2 ATimoseewo 3:16)
Abamamoni bakkkiriza nti waliwo waliwo ewantu wa mirundi enna ewava ebyawandiikiwa ebyalungamizibwa Katonda ssi kimu kyokka. 1) . Bayibuli; singa eba evuunuddwa bulungi, enyiriri ezinirina okuba nga zavuunulwa bulungi tezimanyikiddwa 2) Ekitabo kya Mamoni ekyavuunulwa Yosefu Simisi era ekyawafulumizibwa mu 1830 era Yosefu Simisi egamba nti kye kitabo ekikyasinze okuvulwa obulungi ku nsi, era nti omuntu asobola okusembeera Katonda singa singa agoberera ebiragiro ebiri mu Kitabo ekyo okusinga okugoberera ekitabo ekirara kyonna. 3) Ensomesa n’Endagaano, nga muno mulinu okubikkulirwa okwebiseera bino okukwatagana ku “Kanisa Ya Yesu Kristu nga bweyaddizibwa obujja.” 4) Eky’obuggaga eky’omuwendo, nga kino kitwalibwa Abamoni okulambulula ensomesa ezabula okuva mu Bayibuli era kiggatako ku Bayibuli ku ngeri ensi gyeyatondebwa.
Abamamoni bakkiriza ebintu bino wamanga ku Katonda. Katonda abadde Katonda wensi emirembe gyonna gyebadewo, wabula yafuna ekitiibwa ekyo olw’okuba nga yatambulira mu butuukirivu era yafuba. Bakkiriza Katonda okuba “n’omubiri namagumba era nga akwatibwako ng’omuntu.” Newankubadde nga ensomesa eyo yaganiibwa abakulu b’Abamamoni, Brigham Young- Soma Birigamu Yanga asomesa nti Adamu yali Katonda era nga ye Taata wa Yesu. Okwawukanako, Abakristaayo bamanyi nti Katonda waliwo Katonda omu (Ekyamateeka 33:27, 6:4, Isaaya 43:10; 44:6:8), Abaddewo emirembe gyonna era alibaawo emirembe gyonna (Ekyamateeka 33:27; Zabbuli 90 :2; 1 Timoseewo 1:17), teyatondebwa wabula yeyatonda (Oluberyeberye 1; Zabuli 24:1; Isaaya 37:16). Mutuukirivu era tewai amwenkana (Zabbuli 86:8; Isaaya 40:25). Katonda Taata ssi muntu era tabeerangako muntu (Okubala 32:19; 1 Samiwiri 15:29; Koseya 11:9). Mwoyo (Yokaana 4:24) era Omwoyo aba talina mubiri wadde amagumba (Lukka 24:39).
Abamamoni bakkiriza nti waliwo obwakabaka bwamitemdera gyenjawulo. Obwakabaka obukikirirwa omusana nga Katonda mwatuula era nga bwebusinga obukulu, Obwakabaka obukkikirirwa omwezi nga buno tebwakaayakana ng’obwenjuba. Era n’obwakabaka okukkikirirwa emunyenye. Abantu banasindikirwa mu bwakabaka buno bebagenda okusembayo okuzuukira era bajja kuzuukira oluvanyuma lw’ekyasa.Omuntu gyagenda okubeera wasinziira ku ngeri gyabera era gyatambulamu nga ai ku nsi. Okwawukana, Bayibuli esomesa nti oluvanyuma lw’okufa, tugenda mu gulu oba mu geyeena era nga kino kisinziira oba twakkiriza mu mu Yesu okuba mukama era omulokozi waffe oba nedda. Okuba nga tetuli mu mibiri gyaffe nga abakkriza kitegeeza nti tuli wamu ne Yesu (2 Abakkolinso 5:6-8). Abakkiriza basindikibwa mu geyeena oba ekifo ky’abafu (Lukka 16:22-23). Yesu bwalidda, tugenda kufuna emibiri emigya (1 Abakkolinso 15:50-54) Walibaawo egulu eligya n’ensi empya eby’abakkiriza (Okubikkulirwa 21:11), era abattakkiriza bagenda kusuulibwa mu nyanja eyeka n’omuliro etazikira. (Okubikkulirwa 20:11-15). Tewali mukisa gwakulokolebwa ng’omuntu amaze okufa.(Abaebbulaniya 9:27).
Ekitabo ky’abamamoni kisomesa nti Okulabisibwa kwa Yesu kwatuukawo olw’enkolagana ya Katonda Taata, ne Mariamu. Abamamoni bakkiriza Yesu omu ku ba Katonda era bti omuntu yenna asobola okufuuka omu ku Katonda. Abamamoni bakkiriza nti obulokozi busobola okufuna singa omuntu aba n’okukkiriza n’ebikolwa ebirungi awamu. Okwawukana,Abakristaayo okuva mu byafaayo basomesa nti tewali asobola kufuna kitiibwa kya Katonda, okujako Katonda yekka— ye yekka omutuukirivu(1 Samwiri 2:2). Tusobola okufulibwa abatuukirivi nga tuli mu maaso ge okuyita mu kukumukkiriza (1 Abakkolinso 1:2). Yesu ye mwana wa Katonda yekka (Yokaana 3:16). Ye muntu yekka atalina kibi kibi era ataliko kya kunenya era nga alina ekitiibwa ekisinga ebitiibwa byonna mu gulu. (Abaebbulaniya 7:26). Yesu ne Katonda bali omu mu buntu, nga Yesu yeyaliwo nga tanazaliibwa (Yokaana 1:1-8; 8-56). Yesu yewaayo ku lwaffe nga saddaka, Katonda namuzuukiza okuva mu bafu era olunaku lulijja buli lulimi lwatule Yesu nga ye Mukama. (Abaffiripi 2:6-11). Yesu atugamba nti tekisoboka kugenda mu gulu olw’ebikolwa byaffe byokka wabula olw’okukkiriza kwoka, buli kimu kisoboka (Matayo 19:26). Fenna tugwaniira ekibonerezo eky’olubeerera eky’ebibi byaffe, wabula olw’okwagala kwa Katonda okutakoma, n’ekisa bitukoledde ekubo okukiwona. “Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”(Abaruumi 6:23).
Kirabuka bulungi waliwo ekubo limu okufuna obulokozi era nga kwekumanya Katonda n’omwana we Yesu Kristu (Yokaana 17:3). Tekikolebwa kuyita mu bikolwa wabula mu kukkiriza (Abaruumi 1:17; 3:28). Buli muntu asobola okufun ekirabo kino newankubadde ani oba aba akozeeki (Abaruumi 3:22). “ So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” (Ebikolwa 4:12).
Newankubadde Abamamoni balabika nga balina okwagala, era nga bantu balungi, balimbibwa ediini enkyamu ekyusa enkula ya Katonda, obuntu bwa Yesu, n’engeri gyetusobola okufuna obulokozi.
English
Dala enzikiriza y’Abamamomi yabulimba? Abamamoni bakkiriza kki?